LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Abebbulaniya 7
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Merukizeddeeki, kabaka era kabona ow’enjawulo (1-10)

      • Obwakabona bwa Kristo bwa kika kya waggulu (11-28)

        • Kristo alokolera ddala (25)

Abebbulaniya 7:1

Marginal References

  • +Lub 14:17-20

Abebbulaniya 7:3

Marginal References

  • +Zb 110:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/1995, lup. 12

    2/1/1990, lup. 9-10

Abebbulaniya 7:4

Marginal References

  • +Lub 14:20

Abebbulaniya 7:5

Marginal References

  • +Kuv 40:12, 15
  • +Kbl 18:21, 26; Ma 14:28

Abebbulaniya 7:6

Marginal References

  • +Lub 12:7; 14:18-20; 17:6; 22:17

Abebbulaniya 7:8

Marginal References

  • +Beb 7:3

Abebbulaniya 7:10

Marginal References

  • +Lub 14:18

Abebbulaniya 7:11

Marginal References

  • +Bar 3:20; Beb 7:19; 9:9; 10:1
  • +Zb 110:4

Abebbulaniya 7:12

Marginal References

  • +Bar 3:27; 1Ko 9:21; Bag 6:2; Bak 2:13, 14

Abebbulaniya 7:13

Marginal References

  • +Kbl 18:6, 7

Abebbulaniya 7:14

Marginal References

  • +Lub 49:10; Mat 1:1, 3; Luk 3:23, 33

Abebbulaniya 7:15

Marginal References

  • +Beb 3:1; 7:26
  • +Zb 110:4

Abebbulaniya 7:16

Marginal References

  • +Bar 6:9; 1Ti 6:16

Abebbulaniya 7:17

Marginal References

  • +Zb 110:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1990, lup. 9-10

Abebbulaniya 7:18

Marginal References

  • +Bar 8:3; Beb 9:9; 13:9

Abebbulaniya 7:19

Marginal References

  • +Bik 13:38, 39; Bag 2:15, 16; Beb 10:1
  • +1Pe 1:3, 4
  • +Yok 14:6; Beb 4:16

Abebbulaniya 7:21

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

  • *

    Oba, “talyejjusa.”

Marginal References

  • +Zb 110:4

Abebbulaniya 7:22

Footnotes

  • *

    Oba, “oyo aweereddwayo ng’omusingo.”

Marginal References

  • +Yer 31:31; Mat 26:27, 28; 1Ko 11:25; Beb 8:6; 9:15; 12:22, 24

Abebbulaniya 7:23

Marginal References

  • +1By 6:4

Abebbulaniya 7:24

Marginal References

  • +Luk 1:33; Beb 7:15, 16

Abebbulaniya 7:25

Marginal References

  • +Bar 8:34; 1Ti 2:5; Beb 9:24; 1Yo 2:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/1990, lup. 9-10

Abebbulaniya 7:26

Marginal References

  • +Is 53:9; 1Pe 2:21, 22
  • +Bef 1:20, 21; 1Pe 3:22

Abebbulaniya 7:27

Marginal References

  • +Kbl 28:3
  • +Lev 9:8, 15
  • +Bar 6:10; Beb 9:28; 10:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2008, lup. 14-15

Abebbulaniya 7:28

Marginal References

  • +Lev 16:11
  • +Zb 2:7; 110:4
  • +Beb 2:10; 5:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2008, lup. 14

General

Beb. 7:1Lub 14:17-20
Beb. 7:3Zb 110:4
Beb. 7:4Lub 14:20
Beb. 7:5Kuv 40:12, 15
Beb. 7:5Kbl 18:21, 26; Ma 14:28
Beb. 7:6Lub 12:7; 14:18-20; 17:6; 22:17
Beb. 7:8Beb 7:3
Beb. 7:10Lub 14:18
Beb. 7:11Bar 3:20; Beb 7:19; 9:9; 10:1
Beb. 7:11Zb 110:4
Beb. 7:12Bar 3:27; 1Ko 9:21; Bag 6:2; Bak 2:13, 14
Beb. 7:13Kbl 18:6, 7
Beb. 7:14Lub 49:10; Mat 1:1, 3; Luk 3:23, 33
Beb. 7:15Beb 3:1; 7:26
Beb. 7:15Zb 110:4
Beb. 7:16Bar 6:9; 1Ti 6:16
Beb. 7:17Zb 110:4
Beb. 7:18Bar 8:3; Beb 9:9; 13:9
Beb. 7:19Bik 13:38, 39; Bag 2:15, 16; Beb 10:1
Beb. 7:191Pe 1:3, 4
Beb. 7:19Yok 14:6; Beb 4:16
Beb. 7:21Zb 110:4
Beb. 7:22Yer 31:31; Mat 26:27, 28; 1Ko 11:25; Beb 8:6; 9:15; 12:22, 24
Beb. 7:231By 6:4
Beb. 7:24Luk 1:33; Beb 7:15, 16
Beb. 7:25Bar 8:34; 1Ti 2:5; Beb 9:24; 1Yo 2:1
Beb. 7:26Is 53:9; 1Pe 2:21, 22
Beb. 7:26Bef 1:20, 21; 1Pe 3:22
Beb. 7:27Kbl 28:3
Beb. 7:27Lev 9:8, 15
Beb. 7:27Bar 6:10; Beb 9:28; 10:14
Beb. 7:28Lev 16:11
Beb. 7:28Zb 2:7; 110:4
Beb. 7:28Beb 2:10; 5:9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Abebbulaniya 7:1-28

Abebbulaniya

7 Kubanga Merukizeddeeki ono, kabaka wa Saalemi, kabona wa Katonda Asingayo Okuba Waggulu, yasisinkana Ibulayimu ng’ava okutta bakabaka n’amuwa omukisa,+ 2 era Ibulayimu n’amuwa kimu kya kkumi ku buli kintu kye yanyaga. Ayitibwa “Kabaka ow’Obutuukirivu” (ng’erinnya lye bwe livvuunulwa), ate era kabaka wa Saalemi, kwe kugamba, “Kabaka ow’Emirembe.” 3 Olw’obutaba na kitaawe, nnyina, olunyiriri lw’obuzaale, entandikwa y’ennaku ze oba enkomerero y’obulamu bwe, naye n’afuulibwa ng’Omwana wa Katonda, asigala nga kabona emirembe n’emirembe.+

4 Kale mulabe omusajja ono bwe yali omukulu, Ibulayimu jjajjaffe gwe yawa ekimu eky’ekkumi ku munyago ogwali gusinga obulungi.+ 5 Okusinziira ku Mateeka, abaana ba Leevi+ abafuna obwakabona baalagirwa okusolooza ekimu eky’ekkumi okuva mu bantu,+ kwe kugamba, okuva mu baganda baabwe, wadde nga nabo bazzukulu ba Ibulayimu. 6 Naye omusajja ataava mu lunyiriri lwa Leevi yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu era n’awa omukisa oyo eyalina ebisuubizo.+ 7 Awatali kubuusabuusa, oyo awa omukisa asinga oyo aweebwa omukisa. 8 Ku luuyi olumu, ekimu eky’ekkumi kifunibwa abantu abafa, naye ku luuyi olulala, kyafunibwa oyo Ebyawandiikibwa gwe bikakasa nti mulamu.+ 9 Era kiyinza okugambibwa nti ne Leevi afuna ekimu eky’ekkumi naye yawaayo ekimu eky’ekkumi okuyitira mu Ibulayimu, 10 kubanga yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki we yasisinkanira jjajjaawe.+

11 Kale bwe kiba nti obutuukirivu bwali bufunibwa okuyitira mu bwakabona bw’Abaleevi,+ (kubanga Amateeka agaaweebwa abantu gazingiramu n’obwakabona,) lwaki kyandibadde kyetaagisa kabona omulala okujja, agambibwa okuba nga Merukizeddeeki+ so si nga Alooni? 12 Okuva obwakabona bwe bukyusibwa, n’Amateeka gaba galina okukyusibwa.+ 13 Kubanga omuntu ayogerwako ebintu bino ava mu kika kirala, ekitavangamu muntu yenna eyali aweerezza ku kyoto.+ 14 Kimanyiddwa bulungi nti Mukama waffe yava mu kika kya Yuda,+ Musa ky’ataayogerako nti kirivaamu bakabona.

15 Era kino kyeyongera okutegeerekeka obulungi bwe wajjawo kabona omulala+ alinga Merukizeddeeki,+ 16 ataalondebwa kuyitira mu lunyiriri lw’obuzaale ng’amateeka bwe galagira, wabula okuyitira mu maanyi agamusobozesa okuba n’obulamu obutayinza kuzikirizibwa.+ 17 Kubanga waliwo ekyawandiikibwa ekigamba nti: “Oli kabona emirembe gyonna nga Merukizeddeeki.”+

18 Mazima ddala, ekiragiro ekyasooka kyadibizibwa olw’okuba kyali kinafu era nga tekigasa.+ 19 Amateeka tegalina kintu kyonna kye gaafuula ekituukiridde,+ naye okuleetebwa kw’essuubi erisingako obulungi+ kwafuula ebintu okuba ebituukiridde, era okuyitira mu ssuubi eryo tusemberera Katonda.+ 20 Ate era, nga kino bwe kyakolebwa nga tewaliiwo kirayiro kirayiddwa, 21 (mazima ddala waliwo abantu abaafuuka bakabona awatali kirayiro, naye ono ye yafuuka kabona okuyitira mu kirayiro ky’Oyo eyamwogerako nti: “Yakuwa* alayidde era talikyusa kirowoozo,* ‘Oli kabona emirembe gyonna’”),+ 22 ne Yesu afuuse akakalu* k’endagaano esingako obulungi.+ 23 Ate era bangi baafuuka bakabona ng’omu asikira omulala+ kubanga okufa kwabalemesanga okweyongera okuweereza nga bakabona, 24 naye olw’okuba ye abeera mulamu emirembe gyonna,+ obwakabona bwe tebuliiko babusikira. 25 Bwe kityo, asobola okulokolera ddala abo abatuukirira Katonda okuyitira mu ye, kubanga bulijjo aba mulamu okwegayirira ku lwabwe.+

26 Kubanga kabona asinga obukulu ng’oyo, omwesigwa, ataliiko kya kunenyezebwa, omulongoofu,+ atali ng’aboonoonyi, era agulumiziddwa okusinga eggulu,+ y’atusaanira. 27 Obutafaananako bakabona abasinga obukulu, ye tekimwetaagisa kuwaayo ssaddaaka buli lunaku,+ okusooka olw’ebibi bye n’oluvannyuma eby’abantu,+ kubanga kino yakikola omulundi gumu bwe yeewaayo.+ 28 Kubanga Amateeka galonda bakabona abasinga obukulu abalina obunafu,+ naye ekigambo eky’ekirayiro+ ekyalayirwa oluvannyuma lw’Amateeka, kironda omwana eyatuukirira+ emirembe gyonna.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share