LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Asa akola endagaano ne Busuuli (1-6)

      • Kanani anenya Asa (7-10)

      • Asa afa (11-14)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:1

Footnotes

  • *

    Oba, “okunyweza; okuddamu okuzimba.”

  • *

    Oba, “okuva mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda oba okukiyingira.”

Marginal References

  • +1Sk 15:25, 27
  • +Yos 18:21, 25
  • +1Sk 15:17-19

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2012, lup. 10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:2

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri lwa.”

Marginal References

  • +1Sk 7:51
  • +1Sk 20:1; 2Sk 12:18; 16:8

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:4

Marginal References

  • +2Sk 15:29
  • +Bal 18:29
  • +1Sk 15:20-22

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:5

Footnotes

  • *

    Oba, “okunyweza; okuddamu okuzimba.”

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:6

Footnotes

  • *

    Oba, “n’abikozesa okunyweza; n’abikozesa okuddamu okuzimba.”

Marginal References

  • +Yos 18:21, 25
  • +1Sk 15:17
  • +Yos 18:21, 24; 1By 6:60, 64
  • +Yos 18:21, 26; Bal 20:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:7

Footnotes

  • *

    Obut., “weesigamye ku.”

  • *

    Obut., “n’oteesigama ku.”

Marginal References

  • +1Sk 16:1; 2By 19:2; 20:34
  • +Yer 17:5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:8

Marginal References

  • +2By 14:9, 11; Zb 37:39, 40

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:9

Footnotes

  • *

    Oba, “ogumwemaliddeko.”

Marginal References

  • +Zek 4:10
  • +1Pe 3:12
  • +1Sk 15:32

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 43-44

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2002, lup. 14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:10

Footnotes

  • *

    Obut., “nnyumba y’envuba.”

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:11

Marginal References

  • +1Sk 15:23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2009, lup. 32

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2012, lup. 10

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:13

Marginal References

  • +1Sk 15:24

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:14

Footnotes

  • *

    Kirabika tebaayokya mulambo gwa Asa, wabula baayokya bya kaloosa.

Marginal References

  • +2Sa 5:7
  • +Mak 16:1; Luk 23:55, 56; Yok 19:40

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2006, lup. 15

General

2 Byom. 16:11Sk 15:25, 27
2 Byom. 16:1Yos 18:21, 25
2 Byom. 16:11Sk 15:17-19
2 Byom. 16:21Sk 7:51
2 Byom. 16:21Sk 20:1; 2Sk 12:18; 16:8
2 Byom. 16:42Sk 15:29
2 Byom. 16:4Bal 18:29
2 Byom. 16:41Sk 15:20-22
2 Byom. 16:6Yos 18:21, 25
2 Byom. 16:61Sk 15:17
2 Byom. 16:6Yos 18:21, 24; 1By 6:60, 64
2 Byom. 16:6Yos 18:21, 26; Bal 20:1
2 Byom. 16:71Sk 16:1; 2By 19:2; 20:34
2 Byom. 16:7Yer 17:5
2 Byom. 16:82By 14:9, 11; Zb 37:39, 40
2 Byom. 16:9Zek 4:10
2 Byom. 16:91Pe 3:12
2 Byom. 16:91Sk 15:32
2 Byom. 16:111Sk 15:23
2 Byom. 16:131Sk 15:24
2 Byom. 16:142Sa 5:7
2 Byom. 16:14Mak 16:1; Luk 23:55, 56; Yok 19:40
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:1-14

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

16 Mu mwaka ogw’asatu mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa, Baasa+ kabaka wa Isirayiri yalumba Yuda n’atandika okuzimba* Laama+ aziyize omuntu yenna okuva eri Kabaka Asa owa Yuda+ oba okugenda gy’ali.* 2 Awo Asa n’aggya ffeeza ne zzaabu mu mawanika g’omu nnyumba ya Yakuwa+ n’ag’omu nnyumba ya* kabaka n’abiweereza Beni-kadadi kabaka wa Busuuli+ eyali abeera mu Ddamasiko, ng’agamba nti: 3 “Waliwo endagaano wakati wange naawe ne wakati wa kitange ne kitaawo. Nkuweerezza ffeeza ne zzaabu. Genda omenye endagaano eri wakati wo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”

4 Beni-kadadi n’awuliriza Kabaka Asa, n’atuma abakulu b’amagye ge okulumba ebibuga bya Isirayiri; ne balwanyisa Yiyoni+ ne Ddaani+ ne Aberu-mayimu n’amaterekero gonna ag’omu bibuga bya Nafutaali.+ 5 Baasa olwakiwulira n’alekera awo okuzimba* Laama, n’ayimiriza omulimu. 6 Awo Kabaka Asa n’atwala Yuda yonna ne baggyayo amayinja n’embaawo ebyali e Laama+ Baasa bye yali azimbisa,+ n’abizimbisa* Geba+ ne Mizupa.+

7 Awo Kanani+ omulabi n’ajja eri kabaka Asa owa Yuda n’amugamba nti: “Olw’okuba weesize* kabaka wa Busuuli n’oteesiga* Yakuwa Katonda wo, eggye lya kabaka wa Busuuli lisimattuse mu mukono gwo.+ 8 Abeesiyopiya n’Abalibiya tebaali ggye ddene nnyo nga balina amagaali mangi n’abeebagazi b’embalaasi bangi? Naye olw’okuba weesiga Yakuwa, yabawaayo mu mukono gwo.+ 9 Amaaso ga Yakuwa gatambulatambula mu nsi yonna+ okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.*+ Kino ky’okoze kya busirusiru, era okuva kati ojja kubeeranga n’entalo.”+

10 Kyokka Asa n’anyiigira omulabi n’amuteeka mu kkomera,* kubanga yamusunguwalira olw’ekyo kye yamugamba. Era mu kiseera ekyo Asa n’atandika okuyisa obubi abamu ku bantu. 11 Ebyafaayo bya Asa, okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yuda n’aba Isirayiri.+

12 Mu mwaka ogw’asatu mu omwenda ogw’obufuzi bwe, Asa yalwala ebigere era obulwadde bwe ne bweyongerera ddala; kyokka ne mu bulwadde bwe teyanoonya Yakuwa wabula yanoonya bavumuzi. 13 Oluvannyuma Asa yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe;+ yafa mu mwaka ogw’ana mu ogumu ogw’obufuzi bwe. 14 Ne bamuziika mu ntaana ey’ekitiibwa gye yeekolera mu Kibuga kya Dawudi.+ Ne bamugalamiza ku kitanda kye baali bajjuzza amafuta ga basamu n’amafuta amalala ag’enjawulo agaali gatabuddwa obulungi.+ Ate era baakuma omuliro ogw’amaanyi okulaga nti bamuwa ekitiibwa.*

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share