LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Olubereberye 37
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Ebirooto bya Yusufu (1-11)

      • Yusufu ne baganda be ab’obuggya (12-24)

      • Yusufu atundibwa mu buddu (25-36)

Olubereberye 37:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 23:3, 4; 28:1, 4; Beb 11:8, 9

Olubereberye 37:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 30:25; 46:19
  • +Lub 47:3
  • +Lub 35:25
  • +Lub 35:26

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 11

Olubereberye 37:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +1By 2:1, 2

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 12

Olubereberye 37:4

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 12-13

Olubereberye 37:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 37:19

Olubereberye 37:6

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 13

Olubereberye 37:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 42:6, 9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 13

Olubereberye 37:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 45:8; 49:26

Olubereberye 37:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 44:14; 45:9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 13

Olubereberye 37:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 7:9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 13

Olubereberye 37:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 33:18

Olubereberye 37:13

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 13

Olubereberye 37:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 23:19; 35:27

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 13

    ‘Ensi Ennungi’, lup. 7

Olubereberye 37:17

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    ‘Ensi Ennungi’, lup. 7

Olubereberye 37:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 37:5

Olubereberye 37:21

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 49:3
  • +Lub 9:5; Kuv 20:13

Olubereberye 37:22

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “temumussaako mukono.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 4:8, 10; 42:22
  • +Lub 42:21

Olubereberye 37:23

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 37:3

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 13-14

Olubereberye 37:24

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 13-14

Olubereberye 37:25

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “labudanamu.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 25:12
  • +Lub 43:11

Olubereberye 37:26

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 4:8, 10

Olubereberye 37:27

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “mubiri.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Bik 7:9

Olubereberye 37:28

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 25:1, 2
  • +Lub 40:15; 45:4; Zb 105:17

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2014, lup. 13-14

    ‘Ensi Ennungi’, lup. 7

Olubereberye 37:32

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 37:3

Olubereberye 37:33

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2010, lup. 15

Olubereberye 37:34

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2010, lup. 15

Olubereberye 37:35

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Laba Awanny.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 42:38; 44:29; Zb 89:48; Mub 9:10; Kos 13:14; Bik 2:27; Kub 20:13

Olubereberye 37:36

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 39:1
  • +Lub 40:2, 3

Ebirala

Lub. 37:1Lub 23:3, 4; 28:1, 4; Beb 11:8, 9
Lub. 37:2Lub 30:25; 46:19
Lub. 37:2Lub 47:3
Lub. 37:2Lub 35:25
Lub. 37:2Lub 35:26
Lub. 37:31By 2:1, 2
Lub. 37:5Lub 37:19
Lub. 37:7Lub 42:6, 9
Lub. 37:8Lub 45:8; 49:26
Lub. 37:9Lub 44:14; 45:9
Lub. 37:11Bik 7:9
Lub. 37:12Lub 33:18
Lub. 37:14Lub 23:19; 35:27
Lub. 37:19Lub 37:5
Lub. 37:21Lub 49:3
Lub. 37:21Lub 9:5; Kuv 20:13
Lub. 37:22Lub 4:8, 10; 42:22
Lub. 37:22Lub 42:21
Lub. 37:23Lub 37:3
Lub. 37:25Lub 25:12
Lub. 37:25Lub 43:11
Lub. 37:26Lub 4:8, 10
Lub. 37:27Bik 7:9
Lub. 37:28Lub 25:1, 2
Lub. 37:28Lub 40:15; 45:4; Zb 105:17
Lub. 37:32Lub 37:3
Lub. 37:35Lub 42:38; 44:29; Zb 89:48; Mub 9:10; Kos 13:14; Bik 2:27; Kub 20:13
Lub. 37:36Lub 39:1
Lub. 37:36Lub 40:2, 3
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 37:1-36

Olubereberye

37 Yakobo ne yeeyongera okubeera mu nsi ya Kanani kitaawe gye yabeeranga ng’omugwira.+

2 Bino bye byafaayo bya Yakobo.

Yusufu+ bwe yali nga wa myaka 17, yali alunda endiga+ n’abaana ba Biruka+ ne Zirupa+ baka kitaawe. Yusufu n’abuulira kitaawe ebintu ebibi baganda be bye baali bakola. 3 Isirayiri yali ayagala nnyo Yusufu okusinga batabani be+ abalala bonna kubanga yamuzaala mu bukadde bwe; era yali yamutungisiza ekyambalo ekiwanvu ekirabika obulungi. 4 Baganda be bwe baalaba nga kitaabwe amwagala nnyo okusinga baganda be abalala bonna, ne bamukyawa era ne baba nga tebakyayogera naye mu mirembe.

5 Oluvannyuma Yusufu yaloota ekirooto n’akibuulira baganda be,+ ne beeyongera okumukyawa. 6 N’abagamba nti: “Muwulire ekirooto kino kye nnaloose. 7 Twabadde tusiba ebinywa mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka ne kyesimba era ebinywa byammwe ne bikyetooloola ne bikivunnamira.”+ 8 Baganda be ne bamugamba nti: “Ky’otegeeza ogenda kwefuula kabaka waffe, oba nti olitufuga?”+ Ne beeyongera okumukyawa olw’ebirooto bye n’olw’ebyo bye yayogera.

9 N’aloota ekirooto ekirala n’akibuulira baganda be, n’agamba nti: “Nnaloose ekirooto ekirala. Ku luno nnalabye enjuba, omwezi, n’emmunyeenye 11 nga binvunnamira.”+ 10 N’akibuulira kitaawe ne baganda be. Kitaawe n’amunenya, n’amugamba nti: “Ekirooto kyo ekyo kitegeeza ki? Nze ne nnyoko ne baganda bo tulijja ne tukuvunnamira?” 11 Baganda be ne bamukwatirwa obuggya,+ naye kitaawe n’akikuumira mu birowoozo bye.

12 Baganda be ne bagenda okulunda ebisibo bya kitaabwe okumpi ne Sekemu.+ 13 Bwe waayitawo ekiseera Isirayiri n’agamba Yusufu nti: “Baganda bo tebalundira bisibo okumpi ne Sekemu? Jjangu nkutume gye bali.” Awo n’amuddamu nti: “Ndi mwetegefu okugenda!” 14 N’amugamba nti: “Genda olabe obanga baganda bo bali bulungi era olabe n’ebisolo bwe biri, okomewo ombuulire.” Bw’atyo n’amutuma okuva mu kiwonvu ky’e Kebbulooni,+ n’ayolekera e Sekemu. 15 Oluvannyuma omusajja n’amusanga ng’atambulatambula ku ttale, n’amubuuza nti: “Onoonya ki?” 16 N’amuddamu nti: “Nnoonya baganda bange. Nkwegayiridde mbuulira; balundira wa ebisibo?” 17 Omusajja n’amugamba nti: “Eno baavuddeyo, kubanga nnabawulidde nga bagamba nti: ‘Tugende e Dosani.’” Awo Yusufu n’agoberera baganda be n’abasanga e Dosani.

18 Awo ne bamulengera ng’akyali walako, era bwe yali nga tannabatuukako ne beekobaana okumutta. 19 Ne bagambagana nti: “Laba! Ssekalootera+ wuuli ajja. 20 Mujje tumutte tumusuule mu kimu ku binnya; tujja kugamba nti ensolo enkambwe yamulya. Tunaalaba ebirooto bye bwe binaatuukirira.” 21 Lewubeeni+ bwe yawulira ekyo n’agezaako okumuwonya baleme kumukolako kabi. Bw’atyo n’agamba nti: “Tetumutta.”+ 22 Lewubeeni n’ayongera n’abagamba nti: “Temuyiwa musaayi.+ Mumusuule mu kinnya kino ekiri mu ddungu, naye temumukolako kabi.”*+ Yali agenderera kumuwonya baleme kumukolako kabi, asobole okumuzzaayo eri kitaawe.

23 Yusufu olwali okutuuka awaali baganda be, ne bamwambulamu ekyambalo kye ekirabika obulungi kye yayambalanga.+ 24 Ne bamutwala ne bamusuula mu kinnya. Mu kiseera ekyo ekinnya kyali kikalu nga tekiriimu mazzi.

25 Awo ne batuula wansi okulya. Bwe baayimusa amaaso, ne balaba ekibinja ky’Abayisimayiri+ abaali bava e Gireyaadi nga bagenda e Misiri, era ng’eŋŋamira zaabwe zeetisse amasanda agawunya obulungi,* ne basamu, n’ebikuta by’emiti egy’amasanda.+ 26 Awo Yuda n’agamba baganda be nti: “Kinaatugasa ki okutta muganda waffe ne tukisa okufa kwe?+ 27 Mujje tumuguze+ Abayisimayiri tuleme kumukolako kabi kubanga muganda waffe era musaayi* gwaffe.” Ne bawuliriza muganda waabwe. 28 Awo abasuubuzi Abamidiyaani+ bwe baali bayitawo, baganda ba Yusufu ne bamuggyayo mu kinnya ne bamuguza Abayisimayiri ebitundu bya ffeeza 20.+ Abasajja abo ne batwala Yusufu e Misiri.

29 Lewubeeni bwe yaddayo ku kinnya n’asanga nga Yusufu taliimu, n’ayuza ebyambalo bye. 30 Bwe yaddayo eri baganda be abalala, n’abagamba nti: “Omwana taliimu! Kale nze nnaakola ntya?”

31 Awo ne batta embuzi ennume, ne baddira ekyambalo kya Yusufu ne bakinnyika mu musaayi gwayo. 32 Bwe baamala ne baweereza ekyambalo eri kitaabwe ne bagamba nti: “Kino kye twasanze. Kebera olabe obanga kino kye kyambalo ky’omwana wo.”+ 33 N’akikebera, n’agamba nti: “Kye kyambalo ky’omwana wange! Ensolo enkambwe eteekwa okuba nga yamulidde! Mazima ddala Yusufu yataaguddwataaguddwa!” 34 Awo Yakobo n’ayuza ebyambalo bye, ne yeesiba ekibukutu mu kiwato n’akungubagira mutabani we okumala ennaku nnyingi. 35 Batabani be ne bawala be bonna ne bamubudaabudanga, naye n’agaana okubudaabudibwa ng’agamba nti: “Ndikka emagombe*+ nga nkyakaabira omwana wange!” Bw’atyo kitaawe n’ayongera okumukaabira.

36 Abamidiyaani ne bamutunda e Misiri, ne bamuguza Potifaali omukungu wa Falaawo+ eyali omukulu w’abakuumi.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza