LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Eby’Abaleevi 4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ekiweebwayo olw’ekibi (1-35)

Eby’Abaleevi 4:2

Marginal References

  • +Lev 5:17; Kbl 15:27, 28

Eby’Abaleevi 4:3

Marginal References

  • +Lev 8:12; 21:10
  • +Kbl 12:1, 11
  • +Beb 5:1-3; 7:27

Eby’Abaleevi 4:4

Marginal References

  • +Lev 6:25
  • +Kuv 29:10, 11

Eby’Abaleevi 4:5

Marginal References

  • +Kuv 30:30

Eby’Abaleevi 4:6

Marginal References

  • +Lev 8:15, 16
  • +Lev 16:14, 19

Eby’Abaleevi 4:7

Marginal References

  • +Kuv 30:10
  • +Lev 5:9

Eby’Abaleevi 4:9

Marginal References

  • +Lev 9:8, 10

Eby’Abaleevi 4:10

Marginal References

  • +Lev 3:3, 4

Eby’Abaleevi 4:11

Marginal References

  • +Kuv 29:14

Eby’Abaleevi 4:12

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 27:3.

Marginal References

  • +Lev 8:14, 17; Beb 13:11

Eby’Abaleevi 4:13

Marginal References

  • +Yos 7:11
  • +Kbl 15:22-24

Eby’Abaleevi 4:17

Marginal References

  • +Kuv 26:31; 40:21; Beb 10:19, 20

Eby’Abaleevi 4:18

Marginal References

  • +Kuv 30:1, 6
  • +Kuv 27:1; 40:6

Eby’Abaleevi 4:19

Marginal References

  • +Lev 3:16

Eby’Abaleevi 4:20

Marginal References

  • +Kuv 32:30; Lev 16:17; Kbl 15:25; Bef 1:7; Beb 2:17

Eby’Abaleevi 4:21

Marginal References

  • +Lev 4:11, 12
  • +Lev 16:15; 1Yo 2:1, 2

Eby’Abaleevi 4:22

Marginal References

  • +Kuv 18:21

Eby’Abaleevi 4:24

Marginal References

  • +Lev 1:10, 11; 6:25; 7:2

Eby’Abaleevi 4:25

Marginal References

  • +Lev 9:8, 9; 16:18; Beb 9:22
  • +Lev 8:15

Eby’Abaleevi 4:26

Marginal References

  • +Lev 3:3-5

Eby’Abaleevi 4:27

Marginal References

  • +Kbl 15:27-29

Eby’Abaleevi 4:29

Marginal References

  • +Lev 1:10, 11; 6:25

Eby’Abaleevi 4:30

Marginal References

  • +Lev 4:25; 8:15; 9:8, 9; Beb 9:22

Eby’Abaleevi 4:31

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +Lev 3:16
  • +Lev 3:3, 4

Eby’Abaleevi 4:33

Marginal References

  • +Lev 1:10, 11

Eby’Abaleevi 4:34

Marginal References

  • +Lev 4:25; 16:18

Eby’Abaleevi 4:35

Marginal References

  • +Kuv 29:13, 14; Lev 3:3, 4; 6:12; 9:8, 10
  • +Kbl 15:28; 1Yo 1:7; 2:1, 2

General

Leev. 4:2Lev 5:17; Kbl 15:27, 28
Leev. 4:3Lev 8:12; 21:10
Leev. 4:3Kbl 12:1, 11
Leev. 4:3Beb 5:1-3; 7:27
Leev. 4:4Lev 6:25
Leev. 4:4Kuv 29:10, 11
Leev. 4:5Kuv 30:30
Leev. 4:6Lev 8:15, 16
Leev. 4:6Lev 16:14, 19
Leev. 4:7Kuv 30:10
Leev. 4:7Lev 5:9
Leev. 4:9Lev 9:8, 10
Leev. 4:10Lev 3:3, 4
Leev. 4:11Kuv 29:14
Leev. 4:12Lev 8:14, 17; Beb 13:11
Leev. 4:13Yos 7:11
Leev. 4:13Kbl 15:22-24
Leev. 4:17Kuv 26:31; 40:21; Beb 10:19, 20
Leev. 4:18Kuv 30:1, 6
Leev. 4:18Kuv 27:1; 40:6
Leev. 4:19Lev 3:16
Leev. 4:20Kuv 32:30; Lev 16:17; Kbl 15:25; Bef 1:7; Beb 2:17
Leev. 4:21Lev 4:11, 12
Leev. 4:21Lev 16:15; 1Yo 2:1, 2
Leev. 4:22Kuv 18:21
Leev. 4:24Lev 1:10, 11; 6:25; 7:2
Leev. 4:25Lev 9:8, 9; 16:18; Beb 9:22
Leev. 4:25Lev 8:15
Leev. 4:26Lev 3:3-5
Leev. 4:27Kbl 15:27-29
Leev. 4:29Lev 1:10, 11; 6:25
Leev. 4:30Lev 4:25; 8:15; 9:8, 9; Beb 9:22
Leev. 4:31Lev 3:16
Leev. 4:31Lev 3:3, 4
Leev. 4:33Lev 1:10, 11
Leev. 4:34Lev 4:25; 16:18
Leev. 4:35Kuv 29:13, 14; Lev 3:3, 4; 6:12; 9:8, 10
Leev. 4:35Kbl 15:28; 1Yo 1:7; 2:1, 2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Eby’Abaleevi 4:1-35

Eby’Abaleevi

4 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: 2 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Omuntu bw’ayonoonanga mu butali bugenderevu+ ng’akola ekintu kyonna ku ebyo Yakuwa bye yalagira obutakolebwa, anaakolanga bw’ati:

3 “‘Kabona eyafukibwako amafuta+ bw’akolanga ekibi,+ n’aleetera abantu okubaako omusango, awangayo eri Yakuwa ente ento ennume ennamu obulungi ng’ekiweebwayo olw’ekibi kye yakola.+ 4 Anaatwalanga ente ennume mu maaso ga Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu,+ n’ateeka omukono gwe ku mutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Yakuwa.+ 5 Awo kabona eyafukibwako amafuta+ anaatoolanga ogumu ku musaayi gw’ente ennume n’agutwala mu weema ey’okusisinkaniramu; 6 kabona anannyikanga olugalo lwe mu musaayi+ n’amansira ogumu ku musaayi mu maaso ga Yakuwa emirundi musanvu,+ mu maaso g’olutimbe olw’ekifo ekitukuvu. 7 Era kabona anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g’ekyoto eky’obubaani obw’akaloosa+ ekiri mu maaso ga Yakuwa mu weema ey’okusisinkaniramu, era omusaayi gw’ente ennume gwonna ogunaasigalangawo anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa+ ekiri ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.

8 “‘Ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi anaagiggyangako amasavu gonna, nga mw’otwalidde n’amasavu agabikka ku byenda n’amasavu gonna agali ku byenda, 9 n’ensigo ebbiri n’amasavu agaziriko agali okumpi n’ekiwato. Ate era anaggyangako ensigo n’amasavu agali ku kibumba.+ 10 Binaabanga bye bimu ng’ebyo ebiggibwa ku nte ennume eya ssaddaaka ey’emirembe.+ Era kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.

11 “‘Naye eddiba ly’ente ennume, ennyama yaayo yonna, omutwe gwayo, amagulu gaayo, ebyenda byayo, n’obusa bwayo+— 12 kwe kugamba, ente yonna, anaalagiranga n’etwalibwa ebweru w’olusiisira mu kifo ekirongoofu evvu* gye liyiibwa, era anaagyokeranga ku nku eziri mu muliro.+ Eneeyokerwanga eyo evvu gye liyiibwa.

13 “‘Ekibiina kyonna ekya Isirayiri bwe kibangako omusango olw’okukola ekibi mu butali bugenderevu,+ naye ne kitamanya nti kikoze ekintu Yakuwa kye yalagira obutakolebwa,+ 14 era ekibi ne kimanyika, ekibiina kinaawangayo ente ento ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi era kinaagitwalanga mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu. 15 Abakadde b’ekibiina banaateekanga emikono gyabwe ku mutwe gw’ente ennume mu maaso ga Yakuwa, era ente eyo enettirwanga mu maaso ga Yakuwa.

16 “‘Awo kabona eyafukibwako amafuta anaatwalanga ogumu ku musaayi gw’ente ennume mu weema ey’okusisinkaniramu. 17 Kabona anannyikanga olugalo lwe mu musaayi n’amansira ogumu ku gwo mu maaso ga Yakuwa emirundi musanvu, mu maaso g’olutimbe.+ 18 Anaasiiganga ogumu ku musaayi ku mayembe g’ekyoto+ ekiri mu maaso ga Yakuwa mu weema ey’okusisinkaniramu; era omusaayi gwonna ogunaasigalangawo anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekiri ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.+ 19 Anaagiggyangako amasavu gaayo gonna n’agookera ku kyoto.+ 20 Ente eyo anaagikola nga bwe yakola ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi. Bw’atyo bw’anaagikolanga, era kabona anaatangiriranga ebibi by’abantu+ ne bibasonyiyibwa. 21 Anaalagiranga ne batwala ente ennume ebweru w’olusiisira n’agyokya nga bwe yayokya ente ennume eyasooka.+ Ekyo kiweebwayo olw’ekibi ku lw’ekibiina.+

22 “‘Omwami+ bw’ayonoonanga mu butali bugenderevu ng’akola ekimu ku bintu byonna Yakuwa Katonda we bye yalagira obutakolebwa, n’abaako omusango, 23 oba bw’ategeeranga nti alina ekibi ky’akoze olw’okumenya ekiragiro, aleetanga embuzi ento ennume ennamu obulungi, ng’ekiweebwayo kye. 24 Ateekanga omukono gwe ku mutwe gw’embuzi eyo n’agittira mu maaso ga Yakuwa+ mu kifo awattirwa ensolo z’ekiweebwayo ekyokebwa. Ekyo kiweebwayo olw’ekibi. 25 Kabona anannyikanga olugalo lwe mu gumu ku musaayi gw’ensolo ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’agusiiga ku mayembe+ g’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, era omusaayi gwayo ogunaasigalangawo anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.+ 26 Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto nga bwe yakola amasavu g’ensolo ya ssaddaaka ey’emirembe,+ era kabona anaatangiriranga ebibi bye ne bimusonyiyibwa.

27 “‘Omuntu yenna ku bantu aba bulijjo bw’ayonoonanga mu butali bugenderevu n’abaako omusango olw’okukola ekimu ku bintu Yakuwa bye yalagira obutakolebwa,+ 28 oba bw’ategeeranga nti alina ekibi ky’akoze, anaaleetanga embuzi ento enkazi ennamu obulungi ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi ky’akoze. 29 Anaateekanga omukono gwe ku mutwe gw’ensolo eyo ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’agittira mu kifo awattirwa ensolo ez’ekiweebwayo ekyokebwa.+ 30 Kabona anannyikanga olugalo lwe mu gumu ku musaayi gwayo, n’agusiiga ku mayembe g’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, era omusaayi gwonna ogunaasigalangawo anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto.+ 31 Embuzi anaagiggyangako amasavu gaayo gonna+ nga bwe gaggibwa ku nsolo ya ssaddaaka ey’emirembe;+ kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa; era kabona anaatangiriranga ebibi bye ne bimusonyiyibwa.

32 “‘Naye bw’anaabanga ow’okuwaayo endiga ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, anaaleetanga endiga enkazi ennamu obulungi. 33 Anaateekanga omukono gwe ku mutwe gw’ensolo eyo ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’agittira mu kifo awattirwa ensolo z’ebiweebwayo ebyokebwa.+ 34 Kabona anannyikanga olugalo lwe mu gumu ku musaayi gw’ensolo ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’agusiiga ku mayembe g’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa,+ era omusaayi gwayo gwonna ogunaasigalangawo anaaguyiwanga ku ntobo y’ekyoto. 35 Anaagiggyangako amasavu gaayo gonna nga bwe gaggibwa ku ndiga ennume eya ssaddaaka ey’emirembe, era kabona anaagookeranga ku kyoto, kungulu ku kiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro;+ era kabona anaatangiriranga ekibi ky’akoze ne kimusonyiyibwa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share