2 Samwiri
10 Nga wayiseewo ekiseera, kabaka w’Abaamoni+ yafa, Kanuni mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+ 2 Awo Dawudi n’agamba nti: “Nja kulaga Kanuni mutabani wa Nakasi okwagala okutajjulukuka, nga kitaawe bwe yandaga okwagala okutajjulukuka.” Awo Dawudi n’atuma ababaka okumukubagiza olw’okufiirwa kitaawe. Naye abaweereza ba Dawudi bwe baatuuka mu nsi y’Abaamoni, 3 abaami b’Abaamoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti: “Olowooza Dawudi okutuma abantu okukukubagiza akikoze lwa kussaamu kitaawo kitiibwa? Tasindise baweereza be kwekenneenya kibuga, n’okukiketta bakiwambe?” 4 Kanuni n’akwata abaweereza ba Dawudi n’abamwako ebirevu ku ludda olumu,+ ebyambalo byabwe n’abisala ne biba nga bikoma ku butuuliro, n’abaleka ne bagenda. 5 Dawudi bwe yategeezebwa, amangu ago n’atuma ababaka okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali baweebuddwa nnyo; kabaka n’abagamba nti: “Mubeere mu Yeriko+ okutuusa ng’ebirevu byammwe bimaze okukula, mulyoke mukomewo.”
6 Awo Abaamoni ne bakitegeera nti Dawudi yali abakyaye; ne batuma ababaka okupangisa Abasuuli ab’e Besu-lekobu+ n’ab’e Zoba,+ abasirikale 20,000 abatambuza ebigere; ne kabaka wa Maaka+ n’abasajja 1,000; era n’okuva e Isutobu,* abasajja 12,000.+ 7 Dawudi bwe yakiwulira, n’asindika Yowaabu n’eggye lyonna n’abalwanyi be abaali basinga okuba ab’amaanyi.+ 8 Abaamoni ne bagenda ne basimba ennyiriri okulwana ku mulyango oguyingira mu kibuga, ng’Abasuuli ab’e Zoba n’ab’e Lekobu ne Isutobu* ne Maaka bali bokka mu kyererezi.
9 Yowaabu bwe yalaba ng’abasirikale bamulumba okuva mu maaso n’emabega, n’alonda abamu ku balwanyi ba Isirayiri abaali basinga obulungi n’abasimbisa ennyiriri okwaŋŋanga Abasuuli.+ 10 Abasajja abalala bonna yabakwasa Abisaayi+ muganda we abasimbise ennyiriri okwaŋŋanga Abaamoni.+ 11 N’agamba nti: “Abasuuli bwe banansinza amaanyi, ojja kujja onnyambe; naye Abaamoni bwe banaakusinza amaanyi nja kujja nkuyambe. 12 Tube ba maanyi era tube bavumu+ tulwanirire abantu baffe n’ebibuga bya Katonda waffe; Yakuwa ajja kukola ky’anaalaba nga kirungi mu maaso ge.”+
13 Awo Yowaabu n’abasajja be ne basembera okulwana n’Abasuuli, Abasuuli ne bamudduka.+ 14 Abaamoni bwe baalaba ng’Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi ne bagenda mu kibuga. Awo Yowaabu n’addayo e Yerusaalemi ng’amaze okulwanyisa Abaamoni.
15 Abasuuli bwe baalaba nga Isirayiri ebawangudde, ne baddamu okwekuŋŋaanya.+ 16 Kadadezeri+ n’atumya Abasuuli abaali mu kitundu ekiri okumpi n’Omugga,*+ ne bajja e Keramu nga Sobaki omukulu w’eggye lya Kadadezeri y’abakulembeddemu.
17 Dawudi bwe baamubuulira, amangu ago n’akuŋŋaanya Isirayiri yonna ne basomoka Yoludaani ne bagenda e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwaŋŋanga Dawudi era ne balwana naye.+ 18 Abasuuli bwe baalaba ng’Abayisirayiri babasinga amaanyi ne badduka; Dawudi n’atta Abasuuli abavuzi b’amagaali 700 n’abeebagala embalaasi 40,000 era n’atta ne Sobaki omukulu w’eggye lyabwe.+ 19 Bakabaka bonna, abaweereza ba Kadadezeri bwe baalaba nga Isirayiri ebawangudde, amangu ago ne bakola endagaano ey’emirembe n’Abayisirayiri, Abayisirayiri ne batandika okubafuga;+ Abasuuli ne batya okuddamu okuyamba Abaamoni.