Ekyabalamuzi
6 Abayisirayiri ne baddamu okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa,+ bw’atyo Yakuwa n’abawaayo mu mukono gwa Midiyaani okumala emyaka musanvu.+ 2 Abamidiyaani ne banyigiriza Abayisirayiri.+ Era olwa Midiyaani, Abayisirayiri ne beekolera ebifo eby’okwekwekamu* mu nsozi, mu mpuku, ne mu bifo ebizibu okutuukamu.+ 3 Abayisirayiri bwe baasiganga ensigo ng’Abamidiyaani n’Abamaleki+ n’abantu b’Ebuvanjuba+ babalumba. 4 Baabalwanyisanga ne boonoona ebirime by’omu nsi okutuukira ddala e Gaaza, era tebaalekanga mmere mu Isirayiri, wadde endiga oba ente oba endogoyi.+ 5 Bajjanga n’ensolo zaabwe ne weema zaabwe. Bajjanga bangi nnyo ng’enzige,+ era ng’omuwendo gwabwe n’ogw’eŋŋamira zaabwe tegubalika.+ Bajjanga mu nsi okugyonoona. 6 Isirayiri n’eyavuwala nnyo olwa Midiyaani, era Abayisirayiri ne bakoowoola Yakuwa abayambe.+
7 Abayisirayiri bwe baakoowoola Yakuwa abayambe olwa Midiyaani,+ 8 Yakuwa yatuma nnabbi eri Abayisirayiri eyabagamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Nnabaggya mu Misiri, bwe ntyo ne mbaggya mu nnyumba ey’obuddu.+ 9 Nnabanunula mu mukono gwa Misiri era ne mbawonya abo bonna abaali babanyigiriza, ne mbagoba mu maaso gammwe ne mbawa ensi yaabwe.+ 10 Ate era nnabagamba nti: “Nze Yakuwa Katonda wammwe.+ Temutyanga bakatonda b’Abaamoli bannyini nsi gye mulimu.”+ Naye temwaŋŋondera.’”+
11 Oluvannyuma malayika wa Yakuwa yajja+ n’atuula wansi w’omuti omunene ogwali mu Ofula ogwali ogwa Yowaasi Omwabi-yezeri.+ Mutabani we Gidiyoni+ yali awuula ŋŋaano mu ssogolero atere agikweke Abamidiyaani. 12 Awo malayika wa Yakuwa n’amulabikira n’amugamba nti: “Yakuwa ali naawe,+ ggwe omulwanyi ow’amaanyi.” 13 Awo Gidiyoni n’amugamba nti: “Mukama wange, bwe kiba nti Yakuwa ali naffe, lwaki bino byonna bitutuuseeko?+ Ebikolwa bye byonna eby’ekitalo bakitaffe bye baatubuulirako+ nga bagamba nti, ‘Yakuwa yatuggya mu Misiri,’+ biruwa? Kaakano Yakuwa atwabulidde+ era atuwaddeyo mu mukono gwa Midiyaani.” 14 Awo Yakuwa n’atunula gy’ali n’amugamba nti: “Genda n’amaanyi g’olina, era ojja kulokola Isirayiri mu mukono gwa Midiyaani,+ kubanga nze nkutumye.” 15 Gidiyoni n’amuddamu nti: “Yakuwa, nnyinza ntya okulokola Isirayiri? Laba! Oluggya* mwe nva lwe lusingayo okuba olutono mu Manase, era nze nsingayo okuba owa wansi mu nnyumba ya kitange.” 16 Naye Yakuwa n’amugamba nti: “Olw’okuba nja kubeera naawe,+ ojja kuwangula Midiyaani ng’awangula omusajja omu.”
17 Awo n’amugamba nti: “Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, nkolera akabonero akandaga nti ggwe oyogera nange. 18 Nkwegayiridde tova wano okutuusa nga nkomyewo gy’oli n’ekirabo kyange, nkiteeke mu maaso go.”+ N’amuddamu nti: “Nja kubeera wano okutuusa lw’onookomawo.” 19 Awo Gidiyoni n’agenda n’afumba omwana gw’embuzi era n’afumba n’emigaati egitali mizimbulukuse mu efa* y’obuwunga.+ Ennyama n’agissa mu kibbo ate ssupu n’amussa mu ntamu, n’abimutwalira we yali wansi w’omuti omunene n’amugabula.
20 Malayika wa Katonda ow’amazima n’amugamba nti: “Ddira ennyama n’emigaati egitali mizimbulukuse obisse ku jjinja eddene eriri awo oyiweko ssupu.” N’akola bw’atyo. 21 Malayika wa Yakuwa n’addira omuggo ogwali mu mukono gwe n’akoona ku nnyama ne ku migaati egitali mizimbulukuse, omuliro ne guva mu jjinja ne gwokya ennyama n’emigaati egitali mizimbulukuse.+ Malayika wa Yakuwa n’abulawo Gidiyoni n’aba nga takyamulaba. 22 Awo Gidiyoni n’akitegeera nti abadde malayika wa Yakuwa.+
Amangu ago Gidiyoni n’agamba nti: “Yakuwa Mukama Afuga Byonna, zinsanze nze, kubanga ndabye malayika wa Yakuwa maaso ku maaso!”+ 23 Naye Yakuwa n’amugamba nti: “Emirembe gibeere naawe. Totya.+ Tojja kufa.” 24 Gidiyoni n’azimbira Yakuwa ekyoto mu kifo ekyo, era kikyayitibwa Yakuwa-salumu*+ n’okutuusa leero. Kikyaliyo mu Ofula eky’Ababi-yezeri.
25 Ekiro ekyo Yakuwa n’amugamba nti: “Twala ente ya kitaawo ennume, kwe kugamba, ente ey’okubiri ennume ey’emyaka omusanvu, omenyeemenye ekyoto kya Bbaali ekya kitaawo, era otemeeteme n’ekikondo ekisinzibwa* ekikiriraanye.+ 26 Oluvannyuma zimbira Yakuwa Katonda wo ekyoto waggulu ku kigulumu kino, ng’amayinja gateekeddwa mu lunyiriri, era oddire ente ento ennume ey’okubiri ogiweeyo ng’ekiweebwayo ekyokebwa ku biti by’ekikondo ekisinzibwa* ky’onooba otemyetemye.” 27 Gidiyoni n’atwala abasajja kkumi ku baweereza be, n’akola nga Yakuwa bwe yamugamba. Naye olw’okuba yatya nnyo ab’ennyumba ya kitaawe n’abasajja b’omu kibuga, ekyo teyakikola misana; yakikola kiro.
28 Abasajja b’omu kibuga bwe baazuukuka ku makya, baalaba ng’ekyoto kya Bbaali kimenyeddwamenyeddwa, nga n’ekikondo ekisinzibwa* ekyali kikiriraanye kitemeddwatemeddwa, era nga n’ente ento ennume ey’okubiri eweereddwayo ku kyoto ekyali kizimbiddwa. 29 Ne babuuzaganya nti: “Ani yakoze ekintu kino?” Bwe baamala okunoonyereza ne bagamba nti: “Gidiyoni mutabani wa Yowaasi ye yakikoze.” 30 Abasajja b’omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti: “Fulumya mutabani wo attibwe, kubanga yamenyeemenye ekyoto kya Bbaali era n’atemaatema n’ekikondo ekisinzibwa* ekyabadde kikiriraanye.” 31 Awo Yowaasi+ n’agamba abo bonna abaali bazze gy’ali nti: “Mmwe mulina okulwanirira Bbaali? Mmwe mulina okumulokola? Buli amulwanirira asaanidde okuttibwa ku makya kuno.+ Bw’aba nga katonda, ye kennyini ka yeerwanirire+ okuva bwe waliwo amenye ekyoto kye.” 32 Ku lunaku olwo n’atuuma Gidiyoni Yerubbaali* ng’agamba nti: “Bbaali kennyini y’aba yeerwanirira kubanga waliwo amenyeemenye ekyoto kye.”
33 Awo Abamidiyaani+ bonna n’Abamaleki+ n’abantu b’ebuvanjuba ne beegatta wamu,+ ne basomoka* ne basiisira mu Kiwonvu ky’e Yezuleeri. 34 Omwoyo gwa Yakuwa ne gujja ku* Gidiyoni+ n’afuuwa eŋŋombe,+ Ababi-yezeri+ ne bajja ne bamugoberera. 35 N’atuma ababaka mu Manase yenna, nabo ne bamugoberera. Era yatuma n’ababaka mu Aseri ne Zebbulooni ne Nafutaali nabo ne bajja okumusisinkana.
36 Awo Gidiyoni n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Bw’oba ng’ogenda kulokola Isirayiri okuyitira mu nze nga bw’osuubizza,+ 37 laba ŋŋenda kuteeka ebyoya by’endiga wansi mu gguuliro. Omusulo bwe gunaagwa ku byoya by’endiga kwokka naye ettaka lyonna ne lisigala nga kkalu, awo nja kumanya nti ogenda kulokola Isirayiri okuyitira mu nze nga bw’osuubizza.” 38 Bwe kityo bwe kyali. Bwe yazuukuka enkeera ku makya, n’akamula omusulo mu byoya by’endiga n’aggyamu amazzi agajjuza ekibya ekinene ekikozesebwa ku kijjulo. 39 Kyokka Gidiyoni n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Obusungu bwo ka buleme okumbuubuukira, naye ka nkusabe omulundi omulala gumu gwokka. Nkwegayiridde, ka ngezese nga nkozesa ebyoya by’endiga omulundi omulala gumu gwokka. Nkwegayiridde, ebyoya by’endiga ka bisigale nga bikalu naye ettaka lyonna litobe omusulo.” 40 Katonda n’akola bw’atyo ekiro ekyo; ebyoya by’endiga byokka ne bisigala nga bikalu naye ettaka lyonna ne litoba omusulo.