LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Abebbulaniya 8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Weema entukuvu kifaananyi eky’ebintu eby’omu ggulu (1-6)

      • Endagaano empya egeraageranyizibwa n’eyasooka (7-13)

Abebbulaniya 8:1

Marginal References

  • +Beb 3:1; 7:26
  • +Zb 110:1; Beb 1:3

Indexes

  • Research Guide

    Ssomero ly’Omulimu, lup. 29-31

Abebbulaniya 8:2

Footnotes

  • *

    Oba, “aweereza ku lw’abantu bonna.”

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +Beb 9:8, 24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2000, lup. 9

    7/1/1996, lup. 16-20

Abebbulaniya 8:3

Marginal References

  • +Bef 5:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/1/2000, lup. 8

Abebbulaniya 8:4

Marginal References

  • +Beb 7:14

Abebbulaniya 8:5

Marginal References

  • +Bak 2:16, 17; Beb 10:1
  • +Beb 9:9, 24
  • +Kuv 25:9, 40; 26:30; Kbl 8:4

Abebbulaniya 8:6

Marginal References

  • +1Ti 2:5
  • +1Ko 11:25; Beb 7:22; 9:15; 12:22, 24
  • +Zb 110:4; Bar 8:17

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2000, lup. 9

    2/1/1990, lup. 11-12

Abebbulaniya 8:7

Marginal References

  • +Beb 7:11, 18

Abebbulaniya 8:8

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Abebbulaniya 8:9

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +Kuv 12:51

Abebbulaniya 8:10

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +Bar 2:29
  • +2Ko 6:16

Abebbulaniya 8:11

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Abebbulaniya 8:12

Marginal References

  • +Yer 31:31-34

Abebbulaniya 8:13

Marginal References

  • +Bar 10:4; Beb 7:12
  • +Bak 2:13, 14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    10/15/2014, lup. 15-16

General

Beb. 8:1Beb 3:1; 7:26
Beb. 8:1Zb 110:1; Beb 1:3
Beb. 8:2Beb 9:8, 24
Beb. 8:3Bef 5:2
Beb. 8:4Beb 7:14
Beb. 8:5Bak 2:16, 17; Beb 10:1
Beb. 8:5Beb 9:9, 24
Beb. 8:5Kuv 25:9, 40; 26:30; Kbl 8:4
Beb. 8:61Ti 2:5
Beb. 8:61Ko 11:25; Beb 7:22; 9:15; 12:22, 24
Beb. 8:6Zb 110:4; Bar 8:17
Beb. 8:7Beb 7:11, 18
Beb. 8:9Kuv 12:51
Beb. 8:10Bar 2:29
Beb. 8:102Ko 6:16
Beb. 8:12Yer 31:31-34
Beb. 8:13Bar 10:4; Beb 7:12
Beb. 8:13Bak 2:13, 14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Abebbulaniya 8:1-13

Abebbulaniya

8 Eno ye nsonga enkulu mu ebyo bye twogerako: Tulina kabona asinga obukulu bw’atyo,+ era atudde ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ey’Ow’Ekitiibwa mu ggulu,+ 2 omuweereza* w’omu kifo ekitukuvu+ ne mu weema yennyini eyateekebwawo Yakuwa,* so si muntu. 3 Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka; n’olwekyo, ono naye kyali kimwetaagisa okubaako ky’awaayo.+ 4 Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona,+ kubanga waliwo abantu abawaayo ebirabo ng’Amateeka bwe galagira. 5 Abantu abo bakola emirimu gy’obuweereza obutukuvu, era obuweereza obwo kifaananyi era kisiikirize+ ky’ebintu eby’omu ggulu;+ nga Katonda bwe yawa Musa ekiragiro ng’anaatera okukola omulimu ogw’okuzimba weema. Yamugamba nti: “Kakasa nti okola ebintu byonna ng’ogoberera pulaani ekulagiddwa ku lusozi.”+ 6 Naye kaakano Yesu aweereddwa obuweereza obusingawo obulungi kubanga ye mutabaganya+ w’endagaano esingako obulungi,+ eyeesigamiziddwa ku bisuubizo ebisinga obulungi+ era ng’eteekeddwawo mu mateeka.

7 Singa endagaano eyasooka teyaliiko kya kunenyezebwa, ey’okubiri yandibadde teyeetaagisa.+ 8 Kubanga anenya abantu bw’agamba nti: “‘Laba! Ennaku zijja,’ Yakuwa* bw’agamba, ‘lwe ndikola endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri era n’ennyumba ya Yuda. 9 Teriba ng’endagaano gye nnakola ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi ya Misiri,+ kubanga baamenya endagaano yange, nange ne ndekera awo okubafaako,’ Yakuwa* bw’agamba.

10 “‘Eno ye ndagaano gye ndikola n’ennyumba ya Isirayiri oluvannyuma lw’ennaku ezo,’ Yakuwa* bw’agamba. ‘Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, era ndigawandiika mu mitima gyabwe.+ Ndibeera Katonda waabwe era nabo baliba bantu bange.+

11 “‘Era buli muntu aliba takyayigiriza mutuuze munne, era buli omu aliba takyayigiriza muganda we ng’agamba nti: “Manya Yakuwa!”* Kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto okutuuka ku mukulu. 12 Kubanga ndibasonyiwa ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu, era siriddamu kujjukira bibi byabwe.’”+

13 Bw’ayogera ku “ndagaano empya,” eyo eyasooka aba agidibizza.+ Bwe kityo, eyo edibiziddwa era ekaddiye eneetera okuggwaawo.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share