LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • 1 Timoseewo 6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Abaddu bawe bakama baabwe ekitiibwa (1, 2)

      • Abayigiriza eby’obulimba n’abaagala ssente (3-10)

      • Okubuulirira eri omusajja wa Katonda (11-16)

      • Bakolenga ebirungi (17-19)

      • Kuuma kye wateresebwa (20, 21)

1 Timoseewo 6:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 13:7; Bef 6:5; Bak 3:22
  • +1Pe 2:13, 14

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1991, lup. 22

1 Timoseewo 6:2

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/15/2008, lup. 31

    2/1/1991, lup. 22

1 Timoseewo 6:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Ti 1:13
  • +Tit 1:1, 2

1 Timoseewo 6:4

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “okuvuma.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ko 8:2
  • +2Ti 2:14; Tit 1:10; 3:9

1 Timoseewo 6:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Ko 11:3; 2Ti 3:8; Yud 10
  • +1Pe 5:2

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2002, lup. 10

1 Timoseewo 6:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1Ti 4:8

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 37

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2014, lup. 15

    11/15/2011, lup. 19

1 Timoseewo 6:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yob 1:21; Zb 49:16, 17

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 37

1 Timoseewo 6:8

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, ”n’aw’okusula.” Obutereevu, ”n’eky’okwebikka.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 30:8, 9; Beb 13:5

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2022, lup. 5

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 37

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2003, lup. 4-6

    7/1/2001, lup. 6-7

    Sinza Katonda, lup. 103

    Essanyu mu Maka, lup. 40

    Emirembe n’Obutebenkevu, lup. 114-115

1 Timoseewo 6:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 13:22
  • +Nge 28:20, 22; Yak 5:1

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2019, lup. 17-18

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2011, lup. 22-23

    Sinza Katonda, lup. 103

1 Timoseewo 6:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 6:24

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu, ekitundu 166

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 37

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2019, lup. 17-18

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2010, lup. 4

    3/1/2002, lup. 31

    7/1/2001, lup. 5-6

    1/1/1995, lup. 7-8

    Sinza Katonda, lup. 103

1 Timoseewo 6:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 15:1; Mat 5:5; Bag 5:22, 23; Bak 3:12; 1Pe 3:15

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2008, lup. 10, 12-15

    4/1/2003, lup. 24

    7/1/2001, lup. 7-8

    3/1/1990, lup. 3-7

1 Timoseewo 6:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 27:11; Yok 18:33, 36; 19:10, 11

1 Timoseewo 6:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Se 2:8; 2Ti 4:1, 8

1 Timoseewo 6:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Kub 17:14; 19:16

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/15/2008, lup. 31

1 Timoseewo 6:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Beb 7:15, 16
  • +Bik 9:3; Kub 1:13, 16
  • +Yok 14:19; 1Pe 3:18

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/15/2008, lup. 31

1 Timoseewo 6:17

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba Awanny.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 13:22; Mak 10:23
  • +Mub 5:19; Mat 6:33; Yak 1:17

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2013, lup. 13-14

    8/1/2007, lup. 27-28

    7/1/2001, lup. 8

1 Timoseewo 6:18

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bar 12:13; 2Ko 8:14; Yak 1:27

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    12/2021, lup. 30

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 37

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/15/2013, lup. 13-14

    7/1/2001, lup. 8

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    6/2000, lup. 1

1 Timoseewo 6:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mat 6:20
  • +Luk 16:9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Bye Tuyiga, lup. 203-204

    Baibuli Ky’Eyigiriza, lup. 192-193

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/1/2007, lup. 19-20

    7/1/2001, lup. 8

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    9/2003, lup. 6

1 Timoseewo 6:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2Ti 1:13, 14; 3:14; 4:5
  • +1Ko 2:13; 3:19; Bak 2:8

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2020, lup. 26-30

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2000, lup. 22

    12/1/1994, lup. 20-21

    12/1/1994, lup. 6-7

Ebirala

1 Tim. 6:1Bar 13:7; Bef 6:5; Bak 3:22
1 Tim. 6:11Pe 2:13, 14
1 Tim. 6:32Ti 1:13
1 Tim. 6:3Tit 1:1, 2
1 Tim. 6:41Ko 8:2
1 Tim. 6:42Ti 2:14; Tit 1:10; 3:9
1 Tim. 6:52Ko 11:3; 2Ti 3:8; Yud 10
1 Tim. 6:51Pe 5:2
1 Tim. 6:61Ti 4:8
1 Tim. 6:7Yob 1:21; Zb 49:16, 17
1 Tim. 6:8Nge 30:8, 9; Beb 13:5
1 Tim. 6:9Mat 13:22
1 Tim. 6:9Nge 28:20, 22; Yak 5:1
1 Tim. 6:10Mat 6:24
1 Tim. 6:11Nge 15:1; Mat 5:5; Bag 5:22, 23; Bak 3:12; 1Pe 3:15
1 Tim. 6:13Mat 27:11; Yok 18:33, 36; 19:10, 11
1 Tim. 6:142Se 2:8; 2Ti 4:1, 8
1 Tim. 6:15Kub 17:14; 19:16
1 Tim. 6:16Beb 7:15, 16
1 Tim. 6:16Bik 9:3; Kub 1:13, 16
1 Tim. 6:16Yok 14:19; 1Pe 3:18
1 Tim. 6:17Mat 13:22; Mak 10:23
1 Tim. 6:17Mub 5:19; Mat 6:33; Yak 1:17
1 Tim. 6:18Bar 12:13; 2Ko 8:14; Yak 1:27
1 Tim. 6:19Mat 6:20
1 Tim. 6:19Luk 16:9
1 Tim. 6:202Ti 1:13, 14; 3:14; 4:5
1 Tim. 6:201Ko 2:13; 3:19; Bak 2:8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Timoseewo 6:1-21

1 Timoseewo

6 Abo abali mu kikoligo ky’obuddu basaanidde okutwala bakama baabwe ng’abagwanidde okuweebwa ekitiibwa ekingi,+ erinnya lya Katonda n’okuyigiriza bireme kwogerwako bubi.+ 2 Ate era, abo abalina bakama baabwe abakkiriza baleme kubanyooma olw’okuba ba luganda. Wabula, babaweerezenga nga basanyufu kubanga abo abaganyulwa mu buweereza bwabwe obulungi bakkiriza bannaabwe era baganda baabwe abaagalwa.

Weeyongere okuyigiriza ebintu bino n’okubibakuutira. 3 Singa omuntu yenna ayigiriza enjigiriza endala era nga takkiriziganya na bulagirizi obw’omuganyulo+ obuva eri Mukama waffe Yesu Kristo, wadde okuyigiriza okukwatagana n’okwemalira ku Katonda,+ 4 aba wa malala era talina kintu kyonna ky’ategeera.+ Yatamiira okukuba empaka n’okuwakana ku bigambo.+ Ebintu bino bivaamu obuggya, okuyomba, okuwaayiriza,* okulowooleza abalala ebintu ebibi, 5 n’okukaayana ku bintu ebitaliimu okuleetebwawo abantu aboonoonefu mu birowoozo+ era abatakyategeera mazima, abalowooza nti okwemalira ku Katonda kitegeeza kwefunira bintu.+ 6 Mazima ddala, okwemalira ku Katonda+ awamu n’okuba omumativu mulimu empeera nnene. 7 Kubanga tetwaleeta kintu kyonna mu nsi era tetulina kye tuyinza kuggyamu.+ 8 N’olwekyo, bwe tunaabanga n’eby’okulya n’eby’okwambala* tunaabanga bamativu n’ebyo.+

9 Kyokka abo abamaliridde okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego+ era batwalirizibwa okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okuviirako abantu okuzikiririra ddala.+ 10 Kubanga okwagala ennyo ssente ye nsibuko y’ebibi ebya buli ngeri, era olw’okuzaagala ennyo abamu bakyamiziddwa ne bava mu kukkiriza ne beereetera obulumi bungi.+

11 Kyokka ggwe omusajja wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo. Naye luubiriranga obutuukirivu, okwemalira ku Katonda, okukkiriza, okwagala, obugumiikiriza, n’obukkakkamu.+ 12 Lwananga olutalo olulungi olw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa era n’oyatula mu maaso g’abajulirwa abangi.

13 Mu maaso ga Katonda abeesaawo ebintu byonna nga biramu, ne mu maaso ga Kristo Yesu, eyawa obujulirwa mu lujjudde eri Pontiyo Piraato,+ nkulagira 14 okukwatanga ekiragiro nga toliiko bbala wadde eky’okunenyezebwa, okutuusa ku kulabisibwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo,+ 15 oyo omusanyufu era alina obuyinza obungi kw’alyoleka mu kiseera kyakwo ekigereke. Ye Kabaka w’abo abafuga nga bakabaka era Mukama w’abo abafuga ng’abaami,+ 16 oyo yekka atayinza kufa,+ abeera mu kitangaala ekitasemberekeka,+ omuntu yenna gw’atalabangako era gw’atayinza kulaba.+ Aweebwe ekitiibwa n’obuyinza obutaggwaawo. Amiina.

17 Lagira abagagga ab’omu nteekateeka y’ebintu eno* obuteegulumiza, n’obutateeka ssuubi lyabwe mu by’obugagga ebitali bya lubeerera,+ wabula baliteeke mu Katonda atuwa mu bungi ebintu byonna ebitusanyusa.+ 18 Bagambe bakolenga ebirungi, babenga bagagga mu bikolwa ebirungi, babenga bagabi, bagabanenga n’abalala,+ 19 bwe bakola bwe batyo, bajja kuba beeterekera eky’obugagga, kwe kugamba, omusingi omulungi gwe balizimbako mu biseera eby’omu maaso,+ basobole okunyweza obulamu obwa nnamaddala.+

20 Timoseewo, kuuma kye wateresebwa,+ nga weewala ebigambo ebitaliimu ebityoboola ebintu ebitukuvu, era nga weewala n’endowooza ezikontana, mu bukyamu ze bayita “okumanya.”+ 21 Abamu olw’okweraga nti balina okumanya ng’okwo, bavudde mu kukkiriza.

Ekisa eky’ensusso kibeere nammwe.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza