LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 38
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Keezeekiya alwala era awona (1-22)

        • Oluyimba olw’okwebaza (10-20)

Isaaya 38:1

Marginal References

  • +2By 32:24
  • +2Sk 19:20; Is 1:1
  • +2Sk 20:1-3

Isaaya 38:3

Marginal References

  • +Nek 13:22; Zb 20:1-3; Beb 6:10
  • +2By 31:20, 21

Isaaya 38:5

Footnotes

  • *

    Obut., “Ennaku zo.”

Marginal References

  • +2Sk 20:4-6
  • +Nge 15:29; 1Yo 5:14
  • +Zb 39:12; 56:8
  • +Ma 32:39; 1Sa 2:6

Isaaya 38:6

Marginal References

  • +2By 32:22

Isaaya 38:7

Marginal References

  • +2Sk 20:8-11

Isaaya 38:8

Footnotes

  • *

    Kirabika amadaala gano gaakozesebwanga okubala essaawa.

Marginal References

  • +Yos 10:12, 13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 4

Isaaya 38:10

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Isaaya 38:11

Footnotes

  • *

    “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.

Marginal References

  • +Zb 6:5; Mub 9:5

Isaaya 38:12

Marginal References

  • +Zb 146:4; Mub 8:8
  • +Yob 17:1

Isaaya 38:13

Marginal References

  • +Zb 39:10

Isaaya 38:14

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “ŋŋaali.”

Marginal References

  • +Zb 102:7
  • +Is 59:11
  • +Zb 39:7
  • +Zb 39:12; 119:82, 123

Isaaya 38:16

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, ebigambo bya Katonda n’ebikolwa bye.

Marginal References

  • +1Sa 2:6; Yob 33:28; Zb 71:20

Isaaya 38:17

Footnotes

  • *

    Oba, “ebibi byange byonna obiggye mu maaso go.”

Marginal References

  • +Zb 30:3; 86:13; Yon 2:6
  • +Is 43:25; Mi 7:18

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 264

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2003, lup. 27

Isaaya 38:18

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Zb 30:9
  • +Zb 6:5; 115:17
  • +Mub 9:5, 10

Isaaya 38:19

Marginal References

  • +Lub 18:19; Ma 4:9; Yos 4:21-24

Isaaya 38:20

Marginal References

  • +Zb 30:11, 12
  • +2Sk 20:5; Zb 84:2

Isaaya 38:21

Marginal References

  • +2Sk 20:7

Isaaya 38:22

Marginal References

  • +2Sk 20:8

General

Is. 38:12By 32:24
Is. 38:12Sk 19:20; Is 1:1
Is. 38:12Sk 20:1-3
Is. 38:3Nek 13:22; Zb 20:1-3; Beb 6:10
Is. 38:32By 31:20, 21
Is. 38:52Sk 20:4-6
Is. 38:5Nge 15:29; 1Yo 5:14
Is. 38:5Zb 39:12; 56:8
Is. 38:5Ma 32:39; 1Sa 2:6
Is. 38:62By 32:22
Is. 38:72Sk 20:8-11
Is. 38:8Yos 10:12, 13
Is. 38:11Zb 6:5; Mub 9:5
Is. 38:12Zb 146:4; Mub 8:8
Is. 38:12Yob 17:1
Is. 38:13Zb 39:10
Is. 38:14Zb 102:7
Is. 38:14Is 59:11
Is. 38:14Zb 39:7
Is. 38:14Zb 39:12; 119:82, 123
Is. 38:161Sa 2:6; Yob 33:28; Zb 71:20
Is. 38:17Zb 30:3; 86:13; Yon 2:6
Is. 38:17Is 43:25; Mi 7:18
Is. 38:18Zb 30:9
Is. 38:18Zb 6:5; 115:17
Is. 38:18Mub 9:5, 10
Is. 38:19Lub 18:19; Ma 4:9; Yos 4:21-24
Is. 38:20Zb 30:11, 12
Is. 38:202Sk 20:5; Zb 84:2
Is. 38:212Sk 20:7
Is. 38:222Sk 20:8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 38:1-22

Isaaya

38 Mu kiseera ekyo, Keezeekiya yalwala nnyo n’abulako katono okufa.+ Nnabbi Isaaya+ mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Wa ab’omu nnyumba yo ebiragiro, kubanga ogenda kufa; tojja kuwona.’”+ 2 Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunula ku kisenge n’asaba Yakuwa ng’agamba nti: 3 “Ai Yakuwa, nkwegayiridde, jjukira+ bwe ntambulidde mu maaso go n’obwesigwa era n’omutima gwange gwonna,+ era nkoze ebirungi mu maaso go.” Awo Keezeekiya n’akaaba nnyo.

4 Yakuwa n’agamba Isaaya nti: 5 “Ddayo ogambe Keezeekiya nti,+ ‘Bw’ati Yakuwa, Katonda wa Dawudi jjajjaawo bw’agamba: “Mpulidde essaala yo+ era ndabye amaziga go.+ Obulamu bwo* nja kubwongerako emyaka emirala 15,+ 6 era nja kukununula ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli, era nja kulwanirira ekibuga kino.+ 7 Kano ke kabonero okuva eri Yakuwa okukulaga nti Yakuwa ajja kukola ekyo ky’agambye:+ 8 Ekisiikirize ekiri ku madaala* ga Akazi nja kukizza emabega amadaala kkumi.”’”+ Awo ekisiikirize ekyali kisse ku madaala ne kiddayo emabega amadaala kkumi.

9 Bino bye bigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yawandiika bwe yalwala, oluvannyuma n’awona.

10 Nnagamba nti: “Mu makkati g’obulamu bwange

Nja kuyingira mu miryango gy’emagombe.*

Nja kuggibwako emyaka gyange egisigaddeyo.”

11 Nnagamba nti: “Siriraba Ya,* siriraba Ya mu nsi y’abalamu.+

Siriddayo kulaba bantu

Nga ndi wamu n’abo ababeera mu kifo ekitaliimu bulamu.

12 Ekifo mwe mbeera kiringa weema y’omusumba

Esimbuliddwayo n’etwalibwa.+

Obulamu bwange mbuzinzeeko ng’omulusi w’engoye bw’azingako olugoye lw’amalirizza okuluka;

Ansalako ng’ewuzi eziri ku muti kwe balukira engoye.

Ommalirawo ddala+ okuva ku makya okutuusa obudde lwe buziba.

13 Mbeera mukkakkamu okutuusa ku makya.

Amenyaamenya amagumba gange gonna ng’empologoma;

Ommalirawo ddala+ okuva ku makya okutuusa obudde lwe buziba.

14 Nkaaba+ ng’akataayi oba nga ssossolye;*

Nkaaba ng’ejjiba.+

Amaaso gange gakooye olw’okutunula waggulu:+

‘Ai Yakuwa, ndi munakuwavu nnyo;

Nnyamba!’+

15 Njogere ki?

Yayogera nange era n’abaako ky’akolawo.

Nja kutambula nga nneewombeese emyaka gyange gyonna

Olw’ennaku ennyingi gye nnina.

16 ‘Ai Yakuwa, olw’ebintu ebyo* buli muntu abeera mulamu,

Era mu byo mwe muli obulamu bw’omwoyo gwange.

Ojja kumponya era onkuume nga ndi mulamu.+

17 Laba! Mu kifo ky’okuba n’emirembe nnalina obulumi obw’amaanyi;

Naye olw’okwagala kw’olina gye ndi,

Wamponya ekinnya eky’okuzikirira.+

Ebibi byange byonna obisudde emabega wo.*+

18 Amagombe* tegasobola kukugulumiza,+

Okufa tekusobola kukutendereza.+

Abo abakka mu kinnya tebasobola kuba na ssuubi mu bwesigwa bwo.+

19 Abalamu, abalamu be basobola okukutendereza

Nga bwe nkutendereza leero.

Taata asobola okubuulira abaana be ebikwata ku bwesigwa bwo.+

20 Ai Yakuwa, ndokola,

Era tujja kuyimba ennyimba zange nga tukuba ebivuga eby’enkoba+

Ennaku zonna ze tunaamala nga tuli balamu mu nnyumba ya Yakuwa.’”+

21 Awo Isaaya n’agamba nti: “Muleete ekitole ky’ettiini ekkalu mukiteeke ku jjute asobole okuwona.”+ 22 Keezeekiya yali abuuzizza nti: “Kabonero ki akalaga nti nja kugenda ku nnyumba ya Yakuwa?”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share