LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubikkulirwa 21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Eggulu eriggya n’ensi empya (1-8)

        • Tewalibaawo kufa (4)

        • Ebintu byonna bizziddwa buggya (5)

      • Endabika ya Yerusaalemi ekiggya (9-27)

Okubikkulirwa 21:1

Marginal References

  • +Is 65:17; 66:22; 2Pe 3:13
  • +2Pe 3:10; Kub 20:11
  • +Is 57:20

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    12/2019, lup. 6

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2000, lup. 12

Okubikkulirwa 21:2

Marginal References

  • +Kub 3:12
  • +Kub 19:7

Indexes

  • Research Guide

    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu, ekitundu 145

    Okusinza Okulongoofu, lup. 225

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2010, lup. 4-5

Okubikkulirwa 21:3

Marginal References

  • +Ezk 37:27

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 26

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/15/2013, lup. 23

Okubikkulirwa 21:4

Marginal References

  • +Kub 7:17
  • +Is 25:8; 1Ko 15:26
  • +Is 35:10; 65:19

Indexes

  • Research Guide

    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, essomo 2

    Zuukuka!,

    Na. 1 2021 lup. 13

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2013, lup. 11

    9/15/2012, lup. 10

    10/1/2012, lup. 22

    1/15/2012, lup. 30

    5/1/2000, lup. 12-13

Okubikkulirwa 21:5

Marginal References

  • +Kub 4:2, 3
  • +2Pe 3:13

Indexes

  • Research Guide

    Obulamu bw’Ekikristaayo Akatabo k’Enkuŋŋaana,

    12/2019, lup. 6

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 81-86

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/2000, lup. 14

Okubikkulirwa 21:6

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Kub 1:8.

Marginal References

  • +Kub 1:8; 22:13
  • +Zb 36:9; Is 55:1; Kub 7:17; 22:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    10/2016, lup. 22

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2012

Okubikkulirwa 21:8

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Is 30:33.

Marginal References

  • +1Yo 5:10
  • +1Yo 3:15
  • +Bef 5:5
  • +Yok 8:44
  • +Kub 19:20
  • +Nge 10:7; Beb 10:26, 27; Kub 2:11; 20:6

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2024

Okubikkulirwa 21:9

Marginal References

  • +Kub 15:1
  • +Kub 19:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    3/1/2007, lup. 10

Okubikkulirwa 21:10

Marginal References

  • +Beb 12:22; Kub 3:12; 21:2

Okubikkulirwa 21:11

Marginal References

  • +Is 60:1, 2
  • +Kuv 24:9, 10

Okubikkulirwa 21:12

Indexes

  • Research Guide

    Okusinza Okulongoofu, lup. 225

Okubikkulirwa 21:13

Marginal References

  • +Kub 22:14

Okubikkulirwa 21:14

Marginal References

  • +Mat 10:2-4; Luk 6:13-16; Bik 1:13

Okubikkulirwa 21:15

Marginal References

  • +Ezk 40:3, 5

Okubikkulirwa 21:16

Footnotes

  • *

    Kilomita nga 2,220 (mayiro 1,379). Sitadiya yali yenkana mita 185 (ffuuti 606.95). Laba Ebyong. B14.

Okubikkulirwa 21:17

Footnotes

  • *

    Mita nga 64 (ffuuti 210). Laba Ebyong. B14.

Okubikkulirwa 21:18

Marginal References

  • +Kub 4:3; 21:10, 11

Okubikkulirwa 21:22

Footnotes

  • *

    Laba Ebyong. A5.

Marginal References

  • +Kuv 6:3

Okubikkulirwa 21:23

Marginal References

  • +Is 60:19, 20; Kub 22:5
  • +Yok 1:9; Bik 26:13, 15; Beb 1:3

Okubikkulirwa 21:24

Marginal References

  • +Is 60:3

Okubikkulirwa 21:25

Marginal References

  • +Is 60:11, 20

Okubikkulirwa 21:26

Marginal References

  • +Is 60:5

Okubikkulirwa 21:27

Marginal References

  • +Zb 5:6; Is 52:1; 1Ko 6:9, 10; Bag 5:19-21; Kub 21:8
  • +Dan 12:1; Baf 4:3; Kub 13:8

General

Kub. 21:1Is 65:17; 66:22; 2Pe 3:13
Kub. 21:12Pe 3:10; Kub 20:11
Kub. 21:1Is 57:20
Kub. 21:2Kub 3:12
Kub. 21:2Kub 19:7
Kub. 21:3Ezk 37:27
Kub. 21:4Kub 7:17
Kub. 21:4Is 25:8; 1Ko 15:26
Kub. 21:4Is 35:10; 65:19
Kub. 21:5Kub 4:2, 3
Kub. 21:52Pe 3:13
Kub. 21:6Kub 1:8; 22:13
Kub. 21:6Zb 36:9; Is 55:1; Kub 7:17; 22:1
Kub. 21:81Yo 5:10
Kub. 21:81Yo 3:15
Kub. 21:8Bef 5:5
Kub. 21:8Yok 8:44
Kub. 21:8Kub 19:20
Kub. 21:8Nge 10:7; Beb 10:26, 27; Kub 2:11; 20:6
Kub. 21:9Kub 15:1
Kub. 21:9Kub 19:7
Kub. 21:10Beb 12:22; Kub 3:12; 21:2
Kub. 21:11Is 60:1, 2
Kub. 21:11Kuv 24:9, 10
Kub. 21:13Kub 22:14
Kub. 21:14Mat 10:2-4; Luk 6:13-16; Bik 1:13
Kub. 21:15Ezk 40:3, 5
Kub. 21:18Kub 4:3; 21:10, 11
Kub. 21:22Kuv 6:3
Kub. 21:23Is 60:19, 20; Kub 22:5
Kub. 21:23Yok 1:9; Bik 26:13, 15; Beb 1:3
Kub. 21:24Is 60:3
Kub. 21:25Is 60:11, 20
Kub. 21:26Is 60:5
Kub. 21:27Zb 5:6; Is 52:1; 1Ko 6:9, 10; Bag 5:19-21; Kub 21:8
Kub. 21:27Dan 12:1; Baf 4:3; Kub 13:8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubikkulirwa 21:1-27

Okubikkulirwa

21 Ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya;+ kubanga eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo,+ era n’ennyanja+ nga tekyaliwo. 2 Era ne ndaba ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi Ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda+ nga kitegekeddwa ng’omugole alungiyiziddwa olwa bba.+ 3 Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti: “Laba! Weema ya Katonda eri wamu n’abantu; anaabeeranga wamu nabo, era banaabeeranga bantu be. Katonda kennyini anaabeeranga wamu nabo.+ 4 Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe+ era okufa tekulibaawo nate,+ newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.+ Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”

5 Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka+ n’agamba nti: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya.”+ Era n’agamba nti: “Wandiika, kubanga ebigambo bino byesigika era bya mazima.” 6 N’aŋŋamba nti: “Bituukiridde! Nze Alufa era nze Omega,* olubereberye era enkomerero.+ Oyo alumwa ennyonta ndimuwa amazzi agava mu nsulo ez’amazzi ag’obulamu ku bwereere.+ 7 Oyo awangula alisikira ebintu bino, era ndiba Katonda we, naye aliba mwana wange. 8 Naye abatiitiizi, n’abatalina kukkiriza,+ n’abatali balongoofu era aboonoonefu ennyo, n’abatemu,+ n’abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu,*+ n’abeenyigira mu by’obusamize, n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna,+ omugabo gwabwe guliba mu nnyanja eyaka omuliro n’obuganga.*+ Kino kitegeeza okufa okw’okubiri.”+

9 Omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu ebyali bijjudde ebibonyoobonyo omusanvu+ ebisembayo, n’ajja n’aŋŋamba nti: “Jjangu nkulage omugole, mukazi w’Omwana gw’Endiga.”+ 10 N’antwala ku lusozi olunene era oluwanvu ng’akozesa amaanyi g’omwoyo, n’andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda+ 11 nga kirina ekitiibwa kya Katonda.+ Okumasamasa kwakyo kwalinga okw’ejjinja erisingayo okuba ery’omuwendo, kwalinga ejjinja eriyitibwa yasepi eritemagana.+ 12 Kyalina bbugwe omunene era omuwanvu ng’aliko emiryango 12, era ku miryango egyo kwaliko bamalayika 12, era nga giwandiikiddwako amannya ag’ebika 12 eby’abaana ba Isirayiri. 13 Ebuvanjuba waaliyo emiryango esatu, mu bukiikakkono waaliyo emiryango esatu, mu bukiikaddyo waaliyo emiryango esatu, n’ebugwanjuba waaliyo emiryango esatu.+ 14 Bbugwe w’ekibuga era yaliko amayinja g’omusingi 12, nga gawandiikiddwako amannya 12 ag’abatume+ 12 ab’Omwana gw’Endiga.

15 Eyali ayogera nange yali akutte olumuli olwa zzaabu olw’okupimisa, asobole okupima ekibuga n’emiryango gyakyo, ne bbugwe waakyo.+ 16 Enjuyi z’ekibuga ennya zaali zenkanankana, era obuwanvu bwakyo bwali bwenkanankana n’obugazi bwakyo. N’apima ekibuga ng’akozesa olumuli, nga kiweza sitadiya 12,000;* obuwanvu bwakyo, obugazi bwakyo, n’obugulumivu bwakyo byali byenkanankana. 17 Era yapima ne bbugwe waakyo ng’aweza emikono 144* okusinziira ku kipimo ky’omuntu, ate era nga kye kipimo kya malayika. 18 Bbugwe waakyo yazimbibwa na mayinja ga yasepi,+ era ekibuga kyali kya zzaabu omulongoofu alinga endabirwamu etangaala. 19 Emisingi gy’ekibuga gyali giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo: omusingi ogusooka gwali gwa yasepi, ogw’okubiri gwa safiro, ogw’okusatu gwa kalukedoni, ogw’okuna gwa zumaliidi, 20 ogw’okutaano gwa sadonikisi, ogw’omukaaga gwa sadiyo, ogw’omusanvu gwa kirisoliti, ogw’omunaana gwa berulo, ogw’omwenda gwa topazi, ogw’ekkumi gwa kirisoperaso, ogw’ekkumi n’ogumu gwa kuwakinso, ogw’ekkumi n’ebbiri gwa amesusito. 21 Era emiryango 12 gyali luulu 12; buli gumu gwali gwakolebwa mu luulu emu. Oluguudo olunene olw’ekibuga lwali lwa zzaabu omulongoofu, ng’alinga endabirwamu etangaala.

22 Era saakirabamu yeekaalu, kubanga Yakuwa* Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna+ n’Omwana gw’Endiga ye yeekaalu yaakyo. 23 Era ekibuga kyali tekyetaaga njuba na mwezi kukimulisa, kubanga ekitiibwa kya Katonda kyali kikimulisa,+ era Omwana gw’Endiga ye yali ettaala yaakyo.+ 24 Amawanga galitambulira mu kitangaala kyakyo,+ ne bakabaka b’ensi balireeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25 Emiryango gyakyo tegiriggalwa emisana lyonna, kubanga tewalibeerayo budde bwa kiro.+ 26 Era balikireetamu ekitiibwa ky’amawanga n’ettendo lyago.+ 27 Tekiriyingiramu kintu kyonna kitali kirongoofu wadde omuntu yenna akola ebyenyinyaza era alimba;+ abo bokka abaawandiikibwa mu muzingo ogw’obulamu ogw’Omwana gw’Endiga be balikiyingiramu.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share