LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zekkaliya 9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Katonda asalira amawanga ageetooloddewo omusango (1-8)

      • Kabaka wa Sayuuni ajja (9, 10)

        • Kabaka omuwombeefu yeebagala endogoyi (9)

      • Abantu ba Yakuwa bajja kuteebwa (11-17)

Zekkaliya 9:1

Footnotes

  • *

    Obut., “kiwummulira.”

Marginal References

  • +Yer 49:27; Am 1:3
  • +Beb 4:13; 1Pe 3:12

Zekkaliya 9:2

Marginal References

  • +Yer 49:23
  • +Is 23:1; Am 1:9, 10
  • +Ezk 28:21; Yow. 3:4
  • +Ezk 28:2, 3

Zekkaliya 9:3

Marginal References

  • +Ezk 27:32, 33

Zekkaliya 9:4

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku nnyanja.”

Marginal References

  • +Ezk 26:17; 27:26
  • +Ezk 28:18

Zekkaliya 9:5

Marginal References

  • +Zef 2:4

Zekkaliya 9:6

Marginal References

  • +Am 1:8

Zekkaliya 9:7

Marginal References

  • +Is 60:14
  • +2Sa 5:6, 7; 1Sk 9:20, 21

Zekkaliya 9:8

Footnotes

  • *

    Oba, “abanyigiriza abalala.”

  • *

    Kirabika ayogera ku kubonaabona kw’abantu be.

Marginal References

  • +Zb 125:2
  • +Is 54:14

Zekkaliya 9:9

Footnotes

  • *

    Oba, “Mutuukirivu era muwanguzi; Mutuukirivu era alokoleddwa.”

  • *

    Oba, “Yeebagadde endogoyi ensajja.”

Marginal References

  • +Zb 2:6; Is 32:1; Yer 23:5; Luk 19:37, 38; Yok 1:49
  • +Mat 11:29
  • +1Sk 1:33, 34; Mat 21:5, 7; Yok 12:14, 15

Indexes

  • Research Guide

    Yesu—Ekkubo, lup. 238

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2012, lup. 12

    8/15/2011, lup. 12

    8/1/1999, lup. 24-25

    11/1/1990, lup. 8

Zekkaliya 9:10

Footnotes

  • *

    Omugga Fulaati.

Marginal References

  • +Is 9:7
  • +Kuv 23:31; Zb 2:8; 72:8

Zekkaliya 9:11

Marginal References

  • +Is 49:9

Zekkaliya 9:12

Marginal References

  • +Is 61:1; Yer 31:17
  • +Is 61:7

Zekkaliya 9:13

Footnotes

  • *

    Obut., “Ndirinnya.”

Zekkaliya 9:14

Marginal References

  • +Yos 6:5

Zekkaliya 9:15

Marginal References

  • +Mi 5:9; Zek 10:5; 12:6
  • +Kuv 27:2; Lev 4:7

Zekkaliya 9:16

Marginal References

  • +Ezk 34:22
  • +Is 62:3; Zef 3:20

Zekkaliya 9:17

Marginal References

  • +Zb 25:8; 31:19; Is 63:7
  • +Is 62:8; Yow. 3:18; Am 9:13

General

Zek. 9:1Yer 49:27; Am 1:3
Zek. 9:1Beb 4:13; 1Pe 3:12
Zek. 9:2Yer 49:23
Zek. 9:2Is 23:1; Am 1:9, 10
Zek. 9:2Ezk 28:21; Yow. 3:4
Zek. 9:2Ezk 28:2, 3
Zek. 9:3Ezk 27:32, 33
Zek. 9:4Ezk 26:17; 27:26
Zek. 9:4Ezk 28:18
Zek. 9:5Zef 2:4
Zek. 9:6Am 1:8
Zek. 9:7Is 60:14
Zek. 9:72Sa 5:6, 7; 1Sk 9:20, 21
Zek. 9:8Zb 125:2
Zek. 9:8Is 54:14
Zek. 9:9Zb 2:6; Is 32:1; Yer 23:5; Luk 19:37, 38; Yok 1:49
Zek. 9:9Mat 11:29
Zek. 9:91Sk 1:33, 34; Mat 21:5, 7; Yok 12:14, 15
Zek. 9:10Is 9:7
Zek. 9:10Kuv 23:31; Zb 2:8; 72:8
Zek. 9:11Is 49:9
Zek. 9:12Is 61:1; Yer 31:17
Zek. 9:12Is 61:7
Zek. 9:14Yos 6:5
Zek. 9:15Mi 5:9; Zek 10:5; 12:6
Zek. 9:15Kuv 27:2; Lev 4:7
Zek. 9:16Ezk 34:22
Zek. 9:16Is 62:3; Zef 3:20
Zek. 9:17Zb 25:8; 31:19; Is 63:7
Zek. 9:17Is 62:8; Yow. 3:18; Am 9:13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Zekkaliya 9:1-17

Zekkaliya

9 Ekirangiriro:

“Ekigambo kya Yakuwa kiranga akabi akagenda okutuuka ku nsi ya Kadulaki,

Era kyolekezeddwa* Ddamasiko;+

—Kubanga Yakuwa atadde amaaso ge ku bantu+

Ne ku bika bya Isirayiri byonna—

 2 Era kiranga akabi akagenda okutuuka ne ku nsi ya Kamasi+ egiriraanye,

Ne ku Ttuulo+ ne ku Sidoni,+ kubanga za magezi.+

 3 Ttuulo yeezimbira ekigo.

N’ekuŋŋaanya ffeeza mungi ng’enfuufu,

Ne zzaabu mungi ng’ebitoomi by’omu nguudo.+

 4 Laba! Yakuwa aligiggyako ebyayo;

Alisaanyaawo eggye lyayo mu nnyanja.*+

Era eryokebwa omuliro.+

 5 Asukulooni kiriraba ne kitya,

Ne Gaaza kirirumwa nnyo;

Ekulooni nakyo kirirumwa nnyo kubanga gwe kyali kyesiga aliba aswaziddwa.

Gaaza kirifiirwa kabaka waakyo,

Ate Asukulooni tekiribaamu bantu.+

 6 Omwana omweboolereze alituula mu Asudodi,

Era ndimalawo amalala g’Omufirisuuti.+

 7 Ndiggya mu kamwa ke ebintu ebirimu omusaayi,

Era ndiggya mu mannyo ge ebintu ebyenyinyaza;

Abalisigalawo ku bantu be baliba ba Katonda waffe;

Aliba ng’omwami mu Yuda,+

Ne Ekulooni kiriba ng’Omuyebusi.+

 8 Ndisimba weema ebweru w’ennyumba yange okugikuuma,+

Waleme kubaawo ayingira wadde afuluma;

Tewaliba n’omu ku abo abakozesa abalala emirimu* aliddamu okuyita mu bo,+

Kubanga ndabye n’amaaso gange ekyabatuukako.*

 9 Sanyuka nnyo, ggwe muwala wa Sayuuni.

Kuba emizira, ggwe muwala wa Yerusaalemi.

Laba! Kabaka wo ajja gy’oli.+

Mutuukirivu era aleeta obulokozi;*

Mwetoowaze era yeebagadde endogoyi.+

Yeebagadde omwana gw’endogoyi,* yeebagadde akayana k’endogoyi enkazi.+

10 Ndiggya amagaali g’entalo mu Efulayimu,

N’embalaasi mu Yerusaalemi.

Emitego egikozesebwa mu lutalo giriggibwawo.

Alirangirira emirembe eri amawanga,+

Era alifuga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,

N’okuva ku Mugga* okutuuka ensi gy’ekoma.+

11 Era naawe ggwe omukazi, olw’omusaayi gw’endagaano gye nnakola naawe,

Ndiggya abasibe bo mu kinnya ekitaliimu mazzi.+

12 Muddeeyo mu kigo mmwe abasibe abalina essuubi.+

Era nkugamba leero nti,

‘Ndikuwa omukisa gwa mirundi ebiri,+ ggwe omukazi.

13 Ndiweta* Yuda ng’omutego gwange ogw’akasaale.

Efulayimu ndimukozesa ng’akasaale ku mutego,

Era ndigolokosa abaana bo, ggwe Sayuuni,

Okulwanyisa abaana ba Buyonaani,

Era ndikufuula ng’ekitala eky’omulwanyi.’

14 Yakuwa alikiraga nti ali nabo,

Era akasaale ke kalivaayo ng’ekimyanso.

Yakuwa Mukama Afuga Byonna alifuuwa eŋŋombe,+

Era aligenda n’embuyaga ez’ebukiikaddyo.

15 Yakuwa ow’eggye kennyini alibalwanirira;

Balirya era balirinnyirira envuumuulo.+

Balinywa ne baleekaana ng’abanywedde omwenge;

Balijjula ng’ebbakuli,

Era balijjula ng’ensonda z’ekyoto.+

16 Ku lunaku olwo Yakuwa Katonda waabwe alibalokola

Ng’ekisibo ky’abantu be;+

Baliba ng’amayinja g’engule agamasamasa ku ttaka lye.+

17 Obulungi bwe nga busuffu,+

Era ng’alabika bulungi nnyo!

Emmere erinyiriza abalenzi,

Era omwenge omusu gulinyiriza abawala embeerera.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share