LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubala 19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ente emmyufu n’amazzi ag’okutukuza (1-22)

Okubala 19:2

Marginal References

  • +Lev 22:20; Mal 1:14

Okubala 19:4

Marginal References

  • +Beb 9:13, 14

Okubala 19:5

Marginal References

  • +Lev 4:11, 12

Okubala 19:6

Marginal References

  • +Zb 51:7

Okubala 19:9

Marginal References

  • +Beb 9:13, 14
  • +Kbl 19:13, 21

Okubala 19:10

Marginal References

  • +Kuv 12:49; Lev 24:22; Kbl 15:15

Okubala 19:11

Marginal References

  • +Lev 21:1, 11; Kbl 5:2; 6:9; 9:6; 31:19

Okubala 19:12

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, amazzi ag’okutukuza.

Okubala 19:13

Marginal References

  • +Lev 15:31
  • +Lev 22:3; Beb 10:28
  • +Kbl 19:9

Okubala 19:15

Marginal References

  • +Lev 11:31, 32

Okubala 19:16

Marginal References

  • +Kbl 19:11; 31:19

Okubala 19:18

Marginal References

  • +Kbl 19:9
  • +Zb 51:7

Okubala 19:19

Marginal References

  • +Lev 14:9; Kbl 19:12; 31:19

Okubala 19:20

Marginal References

  • +Kbl 19:13

Okubala 19:21

Marginal References

  • +Kbl 19:18; Beb 9:9, 10, 13, 14

Okubala 19:22

Marginal References

  • +Lev 15:4, 5

General

Kubal. 19:2Lev 22:20; Mal 1:14
Kubal. 19:4Beb 9:13, 14
Kubal. 19:5Lev 4:11, 12
Kubal. 19:6Zb 51:7
Kubal. 19:9Beb 9:13, 14
Kubal. 19:9Kbl 19:13, 21
Kubal. 19:10Kuv 12:49; Lev 24:22; Kbl 15:15
Kubal. 19:11Lev 21:1, 11; Kbl 5:2; 6:9; 9:6; 31:19
Kubal. 19:13Lev 15:31
Kubal. 19:13Lev 22:3; Beb 10:28
Kubal. 19:13Kbl 19:9
Kubal. 19:15Lev 11:31, 32
Kubal. 19:16Kbl 19:11; 31:19
Kubal. 19:18Kbl 19:9
Kubal. 19:18Zb 51:7
Kubal. 19:19Lev 14:9; Kbl 19:12; 31:19
Kubal. 19:20Kbl 19:13
Kubal. 19:21Kbl 19:18; Beb 9:9, 10, 13, 14
Kubal. 19:22Lev 15:4, 5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubala 19:1-22

Okubala

19 Yakuwa era n’ayogera ne Musa ne Alooni n’abagamba nti: 2 “Lino lye tteeka Yakuwa ly’alagidde, ‘Gamba Abayisirayiri bakufunire ente eya lukunyu ennamu obulungi, etaliiko bulema,+ era etateekebwangako kikoligo. 3 Mujja kugiwa Eriyazaali kabona; ajja kugitwala ebweru w’olusiisira era bajja kugittira mu maaso ge. 4 Eriyazaali kabona ajja kunnyika olugalo lwe mu musaayi gwayo, agumansire emirundi musanvu okwolekera mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu.+ 5 Era ente ejja kwokebwa ng’alaba. Eddiba lyayo n’ennyama yaayo n’omusaayi gwayo awamu n’obusa bwayo bijja kwokebwa.+ 6 Kabona ajja kuddira ettabi ly’omuti gw’entolokyo n’obutabi bwa ezobu+ n’olugoye olumyufu abisuule mu muliro ente eyo mw’eyokerwa. 7 Era kabona ajja kwoza ebyambalo bye era anaabe n’amazzi. Oluvannyuma ajja kuba asobola okuyingira mu lusiisira, naye tajja kuba mulongoofu okutuusa akawungeezi.

8 “‘Oyo anaaba agyokezza ajja kwoza ebyambalo bye n’amazzi era anaabe n’amazzi; tajja kuba mulongoofu okutuusa akawungeezi.

9 “‘Omuntu omulongoofu ajja kuyoola evvu ly’ente+ aliteeke wabweru w’olusiisira mu kifo ekirongoofu; ekibiina ky’Abayisirayiri kijja kulitereka likozesebwenga mu kuteekateeka amazzi ag’okutukuza.+ Ekyo kye kiweebwayo olw’ekibi. 10 Oyo anaaba ayodde evvu ly’ente ajja kwoza ebyambalo bye era tajja kuba mulongoofu okutuusa akawungeezi.

“‘Lino linaabanga tteeka lya lubeerera eri Abayisirayiri n’eri omugwira atuula mu bo.+ 11 Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu yenna anaamalanga ennaku musanvu+ nga si mulongoofu. 12 Ku lunaku olw’okusatu aneetukuzanga n’amazzi ago* era ku lunaku olw’omusanvu anaabanga mulongoofu. Naye bw’ateetukuzenga ku lunaku olw’okusatu, ku lunaku olw’omusanvu taabenga mulongoofu. 13 Buli muntu anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu yenna, n’ateetukuza, anaabanga ayonoonye weema+ ya Yakuwa entukuvu era anattibwanga n’aggibwa mu Isirayiri.+ Taabenga mulongoofu olw’okuba anaabanga tamansiddwako mazzi ag’okutukuza.+ Obutali bulongoofu bwe bunaabanga bukyamuliko.

14 “‘Lino lye tteeka erinaagobererwanga ng’omuntu afiiridde mu weema: Buli anaayingiranga mu weema eyo, na buli anaabanga mu weema eyo, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu. 15 Buli kintu ekinaabanga kyasaamiridde nga tekisibiddwako kisaanikira, tekiibenga kirongoofu.+ 16 Buli muntu anaabanga ku ttale n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba ku mulambo oba ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu.+ 17 Oyo atali mulongoofu banaamutooleranga ku vvu ery’ekiweebwayo olw’ekibi ekyayokebwa ne baliteeka mu kibya ne bayiwamu amazzi agaseneddwa ku mazzi agakulukuta. 18 Omuntu omulongoofu+ anaddiranga obutabi bwa ezobu+ n’abunnyika mu mazzi n’agamansira ku weema ne ku bintu byonna ebigibaddemu ne ku bantu abagibaddemu ne ku oyo anaabanga akutte ku ggumba ly’omuntu oba ku muntu eyattibwa oba ku mulambo oba ku malaalo. 19 Omuntu omulongoofu anaagamansiranga ku atali mulongoofu ku lunaku olw’okusatu n’olw’omusanvu era anaamutukuzanga okuva mu kibi ku lunaku olw’omusanvu;+ anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba n’amazzi, era akawungeezi anaabanga mulongoofu.

20 “‘Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateetukuzenga, anattibwanga n’aggibwa mu kibiina,+ kubanga anaabanga ayonoonye ekifo kya Yakuwa ekitukuvu. Amazzi ag’okutukuza ganaabanga tegamumansiddwako. Taabenga mulongoofu.

21 “‘Lino linaabanga tteeka lya lubeerera gye bali: Oyo amansira amazzi ag’okutukuza+ anaayozanga ebyambalo bye, era n’oyo akwata ku mazzi ag’okutukuza taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. 22 Era ekintu kyonna atali mulongoofu ky’anaakwatangako tekiibenga kirongoofu, n’omuntu anaakikwatangako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share