Ekyabalamuzi
3 Gano ge mawanga Yakuwa ge yaleka mu nsi gagezese abo bonna mu Isirayiri abaali batalwanangako lutalo lwonna mu Kanani+ 2 (yagalekawo emirembe gy’Abayisirayiri egyandizzeewo girwane entalo, emirembe egyali gitalwanangako): 3 abafuzi abataano ab’Abafirisuuti,+ n’Abakanani bonna, Abasidoni,+ n’Abakiivi+ ababeera ku Lusozi Lebanooni,+ okuva ku Lusozi Bbaali-kerumooni okutuukira ddala mu Lebo-kamasi.*+ 4 Baakozesebwa okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga bandigondedde ebiragiro bya Yakuwa bye yawa bakitaabwe okuyitira mu Musa.+ 5 Abayisirayiri ne babeera wamu n’Abakanani+ n’Abakiiti n’Abaamoli n’Abaperizi n’Abakiivi n’Abayebusi. 6 Baawasa bawala baabwe era ne bawaayo bawala baabwe eri batabani baabwe, era ne batandika okuweereza bakatonda baabwe.+
7 Bwe batyo Abayisirayiri ne bakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa, ne beerabira Yakuwa Katonda waabwe ne baweereza Babbaali+ n’ebikondo amawanga ago bye gaasinzanga.*+ 8 Awo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Isirayiri, n’abatunda mu mukono gwa Kusanu-lisasayimu kabaka wa Mesopotamiya.* Abayisirayiri ne baweereza Kusanu-lisasayimu okumala emyaka munaana. 9 Abayisirayiri ne bakoowoola Yakuwa abayambe.+ Awo Yakuwa n’awa Abayisirayiri omulokozi abalokole,+ Osuniyeri+ mutabani wa Kenazi, muto wa Kalebu. 10 Omwoyo gwa Yakuwa ne gumujjako,+ n’afuuka omulamuzi wa Isirayiri. Bwe yagenda okulwana, Yakuwa n’awaayo Kusanu-lisasayimu kabaka wa Mesopotamiya* mu mukono gwe, bw’atyo n’awangula Kusanu-lisasayimu. 11 Awo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka 40. Oluvannyuma Osuniyeri mutabani wa Kenazi n’afa.
12 Abayisirayiri era ne baddamu okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa.+ Yakuwa n’aleka Eguloni kabaka wa Mowaabu+ okusinza Isirayiri amaanyi, kubanga baakola ebibi mu maaso ga Yakuwa. 13 Ate era yaleeta Abaamoni+ n’Abamaleki+ ne balumba Isirayiri ne bawamba ekibuga eky’enkindu.+ 14 Abayisirayiri ne baweereza Eguloni kabaka wa Mowaabu okumala emyaka 18.+ 15 Abayisirayiri ne bakoowoola Yakuwa abayambe.+ Yakuwa n’abawa omulokozi,+ Ekudi+ mutabani wa Gera, Omubenyamini+ eyali owa kkono.+ Awo Abayisirayiri ne bamutuma atwalire Eguloni kabaka wa Mowaabu ekirabo kye yali asabye. 16 Ekudi ne yeekolera ekitala ekyali kisala eruuyi n’eruuyi, ng’obuwanvu kya mukono* gumu. N’akisiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu lugoye lwe. 17 Ekudi bwe yatuuka eri Eguloni kabaka wa Mowaabu n’amuwa ekirabo kye yali asabye. Eguloni yali musajja munene nnyo.
18 Ekudi bwe yamala okuwaayo ekirabo, n’agenda n’abantu abajja bakyetisse. 19 Naye bwe baatuuka awaali ebifaananyi ebyole* e Girugaali,+ ye n’addayo eri kabaka n’amugamba nti: “Ai kabaka, nnina obubaka obw’okukutegeeza mu kyama.” Kabaka n’agamba nti: “Mutuleke ffekka!”* Awo abaweereza be bonna ne bavaawo. 20 Awo Ekudi n’ajja we yali. Kabaka yali atudde yekka mu kisenge ekyali waggulu ku nnyumba ekyalimu akawewo. Ekudi n’amugamba nti: “Nnina obubaka bwo okuva eri Katonda.” Awo n’asituka ku ntebe ye. 21 Ekudi n’akozesa omukono gwe ogwa kkono n’asikayo ekitala ekyali ku kisambi kye ekya ddyo n’akimusogga mu lubuto. 22 Ekitala kyonna ne kibulirayo n’ekiti kyakyo, amasavu ne gakibikka, kubanga teyakisikaayo mu lubuto lwe, era obubi bwe ne buyiika. 23 Ekudi n’afuluma ebweru, naye n’aleka ng’aggaddewo enzigi z’ekisenge ekya waggulu era ng’azisibye. 24 Bwe yamala okugenda, abaweereza ba kabaka ne bakomawo, ne balaba ng’enzigi z’ekisenge ekya waggulu nsibe. Ne bagamba nti: “Oboolyawo yeeteewuluza* mu kisenge eky’omunda ekirimu akawewo.” 25 Ne balindirira okutuusa ensonyi lwe zaabakwata; naye bwe baalaba nga taggulawo nzigi za kisenge ekya waggulu, ne bakwata ekisumuluzo ne baziggulawo, ne balaba mukama waabwe ng’agudde wansi afudde!
26 Ekudi n’adduka nga bakyalindirira, n’ayita awaali ebifaananyi ebyole,*+ n’atuuka mirembe e Seyira. 27 Bwe yatuuka mu kitundu kya Efulayimu+ eky’ensozi n’afuuwa eŋŋombe;+ Abayisirayiri ne baserengeta naye okuva mu kitundu eky’ensozi ng’abakulembeddemu. 28 N’abagamba nti: “Mungoberere, kubanga Yakuwa awaddeyo abalabe bammwe Abamowaabu mu mukono gwammwe.” Ne bamugoberera ne bawamba awasomokerwa Yoludaani Abamowaabu baleme okudduka, era tebakkiriza muntu n’omu kusomoka. 29 Ku olwo batta Abamowaabu+ nga 10,000, nga bonna basajja ba kiwago era nga bazira; tewali n’omu yawonawo.+ 30 Ku lunaku olwo Mowaabu n’assibwa wansi w’omukono gwa Isirayiri; era ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka 80.+
31 Samugali+ mutabani wa Anasi ye yamuddirira era yatta Abafirisuuti 600+ ng’akozesa omuwunda*+ ogukozesebwa ku nte; era naye yalokola Isirayiri.