LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Kaabakuuku 2
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • “Nja kutunula ndabe ky’anaayogera” (1)

      • Yakuwa addamu nnabbi (2-20)

        • ‘Lindirira okwolesebwa’ (3)

        • Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa bwesigwa (4)

        • Ebintu ebibi bitaano ebinaatuuka ku Bakaludaaya (6-20)

          • Ensi erijjula okumanya okukwata ku Yakuwa (14)

Kaabakuuku 2:1

Marginal References

  • +Is 21:8; Mi 7:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2018, lup. 15-16

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 10

    2/1/2000, lup. 18, 20

Kaabakuuku 2:2

Footnotes

  • *

    Oba, “okubisoma obulungi.”

Marginal References

  • +Kuv 17:14
  • +Ma 31:9, 11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2018, lup. 13-14

Kaabakuuku 2:3

Footnotes

  • *

    Oba, “ku kutuukirizibwa kwakwo.”

  • *

    Oba, “ne bwe kunaalabika ng’okuludde, kulindirire.”

Marginal References

  • +Mi 7:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2018, lup. 16

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/15/2015, lup. 16-17

    1/1/2007, lup. 10-11

    2/1/2000, lup. 20

    2/1/2000, lup. 4

    12/1/1988, lup. 14

    1/1/1997, lup. 22-23

Kaabakuuku 2:4

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “lwa kukkiriza kwe.”

Marginal References

  • +Yok 3:36; Bar 1:17; Bag 3:11; Beb 10:38

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2018, lup. 16-17

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 21

    1/1/2000, lup. 12-13

Kaabakuuku 2:5

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Is 14:16, 17

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 10

    2/1/2000, lup. 21

Kaabakuuku 2:6

Marginal References

  • +Is 14:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 22

Kaabakuuku 2:7

Marginal References

  • +Yer 51:11

Kaabakuuku 2:8

Marginal References

  • +Is 13:19; Yer 27:6, 7; Zek 2:7-9
  • +2By 36:17; Zb 137:8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 22

Kaabakuuku 2:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 22

Kaabakuuku 2:10

Marginal References

  • +Is 14:20

Kaabakuuku 2:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 10

    2/1/2000, lup. 22

Kaabakuuku 2:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 22-23

Kaabakuuku 2:13

Marginal References

  • +Yer 51:58

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 23

Kaabakuuku 2:14

Marginal References

  • +Zb 72:19; Is 11:9; Zek 14:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    11/2018, lup. 16-17

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 23

Kaabakuuku 2:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 23-24

Kaabakuuku 2:16

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “n’otagala.”

Marginal References

  • +Zb 75:8; Is 51:22, 23; Yer 25:28; 51:57

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 23-24

Kaabakuuku 2:17

Marginal References

  • +Zb 137:8; Yer 50:28; 51:24

Kaabakuuku 2:18

Footnotes

  • *

    Oba, “ekisaanuuse.”

Marginal References

  • +Is 42:17; 44:19, 20; 45:20

Kaabakuuku 2:19

Marginal References

  • +Is 40:19; 46:6
  • +Yer 51:17

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 24

Kaabakuuku 2:20

Marginal References

  • +Is 6:1
  • +Zb 76:8; 115:3; Zek 2:13

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2000, lup. 24-25

General

Kaab. 2:1Is 21:8; Mi 7:7
Kaab. 2:2Kuv 17:14
Kaab. 2:2Ma 31:9, 11
Kaab. 2:3Mi 7:7
Kaab. 2:4Yok 3:36; Bar 1:17; Bag 3:11; Beb 10:38
Kaab. 2:5Is 14:16, 17
Kaab. 2:6Is 14:4
Kaab. 2:7Yer 51:11
Kaab. 2:8Is 13:19; Yer 27:6, 7; Zek 2:7-9
Kaab. 2:82By 36:17; Zb 137:8
Kaab. 2:10Is 14:20
Kaab. 2:13Yer 51:58
Kaab. 2:14Zb 72:19; Is 11:9; Zek 14:9
Kaab. 2:16Zb 75:8; Is 51:22, 23; Yer 25:28; 51:57
Kaab. 2:17Zb 137:8; Yer 50:28; 51:24
Kaab. 2:18Is 42:17; 44:19, 20; 45:20
Kaab. 2:19Is 40:19; 46:6
Kaab. 2:19Yer 51:17
Kaab. 2:20Is 6:1
Kaab. 2:20Zb 76:8; 115:3; Zek 2:13
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Kaabakuuku 2:1-20

Kaabakuuku

2 Nja kuyimirira we nkuumira,+

Era nja kuyimirira ku kigo.

Nja kutunula ndabe ky’anaayogera ng’ayitira mu nze,

Era ne kye nnaddamu nga nnenyezebwa.

 2 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti:

“Wandiika by’olaba mu kwolesebwa, era biwandiike bulungi ku bipande,+

Oyo abisoma mu ddoboozi ery’omwanguka asobole okwanguyirwa okubisoma.*+

 3 Kubanga okwolesebwa okwo kwa mu kiseera kyakwo ekigereke,

Era kwanguwa kutuuke ku nkomerero yaakwo;* era tekujja kulimba.

Ne bwe kunaalwa, kulindirire!*+

Kubanga kujja kutuukirira.

Tekujja kulwa!

 4 Laba omuntu ow’amalala;

Munda mu ye si mugolokofu.

Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa bwesigwa bwe.*+

 5 Olw’okuba omwenge mukuusa,

Omuntu ow’amalala tajja kutuuka ku kiruubirirwa kye.

Agaziyizza okwegomba kwe okukirako amagombe;*

Alinga okufa, era tasobola kumatira.

Akuŋŋaanya amawanga gonna

Era yeekuŋŋaanyiza abantu bonna.+

 6 Abo bonna tebalimwogerako nga bagereesa, nga bamuyita ebbali, era nga bakozesa ebikokyo?+

Baligamba nti:

‘Zimusanze oyo akuŋŋaanya ebitali bibye

—Anaakikolera bbanga ki?—

Oyo ayongera ku bunene bw’ebbanja lye!

 7 Abo abakubanja tebalisituka omulundi gumu?

Balisituka ne bakuyuuguumya,

Era gye bali olifuuka kya kunyaga.+

 8 Olw’okuba wanyaga amawanga mangi,

Abantu b’amawanga ago bonna abaasigalawo balikunyaga,+

Kubanga wayiwa omusaayi gw’abantu

Era n’okola eby’obukambwe ku nsi,

Ne ku bibuga, ne ku abo bonna ababibeeramu.+

 9 Zimusanze oyo afunira ennyumba ye ebintu mu makubo amakyamu,

Asobole okuzimba ekisu kye waggulu,

Awone akabi!

10 Oteeserezza ennyumba yo ekintu ekiswaza.

Mu kusaanyaawo amawanga mangi, oyonoonye.+

11 Ejjinja lirikoowoolera ku kisenge,

Era omuti ogw’oku kasolya guliryanukula.

12 Zimusanze oyo azimba ekibuga ng’ayiwa omusaayi,

Era anyweza ekibuga ng’akola ebitali bya butuukirivu!

13 Laba! Yakuwa ow’eggye si y’aleetera amawanga okutegana ennyo nga bakola ebintu ebijja okwokebwa omuliro,

Era si y’aleetera amawanga okuteganira obwereere?+

14 Ensi erijjula okumanya okukwata ku kitiibwa kya Yakuwa

Ng’amazzi bwe gajjula ennyanja.+

15 Zimusanze oyo awa banne eky’okunywa

Ng’akitaddemu obusungu n’ekiruyi asobole okubatamiiza,

Atunuulire obwereere bwabwe!

16 Mu kifo ky’okubeera n’ekitiibwa, oliweebuulwa nnyo nnyini ddala.

Naawe olinywa n’oyolesa obutali bukomole bwo.*

Ekikopo ekiri mu mukono gwa Yakuwa ogwa ddyo naawe kirikutuukako,+

Era obuswavu bulibikka ku kitiibwa kyo;

17 Ebikolwa eby’obukambwe ebyakolebwa ku Lebanooni birikubikka,

Era okuzikiriza okwatiisanga ensolo kulikutuukako,

Olw’okuyiwa omusaayi gw’abantu,

N’olw’ebikolwa eby’obukambwe bye wakola ku nsi,

Ku bibuga, ne ku abo bonna ababibeeramu.+

18 Ekifaananyi kiba na mugaso ki

Ng’omukozi waakyo akikoze?

Ekifaananyi eky’ekyuma* kigasa ki, era n’oyo ayigiriza eby’obulimba agasa ki,

Wadde ng’omukozi waakyo akyesiga,

N’akola bakatonda abatalina mugaso era abatayogera?+

19 Zimusanze oyo agamba ekiti nti, “Golokoka!”

Oba agamba ejjinja eritayogera nti, “Zuukuka! Tuyigirize!”

Laba! Kibikkiddwako zzaabu ne ffeeza,+

Era tekiriimu mukka gwa bulamu.+

20 Naye Yakuwa ali mu yeekaalu ye entukuvu.+

Ggwe ensi yonna, sirika mu maaso ge!’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share