Makko
1 Wano amawulire amalungi agakwata ku Yesu Kristo, Omwana wa Katonda we gatandikira: 2 Nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya nnabbi Isaaya nti: “(Laba! Ntuma omubaka wange akukulemberemu;* oyo ajja kukuteekerateekera ekkubo.)+ 3 Eddoboozi ery’omwanguka ery’oyo ayogerera mu ddungu nti: ‘Muteeketeeke ekkubo lya Yakuwa!* Mutereeze amakubo ge.’”+ 4 Yokaana Omubatiza yali mu ddungu ng’abuulira abantu babatizibwe ng’akabonero akalaga nti beenenyezza okusobola okusonyiyibwa ebibi.+ 5 Era ab’omu bitundu byonna ebya Buyudaaya n’ab’omu Yerusaalemi bonna baagenda gy’ali n’ababatiza* mu Mugga Yoludaani, era ne baatula ebibi byabwe mu lujjudde.+ 6 Yokaana yayambalanga ebyambalo ebyakolebwa mu byoya by’eŋŋamira, era nga yeesiba olukoba olw’eddiba mu kiwato;+ yalyanga nzige na mubisi gwa njuki.+ 7 Era yabuuliranga ng’agamba nti: “Waliwo ansinga obuyinza anvaako emabega, era sisaanira na kukutama kusumulula buguwa bwa ngatto ze.+ 8 Nze nnababatiza na mazzi naye ye ajja kubabatiza na mwoyo mutukuvu.”+
9 Mu nnaku ezo, Yesu yajja okuva e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, Yokaana n’amubatiza mu Yoludaani.+ 10 Amangu ddala nga yaakava mu mazzi, yalaba eggulu nga libikkuka, era n’omwoyo nga gumukkako nga gulinga ejjiba.+ 11 Era eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti: “Ggwe Mwana wange omwagalwa; nkusanyukira.”*+
12 Amangu ago omwoyo ne gumuwaliriza okugenda mu ddungu. 13 Bw’atyo n’abeera mu ddungu okumala ennaku 40 ng’akemebwa Sitaani.+ Yali wamu n’ensolo ez’omu nsiko, naye bamalayika baali bamuweereza.+
14 Yokaana bwe yamala okusibibwa, Yesu n’agenda e Ggaliraaya+ ng’abuulira amawulire amalungi agakwata ku Katonda+ 15 ng’agamba nti: “Ekiseera ekigereke kituuse, era Obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mwenenye+ era mukkirize amawulire amalungi.”
16 Awo bwe yali atambula ku lubalama lw’Ennyanja ey’e Ggaliraaya, n’alaba Simooni ne muganda we Andereya+ nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja,+ kubanga baali bavubi.+ 17 Awo Yesu n’abagamba nti: “Mungoberere, nja kubafuula abavubi b’abantu.”+ 18 Amangu ago ne baleka awo obutimba bwabwe ne bamugoberera.+ 19 Bwe yeeyongerako mu maaso, n’alaba Yakobo mutabani wa Zebedaayo ne muganda we Yokaana nga bali mu lyato lyabwe baddaabiriza obutimba bwabwe,+ 20 amangu ago n’abayita. Awo ne baleka kitaabwe Zebedaayo mu lyato n’abapakasi, ne bamugoberera; 21 ne bagenda naye e Kaperunawumu.
Nga Ssabbiiti yaakatandika, yagenda mu kkuŋŋaaniro n’atandika okuyigiriza.+ 22 Ne bawuniikirira olw’engeri gye yali ayigirizaamu, kubanga yali abayigiriza ng’oyo alina obuyinza so si ng’abawandiisi.+ 23 Era mu kiseera ekyo kyennyini waaliwo omusajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe eyaliko omwoyo omubi, eyaleekaana ng’agamba nti: 24 “Otulanga ki ggwe Yesu Omunnazaaleesi?+ Wajja kutuzikiriza? Nkumanyi; ggwe Mutukuvu wa Katonda.”+ 25 Naye Yesu n’aguboggolera ng’agamba nti: “Sirika, era muveeko!” 26 Awo omwoyo omubi bwe gwamala okumujugumiza, ne guleekaanira waggulu, ne gumuvaako. 27 Abantu bonna ne beewuunya nnyo era ne batandika okwebuuzaganya nti: “Kiki kino? Njigiriza mpya! Alina n’obuyinza okulagira emyoyo emibi ne gimugondera.” 28 Amawulire agamukwatako ne gabuna mangu nnyo wonna mu bitundu by’e Ggaliraaya.
29 Awo ne bava mu kkuŋŋaaniro, ne bagenda mu nju ya Simooni ne Andereya nga bali wamu ne Yakobo ne Yokaana.+ 30 Maama wa muka Simooni+ yali agalamidde ng’omusujja gumuluma, era amangu ddala ne babuulira Yesu. 31 Yesu n’agenda gy’ali n’amukwata ku mukono n’amuyimusa. Omusujja ne guwona n’atandika okubaweereza.
32 Awo akawungeezi ng’enjuba emaze okugwa, abantu ne batandika okumuleetera abalwadde bonna n’abo abaaliko dayimooni;+ 33 abantu b’omu kibuga ekyo bonna ne bakuŋŋaanira ku mulyango. 34 N’awonya bangi abaalina endwadde ezitali zimu+ era n’agoba dayimooni nnyingi, naye nga tazikkiriza kwogera kubanga zaali zimanyi nti ye Kristo.*
35 Awo ku makya ennyo ng’obudde bukyakutte, n’azuukuka, n’afuluma ebweru n’agenda mu kifo etali bantu n’atandika okusaba.+ 36 Kyokka, Simooni n’abo abaali naye ne bamunoonya 37 era ne bamuzuula, ne bamugamba nti: “Abantu bonna bakunoonya.” 38 Naye ye n’abagamba nti: “Tugende awalala mu bubuga obuliraanye wano, nayo nsobole okubuulirayo, kubanga kino kye kyandeeta.”+ 39 N’agenda ng’abuulira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Ggaliraaya yonna era ng’agoba dayimooni.+
40 Awo omugenge n’ajja gy’ali n’afukamira n’amwegayirira nti: “Bw’oba oyagala, osobola okunfuula omulongoofu.”+ 41 N’amusaasira, n’agolola omukono gwe, n’amukwatako, n’amugamba nti: “Njagala! Fuuka mulongoofu.”+ 42 Amangu ago ebigenge ne bimuvaako n’afuuka mulongoofu. 43 Awo n’amuwa ebiragiro, era amangu ago n’amusiibula, 44 ng’amugamba nti: “Tobuulirako muntu yenna, naye genda weeyanjule eri kabona era olw’okulongoosebwa kwo, oweeyo ebintu Musa bye yalagira,+ balyoke bakakase nti owonye.”+ 45 Naye omusajja bwe yagenda, n’atandika okulangirira ebyali bibaddewo n’okubibunyisa wonna, Yesu n’aba nga takyasobola kuyingira kyere mu kibuga, era n’asigala mu bifo etaali bantu. Kyokka abantu ne beeyongera okujja gy’ali okuva ku njuyi zonna.+