Olubereberye
26 Ne wagwa enjala mu nsi, etali eri ey’olubereberye eyagwa mu kiseera kya Ibulayimu.+ Isaaka n’agenda eri Abimereki kabaka w’Abafirisuuti e Gerali. 2 Yakuwa n’amulabikira n’amugamba nti: “Togenda Misiri. Beera mu kitundu kyonna kye nnaakulaga mu nsi. 3 Beera mu nsi eno ng’omugwira,+ era nja kubeeranga naawe era nja kukuwa omukisa kubanga ensi zino zonna nja kuzikuwa ggwe n’ezzadde lyo,+ era ndituukiriza bye nnalayirira kitaawo Ibulayimu,+ 4 ‘Era ndyaza ezzadde lyo libe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu+ era ezzadde lyo ndiriwa ensi zino zonna;+ era amawanga gonna ag’oku nsi galyefunira omukisa okuyitira mu zzadde lyo,’+ 5 olw’okuba Ibulayimu yawuliriza eddoboozi lyange, n’atuukiriza bye nnalinga mmwetaaza, ebiragiro byange, n’amateeka gange.”+ 6 Bw’atyo Isaaka ne yeeyongera okubeera e Gerali.+
7 Abasajja b’omu kitundu ekyo bwe baamubuuzanga ebikwata ku mukazi we, ye ng’abagamba nti: “Oyo mwannyinaze.”+ Yali atya okwogera nti “Mukazi wange,” kubanga yagambanga nti, “Abasajja b’omu kitundu bayinza okunzita olwa Lebbeeka,” olw’okuba yali alabika bulungi nnyo.+ 8 Awo nga wayiseewo ekiseera, Abimereki kabaka w’Abafirisuuti bwe yali ng’atunula mu ddirisa, n’alengera Isaaka ng’alaga mukazi we Lebbeeka omukwano.*+ 9 Amangu ago Abimereki n’ayita Isaaka n’amugamba nti: “Ono mukazi wo! Kati olwo lwaki wagamba nti ‘Mwannyinaze’?” Awo Isaaka n’amuddamu nti: “Nnakyogera olw’okutya nti nnyinza okuttibwa ku lulwe.”+ 10 Naye Abimereki n’amugamba nti: “Kiki kino ky’otukoze?+ Omu ku bantu bange abadde ayinza okwebaka ne mukazi wo n’otuleetako omusango!”+ 11 Awo Abimereki n’alagira abantu bonna nti: “Omuntu yenna anaakwata ku musajja ono ne mukazi we taaleme kuttibwa!”
12 Awo Isaaka n’atandika okusiga ensigo mu nsi eyo, era mu mwaka ogwo bye yakungula byakubisaamu bye yasiga emirundi 100, kubanga Yakuwa yamuwa omukisa.+ 13 N’agaggawala, ebintu bye ne byeyongera obungi okutuusa lwe yagaggawala ennyo. 14 N’afuna ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’abaweereza bangi,+ Abafirisuuti ne batandika okumukwatirwa obuggya.
15 Awo enzizi zonna abaweereza ba kitaawe ze baali basimye mu kiseera kya Ibulayimu Abafirisuuti ne baziyiwamu ettaka ne baziziba.+ 16 Oluvannyuma, Abimereki n’agamba Isaaka nti: “Va mu kitundu kino kubanga ofuuse wa maanyi nnyo okutusinga.” 17 Bw’atyo Isaaka n’avaayo n’asiisira mu kiwonvu ky’e Gerali+ n’atandika okubeera eyo. 18 Isaaka n’addamu okusima enzizi zonna ezaali zisimiddwa mu kiseera kya Ibulayimu kitaawe, Abafirisuuti ze baali bazibye oluvannyuma lw’okufa kwa Ibulayimu;+ n’aziyita amannya kitaawe ge yazituuma.+
19 Abaweereza ba Isaaka bwe baali basima mu kiwonvu ne bazuula oluzzi olw’amazzi amayonjo 20 Abasumba b’e Gerali ne batandika okukaayana n’abasumba ba Isaaka nga bagamba nti: “Amazzi gaffe!” Oluzzi olwo kyeyava alutuuma Eseki,* kubanga baakaayana naye. 21 Ne batandika okusima oluzzi olulala, era nalwo ne balukaayanira, n’alutuuma Situna.* 22 Oluvannyuma n’avaayo eyo n’asima oluzzi olulala, naye luno tebaalukaayanira. Bw’atyo n’alutuuma Lekobosi,* ng’agamba nti: “Kubanga kaakano Yakuwa atuwadde ekifo ekimala era atwazizza mu nsi.”+
23 N’avaayo eyo n’ayambuka e Beeru-seba.+ 24 Yakuwa n’amulabikira ekiro ekyo, n’amugamba nti: “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo.+ Totya+ kubanga ndi naawe; nja kukuwa omukisa era nja kwaza ezzadde lyo olw’omuweereza wange Ibulayimu.”+ 25 Bw’atyo Isaaka n’azimba eyo ekyoto n’akoowoola erinnya lya Yakuwa,+ era n’asimba eyo weema ye;+ abaweereza be ne basimayo oluzzi.
26 Nga wayise ekiseera, Abimereki yajja gy’ali ng’ava e Gerali ng’ali wamu ne Akuzasi, omuwi we ow’amagezi, ne Pikoli omukulu w’eggye lye.+ 27 Isaaka n’abagamba nti: “Lwaki muzze gye ndi ng’ate mwankyawa ne mungoba mu kitundu kyammwe?” 28 Ne bamuddamu nti: “Mazima ddala tukirabye nti Yakuwa ali naawe.+ Kyetuvudde tugamba nti, ‘Ggwe naffe buli omu alayirire munne era tukole endagaano naawe,+ 29 nti tolitukolako kabi nga naffe bwe tutaakukolako kabi. Twakukolera birungi byokka ne tukuleka n’ogenda mirembe. Kaakano Yakuwa ggwe gw’awadde omukisa.’” 30 Awo n’abafumbira ekijjulo, ne balya era ne banywa. 31 Ne bazuukuka enkeera ku makya ennyo buli omu n’alayirira munne.+ Oluvannyuma Isaaka n’abasiibula ne bagenda mirembe.
32 Ku lunaku olwo abaweereza ba Isaaka bajja ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye,+ ne bamugamba nti: “Tuzudde amazzi!” 33 Bw’atyo n’alutuuma Siba. Eyo ye nsonga lwaki ekibuga kiyitibwa Beeru-seba+ n’okutuusa leero.
34 Esawu bwe yaweza emyaka 40 n’awasa Yudisi muwala wa Beeri Omukiiti ne Basemasi muwala wa Eroni Omukiiti.+ 35 Abakazi abo baaleetera Isaaka ne Lebbeeka ennaku ey’amaanyi.+