LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abantu bagoberera ekkubo ery’abangi (1-7)

      • Magezi ki awatali kigambo kya Yakuwa? (8-17)

      • Yeremiya munakuwavu olw’obuvune bwa Yuda (18-22)

        • “Teri basamu mu Gireyaadi?” (22)

Yeremiya 8:2

Marginal References

  • +Ma 4:19; 2Sk 17:16; 21:1, 3; Yer 19:13; Ezk 8:16; Zef 1:4, 5
  • +Yer 16:4

Yeremiya 8:5

Marginal References

  • +Yer 5:3

Yeremiya 8:6

Marginal References

  • +Yer 5:1

Yeremiya 8:7

Footnotes

  • *

    Oba, “ebiseera ebigereke.”

  • *

    Oba, “eby’okusenguka.”

Marginal References

  • +Is 1:3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 6 2016 lup. 8-9

Yeremiya 8:8

Footnotes

  • *

    Oba, “obulagirizi.”

Marginal References

  • +Is 8:1

Yeremiya 8:9

Marginal References

  • +Is 29:14

Yeremiya 8:10

Marginal References

  • +Ma 28:30; Zef 1:13
  • +Is 56:11; Ezk 33:31; Mi 3:11
  • +Yer 5:31; 6:12-15; 27:9; Kuk 2:14; Ezk 22:28

Yeremiya 8:11

Marginal References

  • +Yer 23:16, 17; Ezk 13:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1988, lup. 5

Yeremiya 8:12

Marginal References

  • +Yer 3:3
  • +Yer 23:12

Yeremiya 8:14

Marginal References

  • +Yer 4:5
  • +Yer 9:15; 23:15; Kuk 3:19

Yeremiya 8:15

Marginal References

  • +Yer 4:10; 14:19

Yeremiya 8:21

Marginal References

  • +Yer 4:19, 20; 14:17

Yeremiya 8:22

Footnotes

  • *

    Oba, “ddagala lya muzigo eriweweeza.”

  • *

    Oba, “musawo.”

Marginal References

  • +Lub 37:25
  • +Yer 30:12, 13
  • +Yer 30:17; 33:4, 6

General

Yer. 8:2Ma 4:19; 2Sk 17:16; 21:1, 3; Yer 19:13; Ezk 8:16; Zef 1:4, 5
Yer. 8:2Yer 16:4
Yer. 8:5Yer 5:3
Yer. 8:6Yer 5:1
Yer. 8:7Is 1:3
Yer. 8:8Is 8:1
Yer. 8:9Is 29:14
Yer. 8:10Ma 28:30; Zef 1:13
Yer. 8:10Is 56:11; Ezk 33:31; Mi 3:11
Yer. 8:10Yer 5:31; 6:12-15; 27:9; Kuk 2:14; Ezk 22:28
Yer. 8:11Yer 23:16, 17; Ezk 13:10
Yer. 8:12Yer 3:3
Yer. 8:12Yer 23:12
Yer. 8:14Yer 4:5
Yer. 8:14Yer 9:15; 23:15; Kuk 3:19
Yer. 8:15Yer 4:10; 14:19
Yer. 8:21Yer 4:19, 20; 14:17
Yer. 8:22Lub 37:25
Yer. 8:22Yer 30:12, 13
Yer. 8:22Yer 30:17; 33:4, 6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 8:1-22

Yeremiya

8 Bw’ati Yakuwa bw’agamba, “Mu kiseera ekyo, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’ag’abaami ba Yuda, n’aga bakabona, n’aga bannabbi, n’ag’abantu ababeera mu Yerusaalemi, galiggibwa mu ntaana zaabwe. 2 Baliganjala mu maaso g’enjuba ne mu maaso g’omwezi ne mu maaso g’eggye lyonna ery’oku ggulu abantu abo bye baayagalanga, bye baaweerezanga, bye baagobereranga, bye baanoonyanga, era bye baavunnamiranga.+ Tegalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa. Galibeera ng’obusa ku ttaka.”+

3 “Abalisigalawo ab’omu ggwanga lino ebbi, balyagala okufa okusinga okuba abalamu mu bifo byonna gye ndibasaasaanyiza,” bw’ayogera Yakuwa ow’eggye.

4 “Era olibagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Baligwa ne bataddamu kuyimuka?

Singa omuntu akyuka n’ava mu kkubo ly’alimu, n’omulala talikyuka n’ava mu kkubo ly’alimu?

 5 Lwaki abantu b’omu Yerusaalemi beeyongera bweyongezi obutaba beesigwa gye ndi?

Bagugubidde mu kulimba;

Bagaanye okudda gye ndi.+

 6 Nnassaayo omwoyo ne mpuliriza, naye engeri gye baayogeramu teyali nnungi.

Tewali muntu n’omu eyeenenya olw’ebibi bye, oba eyabuuza nti, ‘Nkoze ki?’+

Buli omu yeeyongera kugoberera kkubo ly’abangi, ng’embalaasi efubutuka okugenda mu lutalo.

 7 Enkonamasonko emanyi ebiseera byayo;*

Ejjiba, akataayi, n’ebinyonyi ebirala binywerera ku biseera we birina okukomerawo.*

Naye abantu bange tebamanyi kiseera Yakuwa ky’anaabasaliramu musango.”’+

 8 ‘Muyinza mutya okugamba nti: “Tuli ba magezi, era tulina amateeka* ga Yakuwa”?

Ekituufu kiri nti, ekkalaamu+ y’abawandiisi ey’obulimba ekozesebwa okuwandiika eby’obulimba.

 9 Ab’amagezi baswaziddwa.+

Batidde era bajja kukwatibwa.

Laba! Beesambye ekigambo kya Yakuwa,

Kale magezi ki ge balina?

10 N’olwekyo bakazi baabwe nja kubawaayo eri abasajja abalala,

Ebibanja byabwe nja kubiwa abantu abalala;+

Kubanga bonna, okuva ku asembayo okuba owa wansi okutuuka ku asinga okuba ow’ekitiibwa, beefunira ebintu mu makubo amakyamu;+

Bannabbi ne bakabona bonna si ba mazima.+

11 Obuvune omuwala w’abantu bange bw’alina bagezaako kubuwonya kungulu kwokka nga bagamba nti,

“Waliwo emirembe! Waliwo emirembe!”

So ng’ate tewali mirembe.+

12 Bakwatibwa ensonyi olw’ebintu eby’omuzizo bye bakoze?

Tebakwatibwa nsonyi n’akamu!

Tebamanyi na kiyitibwa kuswala!+

Kyebaliva bagwa mu abo abagudde.

Bwe ndibabonereza balyesittala,’+ Yakuwa bw’agamba.

13 ‘Bwe ndibakuŋŋaanya ndibamalawo,’ Yakuwa bw’agamba.

‘Ku muzabbibu tekulisigalako zzabbibu ne ku mutiini tekulisigalako ttiini, era ebikoola biriwotoka.

Ne bye nnabawa balibifiirwa.’”

14 “Lwaki tutudde wano?

Ka tukuŋŋaane tuyingire mu bibuga ebiriko bbugwe+ tufiire eyo.

Kubanga Yakuwa Katonda waffe ajja kututta,

Atuwa amazzi agalimu obutwa okunywa,+

Olw’okuba twonoonye mu maaso ga Yakuwa.

15 Waaliwo essuubi ery’okufuna emirembe, naye tewali kirungi ekyajja,

N’essuubi ery’okuwonyezebwa, naye entiisa y’eriwo!+

16 Okufugula kw’embalaasi ze kuwulirwa mu Ddaani.

Amaloboozi g’embalaasi ze ennume bwe gawulirwa,

Ensi yonna ekankana.

Omulabe ajja okuzikiriza ensi ne byonna ebigirimu,

Ekibuga n’abakibeeramu.”

17 “Kubanga laba, ŋŋenda kubasindikira emisota,

Emisota egy’obusagwa egitasobola kulogebwa,

Era gijja kubaluma,” Yakuwa bw’agamba.

18 Ennaku yange teyinza kuwona;

Omutima gwange mulwadde.

19 Eddoboozi eriwanjaga liwulirwa mu nsi ey’ewala

Lya muwala w’abantu bange:

“Yakuwa tali mu Sayuuni?

Oba kabaka waakyo tali mu kyo?”

“Lwaki bannyiiza n’ebifaananyi byabwe ebyole,

Ne bakatonda abalala abatalina mugaso?”

20 “Ekiseera ky’amakungula kiweddeko, ekiseera eky’omusana kikomye,

Naye tetulokoleddwa!”

21 Nnumwa olw’obuvune bw’omuwala w’abantu bange;+

Ndi munakuwavu,

Era ntidde nnyo.

22 Teri basamu* mu Gireyaadi?+

Oba teriiyo awonya?*+

Lwaki omuwala w’abantu bange tawonyezeddwa?+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share