LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zekkaliya 13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Okumalawo ebifaananyi ne bannabbi ab’obulimba (1-6)

        • Bannabbi ab’obulimba ba kuswala (4-6)

      • Omusumba wa kukubwa (7-9)

        • Ekitundu eky’okusatu kya kulongoosebwa (9)

Zekkaliya 13:1

Marginal References

  • +Ezk 36:25, 29

Zekkaliya 13:2

Marginal References

  • +Kuv 23:13
  • +Ma 13:5

Zekkaliya 13:3

Marginal References

  • +Ma 13:6-9; 18:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 19

Zekkaliya 13:4

Marginal References

  • +2Sk 1:8; Mat 3:4

Zekkaliya 13:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2015, lup. 15-16

Zekkaliya 13:6

Footnotes

  • *

    Obut., “wakati w’emikono gyo?” Kwe kugamba, mu kifuba oba ku mugongo.

  • *

    Oba, “y’abo abanjagala.”

Zekkaliya 13:7

Marginal References

  • +Ezk 34:23; Mi 5:4; Yok 10:11; Beb 13:20
  • +Is 53:8; Dan 9:26; Bik 3:18
  • +Mat 26:31, 55, 56; Mak 14:27, 50; Yok 16:32

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2011, lup. 13

Zekkaliya 13:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 19

Zekkaliya 13:9

Marginal References

  • +Mal 3:2, 3
  • +Yer 30:22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 19

General

Zek. 13:1Ezk 36:25, 29
Zek. 13:2Kuv 23:13
Zek. 13:2Ma 13:5
Zek. 13:3Ma 13:6-9; 18:20
Zek. 13:42Sk 1:8; Mat 3:4
Zek. 13:7Ezk 34:23; Mi 5:4; Yok 10:11; Beb 13:20
Zek. 13:7Is 53:8; Dan 9:26; Bik 3:18
Zek. 13:7Mat 26:31, 55, 56; Mak 14:27, 50; Yok 16:32
Zek. 13:9Mal 3:2, 3
Zek. 13:9Yer 30:22
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zekkaliya 13:1-9

Zekkaliya

13 “Ku lunaku olwo ab’ennyumba ya Dawudi n’abo ababeera mu Yerusaalemi balisimirwa oluzzi okubanaazaako ekibi n’obutali bulongoofu.”+

2 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “Ku lunaku olwo ndiggirawo ddala ebifaananyi mu nsi+ era tebiriddamu kujjukirwa nate; era ndimalawo mu nsi bannabbi+ n’amaanyi ga badayimooni. 3 Omuntu bw’aliddamu okulagula, kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti, ‘Tojja kusigala ng’oli mulamu, kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Yakuwa.’ Era kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita olw’okulagula kwe.+

4 “Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe bw’aliba awa obunnabbi; tebalyambala byambalo bya bannabbi eby’ebyoya+ okusobola okulimba. 5 Aligamba nti, ‘Nze siri nnabbi. Ndi musajja mulimi, kubanga waliwo eyangula nga nkyali muvubuka.’ 6 Bwe walibaawo amubuuza nti, ‘Ate ebyo ebiwundu ebiri wakati w’ebibegaabega byo?’* Aliddamu nti, ‘Ebiwundu bino nnabifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’”*

 7 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “Ggwe ekitala, golokoka olwanyise omusumba wange,+

Olwanyise mukwano gwange.

Kuba omusumba+ endiga zisaasaane;+

Abo aba wansi ndibalaga ekisa”

 8 Bw’ati Yakuwa bw’agamba,

“Abantu ebitundu bibiri bya kusatu mu nsi yonna balittibwa ne basaanawo,

Ekimu eky’okusatu kye kirisigalawo.

 9 Ekitundu eky’okusatu ndikiyisa mu muliro;

Ndibalongoosa nga ffeeza bw’alongoosebwa,

Era ndibagezesa nga zzaabu bw’agezesebwa.+

Balikoowoola erinnya lyange,

Era nange ndibaanukula.

Ndigamba nti, ‘Bano bantu bange,’+

Era nabo baligamba nti, ‘Yakuwa ye Katonda waffe.’”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share