LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Abakkolinso 6
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ekisa kya Katonda tekirina kukozesebwa bubi (1, 2)

      • Pawulo bye yayitamu mu buweereza bwe (3-13)

      • Temwegattanga wamu na batali bakkiriza (14-18)

2 Abakkolinso 6:1

Marginal References

  • +2Ko 5:20
  • +Bar 2:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    1/2016, lup. 28-32

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2010, lup. 14

    1/1/1999, lup. 14

    8/1/1992, lup. 18-19

    3/1/1992, lup. 12

2 Abakkolinso 6:2

Marginal References

  • +Is 49:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/15/2010, lup. 12-14

    1/1/1999, lup. 14, 16

2 Abakkolinso 6:3

Marginal References

  • +1Ko 9:22

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 40

2 Abakkolinso 6:4

Marginal References

  • +2Ko 4:1, 2
  • +2Ko 11:23

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 40

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2016, lup. 18

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2000, lup. 18

    1/1/1999, lup. 14

2 Abakkolinso 6:5

Marginal References

  • +Kub 2:10
  • +2Ko 11:25, 27

2 Abakkolinso 6:6

Marginal References

  • +Bak 3:13; 1Se 5:14
  • +Bef 4:32
  • +Bar 12:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1999, lup. 14-15

2 Abakkolinso 6:7

Footnotes

  • *

    Oboolyawo nga bya kukozesa kulumba.

  • *

    Oboolyawo nga bya kukozesa kwetaasa.

Marginal References

  • +1Ko 2:4, 5
  • +2Ko 10:4; Bef 6:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1999, lup. 14-15

2 Abakkolinso 6:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1999, lup. 15

2 Abakkolinso 6:9

Footnotes

  • *

    Oba, “ng’abo abatwalibwa ng’abagwanira okufa.”

  • *

    Oba, “ng’abakangavvulwa.”

Marginal References

  • +2Ko 4:10, 11
  • +Bik 14:19; 2Ko 4:8, 9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1999, lup. 15

2 Abakkolinso 6:10

Marginal References

  • +Baf 4:13; Kub 2:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/1999, lup. 15-16

2 Abakkolinso 6:11

Footnotes

  • *

    Obut., “Akamwa kaffe tukaasamizza okwogera nammwe.”

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 56

2 Abakkolinso 6:12

Marginal References

  • +2Ko 12:15

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 56

2 Abakkolinso 6:13

Marginal References

  • +1Pe 2:17; 1Yo 4:20

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 56

    Zuukuka!,

    Na. 3 2020 lup. 10

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/15/2009, lup. 20-21

    10/1/2004, lup. 29-30

    12/1/1995, lup. 19-20

    Obuweereza bw’Obwakabaka,

    5/2004, lup. 4

    Sinza Katonda, lup. 149-150

2 Abakkolinso 6:14

Footnotes

  • *

    Obut., “Temubeeranga wansi wa kikoligo ekitenkanankana.”

Marginal References

  • +Kuv 23:32, 33; Ma 7:3, 4; 1Sk 11:4; 1Ko 7:39
  • +Yak 4:4
  • +Bef 5:7, 8

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 42

    Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, lup. 134-135

    Kwagala Kwa Katonda, lup. 113-115

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2007, lup. 19-20

    7/1/2004, lup. 30

    11/1/1991, lup. 8-13

2 Abakkolinso 6:15

Footnotes

  • *

    Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza, “atalina mugaso.” Kikozesebwa ku Sitaani.

  • *

    Oba, “omuntu omwesigwa.”

Marginal References

  • +Mat 4:10; Kub 12:7, 8
  • +1Ko 10:21

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1991, lup. 8-13

2 Abakkolinso 6:16

Marginal References

  • +1Ko 10:14
  • +1Ko 3:16
  • +Kuv 29:45
  • +Lev 26:11, 12; Ezk 37:27

2 Abakkolinso 6:17

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +Is 52:11; Yer 51:45; Kub 18:4
  • +Ezk 20:41; 2Ko 7:1

Indexes

  • Research Guide

    Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, lup. 111

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2006, lup. 13-17

    12/1/1992, lup. 5-6

2 Abakkolinso 6:18

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +2Sa 7:14
  • +Is 43:6; Kos 1:10; Yok 1:12

Indexes

  • Research Guide

    Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, lup. 111

General

2 Kol. 6:12Ko 5:20
2 Kol. 6:1Bar 2:4
2 Kol. 6:2Is 49:8
2 Kol. 6:31Ko 9:22
2 Kol. 6:42Ko 4:1, 2
2 Kol. 6:42Ko 11:23
2 Kol. 6:5Kub 2:10
2 Kol. 6:52Ko 11:25, 27
2 Kol. 6:6Bak 3:13; 1Se 5:14
2 Kol. 6:6Bef 4:32
2 Kol. 6:6Bar 12:9
2 Kol. 6:71Ko 2:4, 5
2 Kol. 6:72Ko 10:4; Bef 6:11
2 Kol. 6:92Ko 4:10, 11
2 Kol. 6:9Bik 14:19; 2Ko 4:8, 9
2 Kol. 6:10Baf 4:13; Kub 2:9
2 Kol. 6:122Ko 12:15
2 Kol. 6:131Pe 2:17; 1Yo 4:20
2 Kol. 6:14Kuv 23:32, 33; Ma 7:3, 4; 1Sk 11:4; 1Ko 7:39
2 Kol. 6:14Yak 4:4
2 Kol. 6:14Bef 5:7, 8
2 Kol. 6:15Mat 4:10; Kub 12:7, 8
2 Kol. 6:151Ko 10:21
2 Kol. 6:161Ko 10:14
2 Kol. 6:161Ko 3:16
2 Kol. 6:16Kuv 29:45
2 Kol. 6:16Lev 26:11, 12; Ezk 37:27
2 Kol. 6:17Is 52:11; Yer 51:45; Kub 18:4
2 Kol. 6:17Ezk 20:41; 2Ko 7:1
2 Kol. 6:182Sa 7:14
2 Kol. 6:18Is 43:6; Kos 1:10; Yok 1:12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Abakkolinso 6:1-18

2 Abakkolinso

6 Nga tukolera wamu naye,+ naffe tubeegayirira mukkirize ekisa kya Katonda eky’ensusso naye muleme kwerabira kigendererwa kyakyo.+ 2 Kubanga agamba nti: “Mu kiseera eky’okukkiririzibwamu nnakuwulira, era nnakuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”+ Laba! Kino kye kiseera eky’okukkiririzibwamu. Laba! Luno lwe lunaku olw’obulokozi.

3 Tetwagala kukola kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okuvumirirwa;+ 4 naye mu byonna tukiraga nti tuli baweereza ba Katonda,+ mu kugumiikiriza okungi, mu kubonaabona, mu kuba mu bwetaavu, mu bizibu,+ 5 mu kukubibwa, mu kusibibwa mu kkomera,+ mu bwegugungo, mu kukola ennyo, mu buteebaka kiro, mu butaba na mmere;+ 6 mu bulongoofu, mu kumanya, mu kuba abagumiikiriza,+ mu kulaga ekisa,+ mu kuba n’omwoyo omutukuvu, mu kulaga okwagala okutaliimu bukuusa,+ 7 mu kwogera amazima, mu maanyi ga Katonda;+ nga tulina eby’okulwanyisa eby’obutuukirivu+ mu mukono ogwa ddyo* n’ogwa kkono,* 8 mu kuweebwa ekitiibwa ne mu kunyoomebwa, mu kwogerwako obubi ne mu kwogerwako obulungi. Tutwalibwa ng’abalimba kyokka nga tuli ba mazima, 9 ng’abatamanyiddwa so ng’ate tumanyiddwa bulungi, ng’abafa* so ng’ate, laba! tuli balamu,+ ng’ababonerezebwa* kyokka nga tetuttibwa,+ 10 ng’abalina ennaku kyokka nga tusanyuka bulijjo, ng’abaavu kyokka nga tugaggawaza bangi, ng’abatalina kintu kyokka nga tulina ebintu byonna.+

11 Twogedde kaati gye muli,* mmwe Abakkolinso; emitima gyaffe gigaziye. 12 Okwagala kwaffe gye muli tekufunze,+ naye mmwe mufunze mu kwagala kwammwe. 13 N’olwekyo mukole kye kimu gye tuli—njogera nammwe ng’ayogera n’abaana—nammwe mugaziwe mu mitima gyammwe.+

14 Temwegattanga wamu na batali bakkiriza.*+ Obutuukirivu n’obujeemu bissa bitya ekimu?+ Oba ekitangaala n’ekizikiza bitabagana bitya?+ 15 Ate era, Kristo ne Beriyali*+ bassa batya ekimu? Oba omukkiriza* atabagana atya n’atali mukkiriza?+ 16 Era yeekaalu ya Katonda etabagana etya n’ebifaananyi?+ Kubanga tuli yeekaalu ya Katonda omulamu;+ nga Katonda bwe yagamba nti: “Nnaabeeranga mu bo,+ ne ntambuliranga mu bo, era nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange.”+ 17 “‘Kale muve wakati mu bo, era mubeeyawuleko,’ Yakuwa* bw’agamba, ‘era mulekere awo okukwata ku kitali kirongoofu’”;+ “‘nange nnaabasembeza.’”+ 18 “‘Nnaabeera kitammwe,+ era nammwe munaabeera baana bange ab’obulenzi n’ab’obuwala,’+ Yakuwa* Omuyinza w’Ebintu Byonna bw’agamba.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share