LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okussa obwesige mu yeekaalu ya Yakuwa tekigasa (1-11)

      • Yeekaalu ya kufuuka nga Siiro (12-15)

      • Okusinza okutaliimu nsa kuvumirirwa (16-34)

        • “Nnaabakyala w’Eggulu” asinzibwa (18)

        • Okusaddaaka abaana mu Kinomu (31)

Yeremiya 7:3

Marginal References

  • +Yer 26:13

Yeremiya 7:4

Footnotes

  • *

    Obut., “Bino,” nga bategeeza ebizimbe byonna ebya yeekaalu.

Marginal References

  • +Mi 3:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 10

    11/1/1988, lup. 5, 9

Yeremiya 7:5

Marginal References

  • +Yer 21:12; 22:3

Yeremiya 7:6

Footnotes

  • *

    Oba, “abaana abatalina bakitaabwe.”

Marginal References

  • +Ma 24:17; Zb 82:3; Zek 7:9, 10; Yak 1:27
  • +Ma 8:19

Yeremiya 7:8

Marginal References

  • +Is 30:10; Yer 5:31; 14:14

Yeremiya 7:9

Footnotes

  • *

    Oba, “okunyookereza omukka gwa ssaddaaka.”

Marginal References

  • +Is 3:14; Mi 2:2
  • +Yer 5:2
  • +Yer 11:13

Yeremiya 7:10

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    3/2017, lup. 3

Yeremiya 7:11

Marginal References

  • +Mat 21:13; Mak 11:17; Luk 19:45, 46

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1988, lup. 5

Yeremiya 7:12

Marginal References

  • +Yos 18:1
  • +Ma 12:5, 11
  • +1Sa 4:11; Zb 78:60; Yer 26:6, 9

Yeremiya 7:13

Footnotes

  • *

    Obut., “nnakeeranga ne njogera nammwe.”

Marginal References

  • +2By 36:15, 16; Yer 25:3, 4
  • +Is 65:12

Yeremiya 7:14

Marginal References

  • +2Sk 25:8, 9
  • +Yer 7:4
  • +1Sa 4:10, 11; Zb 78:60; Yer 26:4, 6; Kuk 2:7

Yeremiya 7:15

Marginal References

  • +2Sk 17:22, 23

Yeremiya 7:16

Marginal References

  • +Kuv 32:9, 10; Yer 11:14
  • +Yer 15:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2001, lup. 29-30

Yeremiya 7:18

Footnotes

  • *

    Kitiibwa kya katonda omukazi eyasinzibwanga Abayisirayiri bakyewaggula; ayinza okuba nga yali katonda wa luzaalo.

Marginal References

  • +Yer 44:17
  • +Is 57:6; Yer 19:13; Ezk 20:28

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1988, lup. 6, 12

Yeremiya 7:19

Footnotes

  • *

    Oba, “banyiiza; basosonkereza.”

Marginal References

  • +Dan 9:7

Yeremiya 7:20

Marginal References

  • +Kuk 2:3
  • +2Sk 22:17; Yer 17:27

Yeremiya 7:21

Marginal References

  • +Is 1:11; Yer 6:20; Kos 8:13; Am 5:21

Yeremiya 7:22

Marginal References

  • +1Sa 15:22; Kos 6:6

Yeremiya 7:23

Marginal References

  • +Kuv 19:5; Lev 26:3, 12
  • +Ma 5:29

Yeremiya 7:24

Footnotes

  • *

    Oba, “magezi gaabwe.”

Marginal References

  • +Kuv 32:8
  • +Kos 4:16; Zek 7:12

Yeremiya 7:25

Footnotes

  • *

    Obut., “buli lunaku nga nkeera ne ntuma.”

Marginal References

  • +Ma 9:7; 1Sa 8:8
  • +2Sk 17:13; 2By 36:15; Nek 9:17, 30; Yer 25:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1988, lup. 15

Yeremiya 7:26

Footnotes

  • *

    Obut., “Baakakanyaza ensingo yaabwe.”

Marginal References

  • +2By 33:10; Yer 25:3

Yeremiya 7:27

Marginal References

  • +Yer 26:2; Ezk 2:7

Yeremiya 7:28

Footnotes

  • *

    Obut., “busaliddwako ku mumwa gwabwe.”

Marginal References

  • +Yer 5:1; Mi 7:2

Yeremiya 7:30

Marginal References

  • +2Sk 21:1, 4; 2By 33:1, 4; Yer 23:11; 32:34

Yeremiya 7:31

Footnotes

  • *

    Laba Awanny., “Ggeyeena.”

  • *

    Oba, “mu birowoozo byange.”

Marginal References

  • +Yos 15:8, 12
  • +Ma 12:29-31; 2Sk 17:17; 2By 28:1, 3; 33:1, 6; Ezk 20:31
  • +Lev 18:21; 20:3; Yer 19:5, 6; 32:35

Yeremiya 7:32

Footnotes

  • *

    Laba Awanny., “Ggeyeena.”

Marginal References

  • +Yer 19:11; Ezk 6:4, 5

Yeremiya 7:33

Marginal References

  • +Ma 28:26; Zb 79:2; Yer 16:4

Yeremiya 7:34

Marginal References

  • +Is 24:8; Yer 25:10
  • +Lev 26:33; Is 1:7; 6:11

General

Yer. 7:3Yer 26:13
Yer. 7:4Mi 3:11
Yer. 7:5Yer 21:12; 22:3
Yer. 7:6Ma 24:17; Zb 82:3; Zek 7:9, 10; Yak 1:27
Yer. 7:6Ma 8:19
Yer. 7:8Is 30:10; Yer 5:31; 14:14
Yer. 7:9Is 3:14; Mi 2:2
Yer. 7:9Yer 5:2
Yer. 7:9Yer 11:13
Yer. 7:11Mat 21:13; Mak 11:17; Luk 19:45, 46
Yer. 7:12Yos 18:1
Yer. 7:12Ma 12:5, 11
Yer. 7:121Sa 4:11; Zb 78:60; Yer 26:6, 9
Yer. 7:132By 36:15, 16; Yer 25:3, 4
Yer. 7:13Is 65:12
Yer. 7:142Sk 25:8, 9
Yer. 7:14Yer 7:4
Yer. 7:141Sa 4:10, 11; Zb 78:60; Yer 26:4, 6; Kuk 2:7
Yer. 7:152Sk 17:22, 23
Yer. 7:16Kuv 32:9, 10; Yer 11:14
Yer. 7:16Yer 15:1
Yer. 7:18Yer 44:17
Yer. 7:18Is 57:6; Yer 19:13; Ezk 20:28
Yer. 7:19Dan 9:7
Yer. 7:20Kuk 2:3
Yer. 7:202Sk 22:17; Yer 17:27
Yer. 7:21Is 1:11; Yer 6:20; Kos 8:13; Am 5:21
Yer. 7:221Sa 15:22; Kos 6:6
Yer. 7:23Kuv 19:5; Lev 26:3, 12
Yer. 7:23Ma 5:29
Yer. 7:24Kuv 32:8
Yer. 7:24Kos 4:16; Zek 7:12
Yer. 7:25Ma 9:7; 1Sa 8:8
Yer. 7:252Sk 17:13; 2By 36:15; Nek 9:17, 30; Yer 25:4
Yer. 7:262By 33:10; Yer 25:3
Yer. 7:27Yer 26:2; Ezk 2:7
Yer. 7:28Yer 5:1; Mi 7:2
Yer. 7:302Sk 21:1, 4; 2By 33:1, 4; Yer 23:11; 32:34
Yer. 7:31Yos 15:8, 12
Yer. 7:31Ma 12:29-31; 2Sk 17:17; 2By 28:1, 3; 33:1, 6; Ezk 20:31
Yer. 7:31Lev 18:21; 20:3; Yer 19:5, 6; 32:35
Yer. 7:32Yer 19:11; Ezk 6:4, 5
Yer. 7:33Ma 28:26; Zb 79:2; Yer 16:4
Yer. 7:34Is 24:8; Yer 25:10
Yer. 7:34Lev 26:33; Is 1:7; 6:11
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 7:1-34

Yeremiya

7 Awo Yakuwa n’ayogera ne Yeremiya n’amugamba nti: 2 “Yimirira mu mulyango gw’ennyumba ya Yakuwa olangirire obubaka buno, ‘Muwulire ekigambo kya Yakuwa mmwe mmwenna abantu b’omu Yuda abayingira mu miryango gino okuvunnamira Yakuwa. 3 Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: “Mutereeze amakubo gammwe era mukyuse ebikolwa byammwe, nange nnaabaleka ne musigala mu kifo kino.+ 4 Temussa bwesige mu bigambo bya bulimba nga mugamba nti, ‘Eno* ye yeekaalu ya Yakuwa, yeekaalu ya Yakuwa, yeekaalu ya Yakuwa!’+ 5 Bwe munaatereeza amakubo gammwe era ne mukyusa ebikolwa byammwe; bwe munaakola ku nsonga z’omuntu ne munne mu bwenkanya;+ 6 bwe mutaanyigirize bagwira, abaana enfuuzi,* ne bannamwandu;+ bwe mutaayiwe musaayi gw’abantu abatalina musango mu kifo kino; era bwe mutaagoberere bakatonda balala ne mwereetera obuzibu;+ 7 olwo nja kubaleka mweyongere okubeera mu kifo kino, mu nsi gye nnawa bajjajjammwe okuba eyaabwe emirembe n’emirembe.”’”

8 “Mussa obwesige mu bigambo eby’obulimba,+ naye tebijja kubagasa n’akamu. 9 Musobola okubba,+ okutemula, okwenda, okulayira eby’obulimba,+ okuwaayo ssaddaaka* eri Bbaali,+ era n’okugoberera bakatonda be mwali mutamanyi, 10 ate ne mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno eyitibwa erinnya lyange ne mugamba nti, ‘Tujja kulokolebwa,’ wadde nga mukola ebintu bino byonna eby’omuzizo? 11 Ennyumba eno eyitibwa erinnya lyange efuuse mpuku y’abanyazi mu maaso gammwe?+ Laba! nkyerabiddeko nze kennyini,” Yakuwa bw’agamba.

12 “‘Kale, mugende kati mu kifo kyange mu Siiro,+ kye nnasooka okulonda kibeeremu erinnya lyange,+ mulabe kye nnakikola olw’ebikolwa ebibi eby’abantu bange Abayisirayiri.+ 13 Naye mweyongera okukola ebintu ebyo byonna,’ Yakuwa bw’agamba, ‘era wadde nnayogera nammwe enfunda n’enfunda,* temwawuliriza.+ Nnabakoowoolanga naye temwayanukula.+ 14 Kale ennyumba eno eyitibwa erinnya+ lyange gye mwesiga,+ n’ekifo kino kye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe, nja kubikola kye nnakola Siiro.+ 15 Nja kubagoba mu maaso gange, nga bwe nnagoba baganda bammwe bonna, bazzukulu ba Efulayimu bonna.’+

16 “Kale tosabira bantu bano. Tonkoowoola wadde okunsaba wadde okunneegayirira ku lwabwe,+ kubanga sijja kukuwuliriza.+ 17 Tolaba bye bakola mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi? 18 Abaana batyaba enku, bataata bakuma omuliro, abakyala bakanda eŋŋaano ey’okukola emigaati egy’okuwaayo eri Nnaabakyala w’Eggulu,*+ era bawaayo ebiweebwayo eby’eby’okunywa eri bakatonda abalala okunnyiiza.+ 19 ‘Naye nze gwe balumya?’* Yakuwa bw’agamba. ‘Bo bennyini si be beerumya, ne baswala?’+ 20 N’olwekyo, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba ‘Laba! Obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kuyiibwa ku kifo kino,+ ku bantu n’ensolo, ku miti egy’oku ttale ne ku bibala by’ettaka; obusungu bwange bujja kubuubuuka, era tebujja kuzikizibwa.’+

21 “Bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa mubigatte ku ssaddaaka zammwe endala, era mmwe mmwennyini ennyama mugirye.+ 22 Kubanga ku lunaku lwe nnaggya bajjajjammwe mu nsi ya Misiri, saayogera nabo era saabawa kiragiro kikwata ku biweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.+ 23 Naye nnabawa ekiragiro kino: “Mugondere eddoboozi lyange, nange nja kubeera Katonda wammwe, nammwe mubeere bantu bange.+ Mutambulirenga mu makubo gonna ge mbalagira, ebintu bibagendere bulungi.”’+ 24 Kyokka tebaawuliriza wadde okuntegera amatu,+ wabula baatambulira mu kuteesa kwabwe* bo, ne bagugubira ku ebyo emitima gyabwe emibi bye gyagala,+ era badda emabega, so si mu maaso, 25 okuva ku lunaku bajjajjammwe lwe baava mu nsi ya Misiri okutuusa kati.+ Nnabatumiranga abaweereza bange bonna bannabbi, nga mbatuma buli lunaku, enfunda n’enfunda.*+ 26 Naye tebampuliriza, era tebantegera kutu.+ Baali bakakanyavu,* era baakola ebibi okusinga ne bajjajjaabwe!

27 “Ojja kubagamba ebigambo bino byonna,+ naye tebajja kukuwuliriza; ojja kubakoowoola naye tebajja kukwanukula. 28 Ate era ojja kubagamba nti, ‘Lino lye ggwanga eritaagondera ddoboozi lya Yakuwa Katonda waalyo era eryagaana okuwabulwa. Obwesigwa buweddewo era tebukyayogerwako.’*+

29 “Salako enviiri zo empanvu ozisuule, era oyimbe oluyimba olw’okukungubaga ku busozi obutaliiko bimera, kubanga Yakuwa yeesambye omulembe guno ogumunyiizizza era ajja kugwabulira. 30 ‘Kubanga abantu b’omu Yuda bakoze ebintu ebibi mu maaso gange,’ Yakuwa bw’agamba. ‘Batadde ebifaananyi byabwe ebyenyinyaza mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugifuula etali nnongoofu.+ 31 Bazimbye ebifo ebigulumivu eby’e Tofesi, ekiri mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,*+ okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro,+ ekintu kye siragirangako era ekitayingirangako mu mutima gwange.’*+

32 “‘Kale laba! ennaku zijja,’ Yakuwa bw’agamba, ‘lwe kiriba nga tekikyayitibwa Tofesi oba Ekiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,* wabula Ekiwonvu eky’Okuttiramu. Bajja kuziika emirambo mu Tofesi okutuusa nga tekikyalimu kifo kya kuziikamu.+ 33 Emirambo gy’abantu bano gijja kuba mmere ya binyonyi ebibuuka mu bbanga n’ebisolo eby’oku nsi, era tewaliba abigoba.+ 34 Nja kukomya eddoboozi ly’okujaguza n’ery’okusanyuka, eddoboozi ly’omugole omusajja era n’ery’omugole omukazi+ mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, kubanga ensi ejja kufuuka matongo.’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share