Okuva
29 “Bino by’onookola okubatukuza bampeereze nga bakabona: Ojja kuleeta ente ento ennume, n’endiga ennume bbiri ennamu obulungi,+ 2 n’emigaati egitali mizimbulukuse, n’obugaati obwetooloovu* obutali buzimbulukuse obuteekeddwamu amafuta g’ezzeyituuni, n’obugaati obw’oluwewere obutali buzimbulukuse obusiigiddwako amafuta g’ezzeyituuni.+ Ojja kubikola mu buwunga bw’eŋŋaano obutaliimu mpulunguse 3 obiteeke mu kibbo obiweereyo mu kibbo,+ era oweeyo n’ente ennume n’endiga ennume ebbiri.
4 “Ojja kuleeta Alooni ne batabani be ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu,+ obagambe banaabe n’amazzi.+ 5 Ojja kuddira ebyambalo+ oyambaze Alooni ekkanzu, n’ekizibaawo ekitaliiko mikono ekya efodi, ne efodi, n’eky’omu kifuba, era omusibe omusipi omuluke* ogwa efodi mu kiwato ogunyweze.+ 6 Ojja kuteeka ekiremba ku mutwe gwa Alooni, era ku kiremba osseeko akabonero akatukuvu ak’okwewaayo*+ eri Katonda, 7 era oddire amafuta amatukuvu*+ ogafuke ku mutwe gwe.+
8 “Oluvannyuma ojja kuleeta batabani be obambaze amakanzu+ 9 era osibe Alooni ne batabani be eby’okwesiba mu kiwato, era obasibe n’eby’oku mutwe; obwakabona bujja kubeeranga bwabwe, era lino tteeka lya lubeerera.+ Bw’otyo bw’onootongoza Alooni ne batabani be bampeereze nga bakabona.*+
10 “Ojja kuleeta ente ennume mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu, Alooni ne batabani be bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwayo.+ 11 Ojja kugittira mu maaso ga Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.+ 12 Ojja kuddira ogumu ku musaayi gw’ente oguteeke ku mayembe g’ekyoto+ ng’okozesa olugalo lwo, ate omusaayi ogunaasigalawo oguyiwe ku ntobo y’ekyoto.+ 13 Oluvannyuma ojja kuddira amasavu+ gonna ag’oku byenda, n’amasavu ag’oku kibumba, n’ensigo ebbiri n’amasavu agaziriko, obyokye binyookere ku kyoto.+ 14 Naye ennyama y’ente n’eddiba lyayo n’obusa bwayo ojja kubyokya omuliro ebweru w’olusiisira. Ekyo kiweebwayo olw’ekibi.
15 “Oluvannyuma ojja kuddira endiga emu ennume, Alooni ne batabani be bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwayo.+ 16 Ojja kutta endiga eyo, oddire omusaayi gwayo ogumansire ku njuyi zonna ez’ekyoto.+ 17 Endiga ojja kugitemaatemamu ebitundu, oyoze ebyenda byayo+ n’amagulu gaayo, ebitundu obiteeke wamu n’omutwe gwayo. 18 Ojja kwokya endiga yonna enyookere ku kyoto. Ekyo kiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa, eky’evvumbe eddungi.*+ Ekyo kiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.
19 “Era ojja kuddira endiga endala ennume, Alooni ne batabani be bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwayo.+ 20 Ojja kutta endiga eyo, oddire ogumu ku musaayi gwayo oguteeke ku kutu kwa Alooni okwa ddyo ne ku matu ga batabani be aga ddyo ne ku ngalo ensajja ez’oku mikono gyabwe egya ddyo ne ku bigere ebisajja eby’amagulu gaabwe aga ddyo, era omansire omusaayi ku njuyi zonna ez’ekyoto. 21 Oluvannyuma ojja kuddira ogumu ku musaayi oguli ku kyoto n’agamu ku mafuta amatukuvu+ obimansire ku Alooni ne ku byambalo bye, ne ku batabani be ne ku byambalo byabwe, ye ne batabani be babeere batukuvu, era n’ebyambalo byabwe bibeere bitukuvu.+
22 “Oluvannyuma endiga ojja kugiggyako amasavu, n’omukira omusava, n’amasavu ag’oku byenda, n’amasavu ag’oku kibumba, n’ensigo ebbiri n’amasavu agaziriko,+ n’okugulu okwa ddyo, kubanga ye ndiga eweebwayo ku kutongozebwa ku bwakabona.+ 23 Mu kibbo ky’emigaati egitali mizimbulukuse ekiri mu maaso ga Yakuwa ojja kutoolamu omugaati gumu omwetooloovu, n’akagaati kamu akateekeddwamu amafuta g’ezzeyituuni, n’akagaati* kamu ak’oluwewere. 24 Byonna ojja kubiteeka mu ngalo za Alooni ne mu ngalo za batabani be, era ojja kubiwuubawuuba ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa. 25 Oluvannyuma ojja kubiggya mu ngalo zaabwe obyokere ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa, bibeere evvumbe eddungi* eri Yakuwa. Ekyo kiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.
26 “Ojja kuddira ekifuba ky’endiga eweebwayo ku kutongozebwa ku bwakabona+ eyaweereddwayo ku lwa Alooni, okiwuubewuube ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa, era ogwo gwe gujja okuba omugabo gwo. 27 Ojja kutukuza ekifuba ky’ekiweebwayo ekiwuubibwa, n’okugulu okw’ekiweebwayo ekitukuvu ekyawuubiddwa era ekyaggiddwa ku ndiga eweebwayo ku kutongozebwa ku bwakabona,+ eyaweereddwayo ku lwa Alooni ne ku lwa batabani be. 28 Bijjanga kuba bya Alooni ne batabani be olw’etteeka ery’olubeerera erinaakwatibwanga Abayisirayiri, kubanga ekyo kiweebwayo kitukuvu, era kijja kubeera kiweebwayo kitukuvu Abayisirayiri kye banaawangayo.+ Kye kiweebwayo ekitukuvu eri Yakuwa ekinaggibwanga ku ssaddaaka zaabwe ez’emirembe.+
29 “Ebyambalo ebitukuvu+ ebya Alooni bijja kukozesebwanga batabani be+ abalimuddirira, bwe banaafukibwangako amafuta ne batongozebwa okuweereza nga bakabona. 30 Kabona alimuddira mu bigere okuva mu batabani be era aliyingira mu weema ey’okusisinkaniramu okuweereza mu kifo ekitukuvu, ajja kubyambalanga okumala ennaku musanvu.+
31 “Ojja kutwala endiga ennume eweebwayo ku kutongozebwa ku bwakabona ofumbire ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu.+ 32 Alooni ne batabani be bajja kuliira+ ennyama y’endiga eyo n’emigaati egiri mu kibbo ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 33 Bajja kulya ebyo ebyakozesebwa okutangirira ebibi okusobola okubatongoza okuweereza nga bakabona* era n’okubatukuza. Naye omuntu omulala yenna* tabiryangako kubanga bitukuvu.+ 34 Emigaati oba ennyama ya ssaddaaka eweebwayo ku kutongozebwa ku bwakabona bwe bisigalangawo okutuusa enkeera, obyokyanga omuliro.+ Tebirina kuliibwa kubanga bitukuvu.
35 “Bw’otyo bw’onookola Alooni ne batabani be, ng’ogoberera ebyo byonna bye nkulagidde. Ojja kumala ennaku musanvu ng’obatongoza okuweereza nga bakabona.*+ 36 Era olw’okutangirira ebibi, ojja kuwangayo buli lunaku ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, era ojja kutangirira ekyoto kiveeko ekibi, era ojja kukifukako amafuta okukitukuza.+ 37 Ojja kumala ennaku musanvu ng’otangirira ekyoto, era ojja kukitukuza kibe kitukuvu nnyo.+ Omuntu yenna anaakikwatangako alina okuba nga mutukuvu.
38 “Bino by’onoowangayo ku kyoto: endiga bbiri ennume, nga buli emu ya mwaka gumu, buli lunaku obutayosa.+ 39 Ojja kuwangayo endiga emu ku makya, ate endiga endala ogiweeyo akawungeezi.*+ 40 Awamu n’omwana gw’endiga ogusooka, ojja kuwangayo kimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse nga butabuddwamu ekitundu kimu kya kuna ekya yini* y’amafuta agaggiddwa mu zzeyituuni enkube, ne kimu kya kuna ekya yini y’envinnyo ey’ekiweebwayo eky’eby’okunywa. 41 Ojja kuwangayo endiga ey’okubiri akawungeezi* awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekiringa ekyo ekiweebwayo ku makya, era n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekiringa ekyo ekiweebwayo ku makya. Onoobiwangayo okuba evvumbe eddungi,* ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro. 42 Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekinaaweebwangayo obutayosa mu mirembe gyammwe gyonna ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu mu maaso ga Yakuwa, we nnaabalabikiranga okwogera naawe.+
43 “Awo we nnaalabikiranga Abayisirayiri, era ekifo ekyo kijja kutukuzibwa olw’ekitiibwa kyange.+ 44 Nja kutukuza weema ey’okusisinkaniramu awamu n’ekyoto, era nja kutukuza Alooni ne batabani be+ bampeereze nga bakabona. 45 Nja kubeeranga mu bantu ba Isirayiri, era nja kubeera Katonda waabwe.+ 46 Bajja kumanya nti nze Yakuwa Katonda waabwe eyabaggya mu nsi ya Misiri ndyoke mbeerenga mu bo.+ Nze Yakuwa Katonda waabwe.