Yobu
33 “Kaakano Yobu, wulira ebigambo byange;
Wuliriza byonna bye ŋŋamba.
2 Laba! Nteekwa okwasamya akamwa kange;
Olulimi lwange luteekwa okwogera.
3 Ebigambo byange birangirira obugolokofu bw’omutima gwange,+
N’emimwa gyange gyogera mu bwesimbu bye mmanyi.
5 Nziraamu bw’oba ng’osobola;
Yanja ensonga zo mu maaso gange; weeteeketeeke okuwoza.
6 Laba! Nze nninga ggwe mu maaso ga Katonda;
Nange nnabumbibwa mu ttaka.+
7 N’olwekyo tontya,
Ebigambo byange tebijja kukuzitoowerera.
8 Mazima oyogedde nga mpulira,
Mpulidde ng’ogamba nti,
9 ‘Ndi mulongoofu, tewali kibi kye nnakola;+
Ndi mulongoofu, sirina nsobi gye nnakola.+
10 Naye Katonda afuna ensonga kw’asinziira okunziyiza;
Antwala ng’omulabe we.+
11 Ateeka ebigere byange mu nvuba;
Yekkaanya amakubo gange gonna.’+
12 Naye toli mutuufu kwogera bw’otyo, n’olwekyo ka nkuddemu:
Katonda asukkulumye ku bantu.+
13 Lwaki omwemulugunyaako?+
Olw’okuba tazzeemu bigambo byo byonna?+
14 Katonda ayogera enfunda n’enfunda,
Naye tewali assaayo omwoyo,
15 Mu kirooto, mu kwolesebwa okw’ekiro,+
Ng’abantu bali mu tulo otungi,
Nga beebase ku bitanda byabwe.
16 Aggula amatu gaabwe,+
N’awandiika by’abayigiriza mu mitima gyabwe,
17 Asobole okuggya omuntu ku bikolwa ebibi+
Era amuziyize okuba n’amalala.+
19 Era obulumi omuntu bw’aba nabwo ng’ali ku kitanda kye,
N’okulumwa amagumba buli kiseera, bimukangavvula,
20 Ne yeetamwa* emmere,
N’agaana n’okulya emmere ewooma.+
21 Omubiri gumuggwaako,
Amagumba agataalabikanga ne gakukunala.
22 Asemberera ekinnya,*
Obulamu bwe busemberera abo abaagala okumutta.
23 Naye bw’afuna omubaka,*
Amuwolereza omu mu lukumi,
Okutegeeza omuntu ekituufu,
24 Katonda amukwatirwa ekisa n’agamba nti,
Nzudde ekinunulo!+
25 Omubiri gwe ka gudde buggya okusinga bwe gwali ng’akyali muvubuka;+
Era k’abe n’amaanyi nga bwe yali mu buvubuka.’+
26 Ajja kwegayirira Katonda+ amusaasire,
Ajja kujaganya ng’alabye amaaso ga Katonda,
Era Katonda obutuukirivu bwe ajja kuddamu abuwe omuntu.
27 Omuntu oyo aligamba abantu nti,
‘Nnayonoona+ ne nkola ekitali kituufu,
Naye saafuna ekyo ekyali kiŋŋwanira.*
29 Mu butuufu ebintu ebyo byonna Katonda abikolera omuntu
Enfunda n’enfunda,
30 Okumuggya mu kinnya,*
Ayakirwe ekitangaala eky’obulamu.+
31 Ssaayo omwoyo Yobu! Mpuliriza!
Sirika nneeyongere okwogera.
32 Bw’oba olina ky’ogamba, kiŋŋambe.
Yogera kubanga njagala kukakasa obanga oli mutuufu.
33 Bw’oba tolina kya kwogera, mpuliriza;
Sirika nkuyigirize ebintu eby’amagezi.”