Koseya
14 “Komawo eri Yakuwa Katonda wo ggwe Isirayiri,+
Kubanga weesittadde olw’ekibi kyo.
2 Komawo eri Yakuwa n’ebigambo bino,
Mumugambe nti, ‘Tusonyiwe ensobi zaffe,+ okkirize ebirungi,
Naffe tujja kuwaayo okutendereza okw’emimwa gyaffe*+ nga bwe twandiwaddeyo ente ento ennume.
3 Bwasuli tejja kutulokola.+
Tetujja kwebagala mbalaasi,+
Era tetujja kuddamu kugamba mulimu gwa mikono gyaffe nti: “Ai Katonda waffe,”
Kubanga ggwe alaga omwana atalina kitaawe ekisa.’+
4 Ndibawonya obutali bwesigwa bwabwe.+
5 Ndiba ng’omusulo eri Isirayiri;
Alimulisa ng’amalanga
Era alisimba emirandira gye ng’emiti gy’omu Lebanooni.
6 Amatabi ge galyagaagala,
Ekitiibwa kye kiriba ng’eky’omuzeyituuni,
N’akawoowo ke kaliba ng’ak’emiti gy’omu Lebanooni.
7 Baliddamu okubeera mu kisiikirize kye.
Balirima emmere era balimulisa ng’omuzabbibu.+
Ettutumu lye* liriba ng’omwenge gw’omu Lebanooni.
8 Efulayimu aligamba nti, ‘Ebifaananyi nkyabikozesa ki?’+
Ndimuwulira era ndimulabirira.+
Ndiba ng’omuti gw’omuberosi ogunyirira.
Nze ndikuwa ebibala.”
9 Ani alina amagezi? K’ategeere ebintu bino.
Ani mutegeevu? K’abimanye.
Amakubo ga Yakuwa magolokofu,+
Era abatuukirivu be baligatambuliramu;
Naye abakola ebibi balyesittala ne bagagwamu.