LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Olubereberye 17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ibulayimu wa kufuuka kitaawe w’amawanga mangi (1-8)

        • Ibulaamu atuumibwa Ibulayimu (5)

      • Endagaano y’okukomolebwa (9-14)

      • Salaayi atuumibwa Saala (15-17)

      • Basuubizibwa okuzaala Isaaka (18-27)

Olubereberye 17:2

Marginal References

  • +Lub 15:18; Zb 105:8-11
  • +Lub 22:17; Ma 1:10; Beb 11:11, 12

Olubereberye 17:4

Marginal References

  • +Zb 105:9-11
  • +Lub 13:16; Bar 4:17

Olubereberye 17:5

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Kitange Ali Waggulu (Agulumiziddwa).”

  • *

    Litegeeza, “Kitaawe w’Ekibinja; Kitaawe w’Abangi.”

Olubereberye 17:6

Marginal References

  • +Lub 35:10, 11

Olubereberye 17:7

Marginal References

  • +Luk 1:72, 73

Olubereberye 17:8

Marginal References

  • +Kuv 6:4; Beb 11:8, 9
  • +Ma 14:2

Olubereberye 17:10

Marginal References

  • +Lub 21:4; Bar 2:29

Olubereberye 17:11

Marginal References

  • +Bik 7:8; Bar 4:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2007, lup. 12-13

Olubereberye 17:12

Marginal References

  • +Luk 2:21

Olubereberye 17:13

Marginal References

  • +Kuv 12:44

Olubereberye 17:15

Footnotes

  • *

    Liyinza okuba litegeeza, “Omuyombi.”

  • *

    Litegeeza, “Omumbejja.”

Marginal References

  • +Lub 11:29

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 5 2017 lup. 14

Olubereberye 17:16

Marginal References

  • +Lub 18:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 5 2017 lup. 14

Olubereberye 17:17

Marginal References

  • +Lub 18:12
  • +Bar 4:19; Beb 11:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 5 2017 lup. 14

Olubereberye 17:18

Marginal References

  • +Lub 16:11

Olubereberye 17:19

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Enseko.”

Marginal References

  • +Mat 1:2
  • +Lub 26:24

Olubereberye 17:20

Marginal References

  • +Lub 16:10; 21:13, 18; 25:13-16; 1By 1:29-31

Olubereberye 17:21

Marginal References

  • +Lub 26:3; Beb 11:8, 9
  • +Lub 18:10, 14; 21:1

Olubereberye 17:23

Marginal References

  • +Lub 17:13

Olubereberye 17:24

Marginal References

  • +Bik 7:8; Bar 4:11

Olubereberye 17:25

Marginal References

  • +Lub 16:16

General

Lub. 17:2Lub 15:18; Zb 105:8-11
Lub. 17:2Lub 22:17; Ma 1:10; Beb 11:11, 12
Lub. 17:4Zb 105:9-11
Lub. 17:4Lub 13:16; Bar 4:17
Lub. 17:6Lub 35:10, 11
Lub. 17:7Luk 1:72, 73
Lub. 17:8Kuv 6:4; Beb 11:8, 9
Lub. 17:8Ma 14:2
Lub. 17:10Lub 21:4; Bar 2:29
Lub. 17:11Bik 7:8; Bar 4:11
Lub. 17:12Luk 2:21
Lub. 17:13Kuv 12:44
Lub. 17:15Lub 11:29
Lub. 17:16Lub 18:10
Lub. 17:17Lub 18:12
Lub. 17:17Bar 4:19; Beb 11:11
Lub. 17:18Lub 16:11
Lub. 17:19Mat 1:2
Lub. 17:19Lub 26:24
Lub. 17:20Lub 16:10; 21:13, 18; 25:13-16; 1By 1:29-31
Lub. 17:21Lub 26:3; Beb 11:8, 9
Lub. 17:21Lub 18:10, 14; 21:1
Lub. 17:23Lub 17:13
Lub. 17:24Bik 7:8; Bar 4:11
Lub. 17:25Lub 16:16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 17:1-27

Olubereberye

17 Ibulaamu bwe yali nga wa myaka 99, Yakuwa n’amulabikira n’amugamba nti: “Nze Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Tambuliranga mu maaso gange era tobangako kya kunenyezebwa. 2 Ndinyweza endagaano yange naawe,+ era ndyaza nnyo ezzadde lyo.”+

3 Awo Ibulaamu n’avunnama era Katonda n’ayongera okwogera naye n’amugamba nti: 4 “Laba, nnakola naawe endagaano,+ era olifuuka kitaawe w’amawanga mangi.+ 5 Tokyayitibwa Ibulaamu* wabula onooyitibwanga Ibulayimu,* kubanga ndikufuula kitaawe w’amawanga mangi. 6 Ndikuwa abaana bangi nnyo, olivaamu amawanga mangi, era bakabaka baliva mu ggwe.+

7 “Ate era ndituukiriza endagaano yange ey’olubeerera eri wakati wange naawe,+ n’ezzadde lyo abalikuddirira mu mirembe gyabwe gyonna, mbeere Katonda wo era Katonda ow’ezzadde lyo abalikuddirira. 8 Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo abalikuddirira ensi gy’olimu ng’omugwira+—ensi yonna eya Kanani—ebeere yammwe lubeerera; era ndiba Katonda waabwe.”+

9 Katonda n’ayongera n’agamba Ibulayimu nti: “Onookuumanga endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo abalikuddirira mu mirembe gyabwe gyonna. 10 Eno ye ndagaano eri wakati wange nammwe, ggwe n’ezzadde lyo abalikuddirira gye munaakuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga.+ 11 Munaakomolebwanga, era ako kanaabanga kabonero ak’endagaano eri wakati wange nammwe.+ 12 Buli mwana ow’obulenzi mu mmwe, mu mirembe gyammwe gyonna, anaakomolebwanga nga wa nnaku munaana,+ buli azaalibwa mu nnyumba yammwe, awamu n’oyo atali wa mu zzadde lyammwe gwe munaagulanga ku mugwira. 13 Buli musajja azaalibwa mu nnyumba yammwe era n’oyo gwe munaagulanga n’essente zammwe anaakomolebwanga;+ era endagaano yange eri mu mubiri gwammwe eneeba ndagaano ya lubeerera. 14 Omusajja yenna atali mukomole bw’ataakomolebwenga anattibwanga, kubanga anaabanga amenye endagaano yange.”

15 Era Katonda n’agamba Ibulayimu nti: “Mukazi wo Salaayi*+ tomuyita Salaayi, kubanga Saala* lye linaabeera erinnya lye. 16 Nja kumuwa omukisa era nja kukuwa omwana ow’obulenzi okuva mu ye;+ nja kumuwa omukisa era alivaamu amawanga; bakabaka b’amawanga baliva mu ye.” 17 Awo Ibulayimu n’avunnama n’atandika okuseka n’okugamba mu mutima gwe+ nti: “Omusajja ow’emyaka 100 anaafuna omwana, era ne Saala omukazi ow’emyaka 90 anaazaala?”+

18 Awo Ibulayimu n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Singa nno owa Isimayiri omukisa!”+ 19 Katonda n’amugamba nti: “Saala mukazi wo ajja kukuzaalira omwana ow’obulenzi era ojja kumutuuma Isaaka.*+ Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano ey’emirembe n’emirembe eri ezzadde lye eririmuddirira.+ 20 Naye ku bikwata ku Isimayiri, nkuwulidde. Laba! Ndimuwa omukisa era ndimuwa abaana bangi era ndimwaza nnyo. Alizaala abaami 12 era ndimufuula eggwanga eddene.+ 21 Kyokka endagaano yange ndiginyweza ne Isaaka+ Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.”+

22 Katonda bwe yamala okwogera ne Ibulayimu, n’ava w’ali. 23 Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we, n’abasajja bonna abaazaalibwa mu nnyumba ye, na buli yenna gwe yali yagula; abasajja bonna mu nnyumba ye n’abakomola ku lunaku olwo lwennyini nga Katonda bwe yali amugambye.+ 24 Ibulayimu yakomolebwa ng’alina emyaka 99.+ 25 Ate Isimayiri mutabani we yakomolebwa ng’alina emyaka 13.+ 26 Ku lunaku olwo lwennyini Ibulayimu ne mutabani we Isimayiri baakomolebwa. 27 Abasajja bonna ab’omu nnyumba ye, buli eyazaalibwa mu nnyumba ye, na buli eyagulibwa ku mugwira nabo baakomolebwa wamu naye.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share