LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Olubereberye 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Okutondebwa kw’eggulu n’ensi (1, 2)

      • Ensi eteekebwateekebwa okumala ennaku mukaaga (3-31)

        • Olunaku olusooka: ekitangaala; emisana n’ekiro (3-5)

        • Olunaku olw’okubiri: ebbanga (6-8)

        • Olunaku olw’okusatu: olukalu n’ebimera ((9-13)

        • Olunaku olw’okuna: ebyaka eby’omu bbanga ((14-19)

        • Olunaku olw’okutaano: ebyennyanja n’ebinyonyi (20-23)

        • Olunaku olw’omukaaga: ebisolo eby’oku lukalu n’abantu (24-31)

Olubereberye 1:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 102:25; Is 42:5; 45:18; Bar 1:20; Beb 1:10; Kub 4:11; 10:6

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 6

    Zuukuka!,

    Na. 3 2021 lup. 10

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 1 2019 lup. 5

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2015, lup. 5

    2/15/2011, lup. 6-7

    2/1/1992, lup. 3-4

    Mukwano gwa Katonda!, lup. 7

Olubereberye 1:2

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “ku mazzi ageefuukuula.”

  • *

    Oba, “ng’amaanyi ga Katonda.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 8:27, 28
  • +Zb 33:6; Is 40:26
  • +Zb 104:5, 6

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 6

    Zuukuka!,

    Na. 3 2021 lup. 10

Olubereberye 1:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 45:7; 2Ko 4:6

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2011, lup. 8

    1/1/2004, lup. 6-7

Olubereberye 1:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 8:22

Olubereberye 1:6

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Kwe kugamba, okwawula amazzi aga waggulu ku ga wansi.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 1:20
  • +2Pe 3:5

Olubereberye 1:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 7:11; Nge 8:27, 28

Olubereberye 1:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yob 38:8, 11; Zb 104:6-9; 136:6

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Zuukuka!,

    Na. 3 2021 lup. 10

Olubereberye 1:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 95:5
  • +Nge 8:29
  • +Ma 32:4

Olubereberye 1:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 104:14

Olubereberye 1:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 4:19
  • +Zb 104:19
  • +Lub 8:22

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/15/2011, lup. 8

Olubereberye 1:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 136:7, 8
  • +Zb 8:3; Yer 31:35

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2004, lup. 6-7

Olubereberye 1:18

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 74:16

Olubereberye 1:20

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 2:19

Olubereberye 1:21

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 6

Olubereberye 1:22

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nek 9:6; Zb 104:25

Olubereberye 1:24

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Ekigambo kino mu Lwebbulaniya kikozesebwa ku bitonde ng’emmese, emisota, n’ebiwuka.

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 2:19

Olubereberye 1:25

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 6

Olubereberye 1:26

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Nge 8:30; Yok 1:3; Bak 1:16
  • +1Ko 11:7
  • +Lub 5:1; Yak 3:9
  • +Lub 9:2

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 6

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 2 2018 lup. 12

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2004, lup. 8

    3/1/2002, lup. 4-5

    2/1/1991, lup. 18

    Omuyigiriza, lup. 22

Olubereberye 1:27

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 139:14; Mat 19:4; Mak 10:6; 1Ko 11:7, 9

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 6

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 1 2019 lup. 10

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 2 2018 lup. 12

    Bye Tuyiga, lup. 53

    Baibuli Ky’Eyigiriza, lup. 48

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2013, lup. 3

    2/15/2011, lup. 9

    7/1/2005, lup. 4-5

    2/1/1997, lup. 22-23, 25

    3/1/1995, lup. 13

Olubereberye 1:28

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 9:1
  • +Lub 2:15
  • +Zb 8:4, 6

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2021, lup. 2

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 25

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 3 2019 lup. 6-7

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2018, lup. 19-20

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2016, lup. 9

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2004, lup. 3

    5/1/1999, lup. 7-9

    7/1/1992, lup. 3-4

    9/1/1990, lup. 8

    8/1/1990, lup. 11, 17

    Emirembe n’Obutebenkevu, lup. 96, 106

Olubereberye 1:29

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 9:3; Zb 104:14; Bik 14:17

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/1990, lup. 11

Olubereberye 1:30

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 147:9; Mat 6:26

Olubereberye 1:31

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 32:4; Zb 104:24; 1Ti 4:4

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Kwagala Kwa Katonda, lup. 172

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2008, lup. 14-15

    8/1/1990, lup. 11

Ebirala

Lub. 1:1Zb 102:25; Is 42:5; 45:18; Bar 1:20; Beb 1:10; Kub 4:11; 10:6
Lub. 1:2Nge 8:27, 28
Lub. 1:2Zb 33:6; Is 40:26
Lub. 1:2Zb 104:5, 6
Lub. 1:3Is 45:7; 2Ko 4:6
Lub. 1:5Lub 8:22
Lub. 1:6Lub 1:20
Lub. 1:62Pe 3:5
Lub. 1:7Lub 7:11; Nge 8:27, 28
Lub. 1:9Yob 38:8, 11; Zb 104:6-9; 136:6
Lub. 1:10Zb 95:5
Lub. 1:10Nge 8:29
Lub. 1:10Ma 32:4
Lub. 1:12Zb 104:14
Lub. 1:14Ma 4:19
Lub. 1:14Zb 104:19
Lub. 1:14Lub 8:22
Lub. 1:16Zb 136:7, 8
Lub. 1:16Zb 8:3; Yer 31:35
Lub. 1:18Zb 74:16
Lub. 1:20Lub 2:19
Lub. 1:22Nek 9:6; Zb 104:25
Lub. 1:24Lub 2:19
Lub. 1:26Nge 8:30; Yok 1:3; Bak 1:16
Lub. 1:261Ko 11:7
Lub. 1:26Lub 5:1; Yak 3:9
Lub. 1:26Lub 9:2
Lub. 1:27Zb 139:14; Mat 19:4; Mak 10:6; 1Ko 11:7, 9
Lub. 1:28Lub 9:1
Lub. 1:28Lub 2:15
Lub. 1:28Zb 8:4, 6
Lub. 1:29Lub 9:3; Zb 104:14; Bik 14:17
Lub. 1:30Zb 147:9; Mat 6:26
Lub. 1:31Ma 32:4; Zb 104:24; 1Ti 4:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 1:1-31

Olubereberye

1 Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.+

2 Ensi yali yeetabuddetabudde era nga njereere; ekizikiza kyali kikutte ku buziba*+ era ng’omwoyo*+ gwa Katonda gudda eno n’eri kungulu ku mazzi.+

3 Katonda n’agamba nti: “Wabeewo ekitangaala.” Ne wabaawo ekitangaala.+

4 Katonda n’alaba ng’ekitangaala kirungi, bw’atyo Katonda n’ayawula ekitangaala ku kizikiza. 5 Katonda ekitangaala n’akiyita Emisana, ate ekizikiza n’akiyita Ekiro.+ Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olusooka.

6 Katonda n’agamba nti: “Wabeewo ebbanga+ wakati w’amazzi, amazzi gaawulwemu ebitundu bibiri.”*+ 7 Katonda n’akola ebbanga, n’ayawula amazzi agali wansi w’ebbanga ku ago agali waggulu w’ebbanga.+ Ne kiba bwe kityo. 8 Ebbanga Katonda n’aliyita Eggulu. Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olw’okubiri.

9 Katonda n’agamba nti: “Amazzi agali wansi w’eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu era olukalu lulabike.”+ Ne kiba bwe kityo. 10 Katonda olukalu n’aluyita Ensi,+ ate amazzi agaakuŋŋaana awamu n’agayita Ennyanja.+ Katonda n’alaba nga kirungi.+ 11 Katonda n’agamba nti: “Ensi emereko omuddo, ebimera ebibala ensigo n’emiti egibala ebibala ebirimu ensigo okusinziira ku bika byabyo.” Ne kiba bwe kityo. 12 Ensi n’etandika okumerako omuddo, ebimera+ ebibala ensigo okusinziira ku bika byabyo, n’emiti egibala ebibala ebirimu ensigo okusinziira ku bika byagyo. Awo Katonda n’alaba nga kirungi. 13 Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olw’okusatu.

14 Katonda n’agamba nti: “Wabeewo ebyaka+ mu bbanga ery’eggulu byawule emisana n’ekiro;+ bijja kubeeranga bubonero obulaga ebiseera, n’ennaku n’emyaka.+ 15 Bijja kwakiranga mu bbanga ery’eggulu bimulise ensi.” Ne kiba bwe kityo. 16 Katonda n’akola ebyaka ebinene bibiri; ekisinga obunene kifugenga emisana+ ate ekitono kifugenga ekiro, era n’akola n’emmunyeenye.+ 17 Awo Katonda n’abiteeka mu bbanga ery’eggulu okumulisa ensi, 18 n’okufuganga emisana n’ekiro era n’okwawulanga ekitangaala n’ekizikiza.+ Awo Katonda n’alaba nga kirungi. 19 Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olw’okuna.

20 Katonda n’agamba nti: “Mu mazzi mujjule ebiramu, era n’ebibuuka bibuuke ku nsi mu bbanga ery’eggulu.”+ 21 Katonda n’atonda ensolo ennene ez’omu nnyanja n’ebiramu byonna ebiwuga era ebijjudde mu mazzi okusinziira ku bika byabyo, n’ebibuuka ebirina ebiwaawaatiro okusinziira ku bika byabyo. Katonda n’alaba nga kirungi. 22 Katonda n’abiwa omukisa ng’agamba nti: “Muzaale mwale mujjule mu mazzi ag’omu nnyanja,+ era n’ebibuuka byale mu nsi.” 23 Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olw’okutaano.

24 Katonda n’agamba nti: “Ensi ereete ebirina obulamu okusinziira ku bika byabyo: ensolo ez’awaka, ensolo ezeewalula,* n’ensolo ez’omu nsiko okusinziira ku bika+ byazo.” Ne kiba bwe kityo. 25 Katonda n’akola ensolo ez’omu nsiko okusinziira ku bika byazo, n’ensolo ez’awaka okusinziira ku bika byazo, n’ensolo zonna ezeewalula ku ttaka okusinziira ku bika byazo. Katonda n’alaba nga kirungi.

26 Katonda n’agamba nti: “Tukole+ omuntu mu kifaananyi+ kyaffe, ng’alinga ffe,+ bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebiramu ebibuuka mu bbanga, n’ensolo ez’awaka, n’ensi yonna, n’ensolo zonna ezeewalula ku nsi.”+ 27 Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye; yamutonda mu kifaananyi kya Katonda; yabatonda omusajja n’omukazi.+ 28 Katonda n’abawa omukisa, Katonda n’abagamba nti: “Muzaale mwale mujjuze ensi+ mubeere n’obuyinza ku yo,+ era mufugenga+ ebyennyanja n’ebiramu ebibuuka mu bbanga n’ensolo zonna eziri ku nsi.”

29 Katonda n’agamba nti: “Mbawadde ebimera byonna ebibala ensigo ebiri ku nsi yonna, na buli muti oguliko ebibala ebirimu ensigo, bibeerenga emmere yammwe.+ 30 Era buli nsolo ey’omu nsiko, na buli kiramu ekibuuka mu bbanga, na buli kintu ekitambula ku nsi ekirina obulamu, mbiwadde omuddo okuba emmere+ yaabyo.” Ne kiba bwe kityo.

31 Oluvannyuma lw’ebyo Katonda n’alaba nga byonna bye yali akoze birungi nnyo.+ Ne buwungeera era ne bukya. Olwo lwe lwali olunaku olw’omukaaga.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza