Matayo
1 Ekitabo ky’ebyafaayo* bya Yesu Kristo,* muzzukulu wa Dawudi,+ muzzukulu wa Ibulayimu:+
Isaaka n’azaala Yakobo;+
Yakobo n’azaala Yuda+ ne baganda be;
3 Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera+ mu Tamali;
Pereezi n’azaala Kezulooni;+
Kezulooni n’azaala Laamu;+
4 Laamu n’azaala Amminadaabu;
Amminadaabu n’azaala Nakusoni;+
Nakusoni n’azaala Salumooni;
5 Salumooni n’azaala Bowaazi mu Lakabu;+
Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi;+
Obedi n’azaala Yese;+
Dawudi n’azaala Sulemaani+ mu muka Uliya;
7 Sulemaani n’azaala Lekobowaamu;+
Lekobowaamu n’azaala Abiya;
Abiya n’azaala Asa;+
Yekosafaati n’azaala Yekolaamu;+
Yekolaamu n’azaala Uzziya;
Yosamu n’azaala Akazi;+
Akazi n’azaala Keezeekiya;+
10 Keezeekiya n’azaala Manase;+
Manase n’azaala Amoni;+
Amoni n’azaala Yosiya;+
11 Yosiya+ n’azaala Yekoniya+ ne baganda be mu kiseera Abayudaaya we baawaŋŋangusibwa e Babulooni.+
12 Oluvannyuma lw’okuwaŋŋangusibwa e Babulooni Yekoniya yazaala Seyalutyeri;
Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi;+
13 Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi;
Abiwuudi n’azaala Eriyakimu;
Eriyakimu n’azaala Azoli;
14 Azoli n’azaala Zadooki;
Zadooki n’azaala Akimu;
Akimu n’azaala Eriwuudi;
15 Eriwuudi n’azaala Eriyazaali;
Eriyazaali n’azaala Mataani;
Mataani n’azaala Yakobo;
16 Yakobo n’azaala Yusufu bba wa Maliyamu, maama wa Yesu+ ayitibwa Kristo.+
17 Emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali 14; okuva ku Dawudi okutuuka Abayudaaya lwe baawaŋŋangusibwa e Babulooni gyali emirembe 14; ate okuva lwe baawaŋŋangusibwa okutuuka ku Kristo gyali emirembe 14.
18 Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti. Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, n’alabika ng’ali lubuto ku bw’omwoyo omutukuvu+ wadde nga baali tebannafumbiriganwa. 19 Kyokka, olw’okuba omwami we Yusufu yali musajja mutuukirivu era nga tayagala kumuswaza, yasalawo okumuleka, naye mu kyama.+ 20 Kyokka ng’amaze okulowooza ku bintu ebyo, malayika wa Yakuwa* yamulabikira mu kirooto, n’amugamba nti: “Yusufu, mutabani wa Dawudi, totya kutwala mukazi wo Maliyamu mu maka go, kubanga ali lubuto ku bw’omwoyo omutukuvu.+ 21 Ajja kuzaala omwana ow’obulenzi era ojja kumutuuma erinnya Yesu,*+ kubanga alirokola abantu be okuva mu bibi byabwe.”+ 22 Ebyo byonna byabaawo okutuukiriza ekyo Yakuwa* kye yayogera okuyitira mu nnabbi we nti: 23 “Laba! Omuwala embeerera aliba olubuto; alizaala omwana ow’obulenzi era balimutuuma erinnya Emmanweri,”+ nga bwe liba livvuunuddwa litegeeza nti, “Katonda Ali Naffe.”+
24 Awo Yusufu n’azuukuka, n’atwala mukazi we eka nga malayika wa Yakuwa* bwe yamulagira. 25 Naye teyeegatta naye okutuusa lwe yamala okuzaala omwana ow’obulenzi;+ yamutuuma erinnya Yesu.+