Eby’Abaleevi
1 Awo Yakuwa n’ayita Musa n’ayogera naye ng’asinziira mu weema ey’okusisinkaniramu,+ n’amugamba nti: 2 “Yogera n’Abayisirayiri* obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’anaabanga ow’okuwaayo ekiweebwayo eri Yakuwa okuva mu bisolo eby’awaka, anaawangayo ekiweebwayo kye okuva mu nte oba mu ndiga n’embuzi.+
3 “‘Ekiweebwayo kye bwe kibanga ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente, anaawangayo ente ennume ennamu obulungi.+ Anaagiwangayo kyeyagalire+ mu maaso ga Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 4 Anaateekanga omukono gwe ku mutwe gw’ensolo ey’ekiweebwayo ekyokebwa, era enekkirizibwanga ku lulwe okusobola okutangirira ebibi bye.
5 “‘Ente ento ennume enettirwanga mu maaso ga Yakuwa, era batabani ba Alooni, bakabona,+ banaatwalanga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zonna ez’ekyoto+ ekiri ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 6 Ensolo ey’ekiweebwayo ekyokebwa eneebaagibwanga n’esalibwamu ebitundutundu.+ 7 Batabani ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omuliro ku kyoto+ ne baguteekako enku. 8 Batabani ba Alooni, bakabona, banaateekanga ebitundutundu by’ekiweebwayo+ awamu n’omutwe, n’amasavu* ku nku eziri ku muliro ku kyoto. 9 Ebyenda byayo n’amagulu gaayo* binaayozebwanga n’amazzi; era byonna kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.*+
10 “‘Ekiweebwayo ky’awaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kibanga kya ndiga ento ennume oba embuzi,+ anaawangayo ennume ennamu obulungi.+ 11 Enettirwanga ku luuyi lw’ekyoto olw’ebukiikakkono mu maaso ga Yakuwa, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto.+ 12 Kabona anaagisalangamu ebitundutundu n’abiteeka ku nku eziri ku muliro ku kyoto awamu n’omutwe gwayo n’amasavu gaayo.* 13 Ebyenda n’amagulu anaabyozanga n’amazzi, era byonna kabona anaabitwalanga n’abyokera ku kyoto. Ekyo kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.*
14 “‘Kyokka bw’anaabanga ow’okuwaayo ebinyonyi ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa, anaawangayo ejjiba oba enjiibwa ento.+ 15 Kabona anaakireetanga ku kyoto n’akiyuza obulago n’akyokera ku kyoto, naye omusaayi gwakyo gunaatonnyolokokeranga ku mabbali g’ekyoto. 16 Anaakimaanyangako ebyoya n’akiggyamu ekisakiro, n’abisuula ku mabbali g’ekyoto ku luuyi olw’ebuvanjuba awateekebwa evvu.*+ 17 Anaakwatanga ebiwaawaatiro byakyo n’akyabuluzaamu, naye takikutulangamu bitundu bibiri. Awo kabona anaakyokeranga ku nku eziri ku muliro ku kyoto. Ekyo kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.*