Yokaana
20 Ku lunaku olusooka mu wiiki, Maliyamu Magudaleena yagenda ku ntaana ku makya ennyo+ ng’obudde tebunnasaasaana, n’alaba ng’ejjinja liggiddwa ku ntaana.*+ 2 Awo n’adduka n’agenda eri Simooni Peetero n’eri omuyigirizwa Yesu gwe yali ayagala ennyo,+ n’abagamba nti: “Mukama waffe bamuggye mu ntaana+ era tetumanyi gye bamutadde.”
3 Awo Peetero n’omuyigirizwa oli omulala ne boolekera entaana. 4 Bombi ne batandika okudduka, naye omuyigirizwa oli omulala n’adduka nnyo okusinga Peetero n’amusooka ku ntaana. 5 Bwe yakutama n’alingizaamu, yalaba engoye eza kitaani nga ziri awo wansi,+ naye teyayingira. 6 Awo Simooni Peetero naye n’ajja ng’amugoberera, era n’ayingira mu ntaana, n’alaba engoye eza kitaani nga ziri awo wansi. 7 Olugoye olwali lusibiddwa ku mutwe gwe terwali wamu na ngoye ziri endala, wabula lwali luzingiddwa nga luli lwokka. 8 Awo omuyigirizwa oli omulala eyasooka okutuuka ku ntaana naye n’ayingira, n’alaba era n’akkiriza. 9 Kubanga baali tebannategeera kyawandiikibwa ekigamba nti ateekwa okuzuukira mu bafu.+ 10 Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe.
11 Kyokka, Maliyamu yasigala ayimiridde wabweru okumpi n’entaana ng’akaaba. Bwe yali akyakaaba n’alingiza mu ntaana 12 n’alaba bamalayika babiri+ nga bambadde engoye enjeru, omu ng’ali mitwetwe w’ekifo awaali wabadde omulambo gwa Yesu, ate ng’omulala ali mirannamiro. 13 Ne bamubuuza nti: “Okaabira ki?” N’abaddamu nti: “Batutte Mukama wange era simanyi gye bamutadde.” 14 Oluvannyuma lw’okwogera ebyo, n’akyuka n’alaba Yesu ng’ayimiridde awo, naye n’atategeera nti ye Yesu.+ 15 Yesu n’amubuuza nti: “Okaabira ki? Onoonya ani?” Maliyamu yalowooza nti oyo ye yali alabirira ennimiro, era n’amugamba nti: “Ssebo, bw’oba nga gwe omuggyeemu, mbuulira gy’omutadde ŋŋende mmuggyeyo.” 16 Yesu n’amugamba nti: “Maliyamu!” Maliyamu n’akyuka, n’amugamba mu Lwebbulaniya nti “Labooni!” (ekitegeeza nti “Omuyigiriza!”) 17 Yesu n’amugamba nti: “Lekera awo okunneekwatako, kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange+ obagambe nti, ‘Ŋŋenda eri Kitange+ era Kitammwe, eri Katonda wange+ era Katonda wammwe.’” 18 Maliyamu Magudaleena n’agenda n’abuulira abayigirizwa nti: “Ndabye Mukama waffe!” era n’ababuulira bye yali amugambye.+
19 Akawungeezi ku lunaku olusooka mu wiiki, abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu nnyumba, era enzigi zaali nsibe olw’okuba baali batya Abayudaaya. Awo Yesu n’ajja n’ayimirira wakati waabwe n’abagamba nti: “Emirembe gibe nammwe.”+ 20 Oluvannyuma lw’okwogera bw’atyo, yabalaga ebibatu bye n’embiriizi ze.+ Awo abayigirizwa ne basanyuka olw’okulaba Mukama waabwe.+ 21 Yesu n’addamu n’abagamba nti: “Emirembe gibe nammwe.+ Nga Kitange bwe yantuma+ nange mbatuma.”+ 22 Bwe yamala okwogera ebyo n’abafuuwako omukka era n’abagamba nti: “Mufune omwoyo omutukuvu.+ 23 Bwe munaasonyiwanga ebibi by’omuntu yenna, binaabanga bimusonyiyiddwa; naye bwe mutaabimusonyiwenga, binaabanga tebimusonyiyiddwa.”
24 Naye Tomasi,+ omu ku Kkumi n’Ababiri, eyali ayitibwa Omulongo, teyali nabo ku olwo Yesu lwe yajja. 25 Awo abayigirizwa abalala ne bamugamba nti: “Tulabye Mukama waffe!” Naye n’abagamba nti: “Okuggyako nga ndabye enkovu z’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olugalo lwange ku nkovu ezo, era ne nkwata mu mbiriizi ze,+ siyinza kukkiriza n’akatono.”
26 Bwe waali wayiseewo ennaku munaana, abayigirizwa be era baali mu nnyumba, nga ne Tomasi ali wamu nabo. Wadde ng’enzigi zaali nzigale, Yesu yajja n’ayimirira wakati waabwe n’agamba nti: “Emirembe gibe nammwe.”+ 27 Awo n’agamba Tomasi nti: “Teeka olugalo lwo wano, era laba ebibatu byange. Era kwata mu mbiriizi zange olekere awo okubuusabuusa,* naye okkirize.” 28 Tomasi n’amuddamu nti: “Mukama wange era Katonda wange!” 29 Yesu n’amugamba nti: “Olw’okuba ondabye kyova okkiriza? Balina essanyu abo abakkiriza nga tebalabyeko.”
30 Mu butuufu, Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitawandiikiddwa mu muzingo guno.+ 31 Naye bino biwandiikiddwa musobole okukkiriza nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda, era olw’okukkiriza musobole okufuna obulamu mu linnya lye.+