LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okukungubaga 4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ebizibu ebyaliwo nga Yerusaalemi kizingiziddwa

        • Ebbula ly’emmere (4, 5, 9)

        • Abakazi bafumba abaana baabwe (10)

        • Yakuwa afuse obusungu bwe (11)

Okukungubaga 4:1

Marginal References

  • +1Sk 6:22
  • +1Sk 5:17; 7:9-12
  • +Yer 52:12, 13

Okukungubaga 4:3

Marginal References

  • +Lev 26:29; Ma 28:53-57; Yer 19:9; Kuk 4:10
  • +Yob 39:14-16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2007, lup. 11

Okukungubaga 4:4

Marginal References

  • +Kuk 1:11; 2:11, 12
  • +Yer 52:6

Okukungubaga 4:5

Footnotes

  • *

    Obut., “engoye emmyufu,” kwe kugamba, engoye emmyufu ez’ebbeeyi.

Marginal References

  • +Am 6:4, 7
  • +Yer 6:2, 26

Okukungubaga 4:6

Footnotes

  • *

    Obut., “Ensobi ya.”

  • *

    Obut., “ekibi.”

Marginal References

  • +Ezk 16:48
  • +Lub 19:24, 25; Dan 9:12

Okukungubaga 4:7

Marginal References

  • +Kbl 6:2

Okukungubaga 4:8

Marginal References

  • +Zb 102:5

Okukungubaga 4:9

Marginal References

  • +Yer 29:17; 38:2

Okukungubaga 4:10

Marginal References

  • +Lev 26:29; Kuk 2:20; 4:3
  • +Ma 28:54-57

Okukungubaga 4:11

Marginal References

  • +Yer 6:11; 7:20; Ezk 22:31
  • +Ma 32:22; 2Sk 25:9, 10

Okukungubaga 4:12

Marginal References

  • +Ma 29:24; 1Sk 9:8

Okukungubaga 4:13

Marginal References

  • +Yer 5:31; 14:14; Mi 3:11; Zef 3:4
  • +Yer 26:8; Mat 23:31; Bik 7:52

Okukungubaga 4:14

Marginal References

  • +Ma 28:28; Zef 1:17
  • +Is 1:15; Yer 2:34

Okukungubaga 4:15

Footnotes

  • *

    Oba, “kubeera wano ng’abagwira.”

Marginal References

  • +Ma 28:25, 65

Okukungubaga 4:16

Marginal References

  • +Lev 26:33; Ma 28:64; Yer 24:9
  • +2Sk 25:18, 21
  • +Kuk 5:12; Ezk 9:6

Okukungubaga 4:17

Marginal References

  • +Kuk 1:19
  • +Yer 37:7; Ezk 29:6

Okukungubaga 4:18

Marginal References

  • +2Sk 25:5; Kuk 3:52

Okukungubaga 4:19

Marginal References

  • +Ma 28:49, 50; Is 5:26; Yer 4:13; Kab 1:8

Okukungubaga 4:20

Marginal References

  • +Yer 37:1
  • +2Sk 25:5, 6; Yer 39:5

Okukungubaga 4:21

Marginal References

  • +Zb 137:7; Ob 12
  • +Yer 25:17, 20; Ob 16
  • +Yer 49:10, 12

Okukungubaga 4:22

Marginal References

  • +Lev 26:44; Is 52:1; 60:18
  • +Is 34:5; Ezk 25:13; 35:15; Am 1:11; Ob 13

General

Kung. 4:11Sk 6:22
Kung. 4:11Sk 5:17; 7:9-12
Kung. 4:1Yer 52:12, 13
Kung. 4:3Lev 26:29; Ma 28:53-57; Yer 19:9; Kuk 4:10
Kung. 4:3Yob 39:14-16
Kung. 4:4Kuk 1:11; 2:11, 12
Kung. 4:4Yer 52:6
Kung. 4:5Am 6:4, 7
Kung. 4:5Yer 6:2, 26
Kung. 4:6Ezk 16:48
Kung. 4:6Lub 19:24, 25; Dan 9:12
Kung. 4:7Kbl 6:2
Kung. 4:8Zb 102:5
Kung. 4:9Yer 29:17; 38:2
Kung. 4:10Lev 26:29; Kuk 2:20; 4:3
Kung. 4:10Ma 28:54-57
Kung. 4:11Yer 6:11; 7:20; Ezk 22:31
Kung. 4:11Ma 32:22; 2Sk 25:9, 10
Kung. 4:12Ma 29:24; 1Sk 9:8
Kung. 4:13Yer 5:31; 14:14; Mi 3:11; Zef 3:4
Kung. 4:13Yer 26:8; Mat 23:31; Bik 7:52
Kung. 4:14Ma 28:28; Zef 1:17
Kung. 4:14Is 1:15; Yer 2:34
Kung. 4:15Ma 28:25, 65
Kung. 4:16Lev 26:33; Ma 28:64; Yer 24:9
Kung. 4:162Sk 25:18, 21
Kung. 4:16Kuk 5:12; Ezk 9:6
Kung. 4:17Kuk 1:19
Kung. 4:17Yer 37:7; Ezk 29:6
Kung. 4:182Sk 25:5; Kuk 3:52
Kung. 4:19Ma 28:49, 50; Is 5:26; Yer 4:13; Kab 1:8
Kung. 4:20Yer 37:1
Kung. 4:202Sk 25:5, 6; Yer 39:5
Kung. 4:21Zb 137:7; Ob 12
Kung. 4:21Yer 25:17, 20; Ob 16
Kung. 4:21Yer 49:10, 12
Kung. 4:22Lev 26:44; Is 52:1; 60:18
Kung. 4:22Is 34:5; Ezk 25:13; 35:15; Am 1:11; Ob 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okukungubaga 4:1-22

Okukungubaga

א [Alefu]

4 Zzaabu abadde amasamasa afumye, zzaabu omulungi!+

Amayinja amatukuvu+ gasaasaanyiziddwa mu nguudo zonna!+

ב [Besu]

 2 Abaana ba Sayuuni abaagalwa, abaali ab’omuwendo nga zzaabu alongooseddwa,

Kati batwalibwa ng’ebibya eby’ebbumba,

Ebyakolebwa n’emikono gy’omubumbi.

ג [Gimeri]

 3 N’ebibe biwa abaana baabyo amabeere okuyonka,

Naye omuwala w’abantu bange afuuse mukambwe+ nga maaya mu ddungu.+

ד [Dalesi]

 4 Olulimi lw’omwana ayonka lukwatira ku kibuno kye olw’ennyonta.

Abaana basaba emmere,+ naye tewali agibawa.+

ה [Ke]

 5 Abaalyanga emmere ennungi bagalamidde mu nguudo olw’enjala.+

Abaakuzibwa nga bambala engoye ez’ebbeeyi*+ beebaka mu ntuumu z’evvu.

ו [Wawu]

 6 Ekibonerezo kya* muwala w’abantu bange kisinga ekibonerezo* ky’ekibuga Sodomu,+

Ekyazikirizibwa mu kaseera obuseera nga tewali akiyamba.+

ז [Zayini]

 7 Abanaziri+ ba Sayuuni baali balongoofu okusinga omuzira, baali beeru okusinga amata.

Baali bamyufu okusinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja; baali ng’amayinja ga safiro amazigule.

ח [Kesu]

 8 Kati bafuuse baddugavu okusinga omunyale;

Kizibu okubategeera nga bali mu nguudo.

Olususu lwabwe lukwatidde ku magumba gaabwe;+ lufuuse ng’ekiti ekikalu.

ט [Tesu]

 9 Abo abattiddwa ekitala basinga abo abafudde enjala;+

Bakogga olw’obutaba na mmere ne baba ng’abafumitiddwa ekitala.

י [Yodi]

10 Emikono gy’abakazi ab’ekisa gifumbye abaana baabwe.+

Bafuuse mmere yaabwe ey’okukungubaga mu kiseera eky’okugwa kw’omuwala w’abantu bange.+

כ [Kafu]

11 Yakuwa alaze ekiruyi kye;

Afuse obusungu bwe obubuubuuka.+

Akoleeza omuliro mu Sayuuni ogusaanyaawo emisingi gyakyo.+

ל [Lamedi]

12 Bakabaka b’ensi n’abantu bonna ababeera mu nsi baali tebakikkiriza

Nti omulabe n’oyo abawalana bayinza okuyingira mu miryango gya Yerusaalemi.+

מ [Memu]

13 Ekyo kyabaawo olw’ebibi bya bannabbi baakyo n’ensobi za bakabona baakyo,+

Abaayiwa omusaayi gw’abatuukirivu abaali mu kyo.+

נ [Nuni]

14 Bannabbi ne bakabona babungeetera mu nguudo nga balinga bamuzibe.+

Bafuuse abatali balongoofu olw’omusaayi,+

Ne kiba nti tewali asobola kukwata ku byambalo byabwe.

ס [Sameki]

15 Babagamba nti: “Mugende eri! Temuli balongoofu!” “Mugende eri! Temutukwatako!”

Tebalina wa kubeera era babundabunda.

Abantu ab’omu mawanga bagamba nti: “Tebasobola kubeera naffe wano.*+

פ [Pe]

16 Yakuwa abasaasaanyizza;+

Tajja kuddamu kubakwatirwa kisa.

Abantu tebajja kuwa bakabona kitiibwa+ wadde okulaga abakadde ekisa.”+

ע [Ayini]

17 Ne kaakano amaaso gaffe gakooye okunoonyeza obwereere obuyambi.+

Twanoonya obuyambi okuva eri eggwanga eryali litasobola kutulokola.+

צ [Sade]

18 Batuyigga buli we tugenda+ ne kiba nti tetusobola kutambulira mu bifo byaffe ebya lukale.

Enkomerero yaffe esembedde; ennaku zaffe ziweddeyo, kubanga enkomerero yaffe etuuse.

ק [Kofu]

19 Abaali batuwondera baali bawenyuka okusinga empungu ez’omu bbanga.+

Baatugobera ku nsozi; baatuteegera mu ddungu.

ר [Lesu]

20 Oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta+ era omukka gw’omu nnyindo zaffe, bamukwasizza mu kinnya kyabwe ekinene,+

Oyo gwe twayogerako nti: “Tulituula mu kisiikirize kye mu mawanga.”

ש [Sini]

21 Jaganya era sanyuka ggwe muwala wa Edomu+ abeera mu nsi ya Uzzi.

Naye naawe ekikopo kijja kukuweebwa,+ era ojja kutamiira weeyambule osigale bukunya.+

ת [Tawu]

22 Ggwe muwala wa Sayuuni, ekibonerezo olw’ensobi zo kiweddeyo.

Tajja kuddamu kukutwala mu buwaŋŋanguse.+

Naye Katonda ajja kujjukira ensobi zo, ggwe muwala wa Edomu.

Ajja kwanika ebibi byo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share