2 Bassekabaka
11 Asaliya+ nnyina Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde,+ n’atta abaana bonna ab’olulyo olulangira.+ 2 Naye Yekoseba muwala wa Kabaka Yekolaamu, era mwannyina Akaziya, yaggya Yekowaasi+ mutabani wa Akaziya mu baana ba kabaka abaali bagenda okuttibwa n’amutwala mu bubba, ye n’omulezi we n’abateeka mu kisenge ekisulwamu. Baamukweka Asaliya era bw’atyo n’atattibwa. 3 Yekowaasi yabeera naye okumala emyaka mukaaga, ng’akwekeddwa mu nnyumba ya Yakuwa, nga Asaliya afuga eggwanga.
4 Mu mwaka ogw’omusanvu, Yekoyaada yatumya abakulu abaakuliranga ebikumi by’abakuumi abaayitibwanga Abakkali n’eby’abakuumi b’omu lubiri,+ ne bagenda gye yali mu nnyumba ya Yakuwa. Yakola nabo endagaano n’abalayiriza mu nnyumba ya Yakuwa okukuuma endagaano eyo, oluvannyuma n’abalaga omwana wa kabaka.+ 5 Yabalagira nti: “Kino kye mujja okukola: Kimu kya kusatu ku mmwe mujja kukola ku Ssabbiiti era mujja kukuuma ennyumba ya* kabaka,+ 6 kimu kya kusatu ekirala bajja kubeera ku Mulyango gw’Omusingi, ate kimu kya kusatu ekirala bajja kubeera ku mulyango emabega w’abakuumi b’omu lubiri. Mujja kukuumanga ennyumba ya kabaka mu mpalo. 7 Ab’ebibinja byammwe ebibiri abanaaba nga si be balina okukuuma ku Ssabbiiti, bajja kukuuma ennyumba ya Yakuwa bakuume kabaka. 8 Mujja kwetooloola kabaka nga buli omu akutte eby’okulwanyisa bye. Omuntu yenna anaayingira mu nnyiriri zammwe ajja kuttibwa. Mubeere ne kabaka buli w’anaagenda.”*
9 Abakulu abaakuliranga ebikumi+ baakolera ddala nga Yekoyaada kabona bwe yabalagira. Buli omu ku bo yatwala abasajja be abaalina okukola ku Ssabbiiti n’abo abataali ba kukola ku Ssabbiiti, ne bagenda eri Yekoyaada kabona.+ 10 Kabona n’awa abakulu abaakuliranga enkumi amafumu n’engabo enneetooloovu ebyali ebya Kabaka Dawudi ebyali mu nnyumba ya Yakuwa. 11 Awo abakuumi b’omu lubiri+ ne bayimirira nga beetoolodde kabaka nga buli omu akutte eby’okulwanyisa bye. Baali bayimiridde okuva ku luuyi olwa ddyo olw’ennyumba okutuuka ku luuyi olwa kkono, okuliraana ekyoto+ n’ennyumba. 12 Awo Yekoyaada n’afulumya omwana wa kabaka,+ n’assa ku mutwe gwe engule n’omuzingo gw’Amateeka ga Katonda,*+ ne bamufukako amafuta ne bamufuula kabaka. Ne bakuba mu ngalo nga bwe bagamba nti: “Kabaka awangaale!”+
13 Asaliya bwe yawulira abantu abadduka, amangu ago n’agenda eri abantu ku nnyumba ya Yakuwa.+ 14 Bwe yalaba kabaka ng’ayimiridde okumpi n’empagi ng’empisa bwe yali,+ era ng’abaami n’abafuuyi b’amakondeere+ bali ne kabaka, era nga ne bannansi bonna bajaganya era nga bafuuwa amakondeere, Asaliya n’ayuza ebyambalo bye n’agamba nti: “Luno lukwe! Luno lukwe!” 15 Naye Yekoyaada kabona n’alagira abakulu b’ebikumi,+ abo abaalondebwa okukulira amagye, n’abagamba nti: “Mumuggye mu nnyiriri, era omuntu yenna amugoberera attibwe n’ekitala!” Kubanga kabona yali agambye nti: “Temumuttira mu nnyumba ya Yakuwa.” 16 Awo ne bakwata Asaliya, era bwe baatuuka embalaasi we ziyingirira mu nnyumba* ya kabaka,+ ne bamuttira awo.
17 Yekoyaada n’akola endagaano wakati wa Yakuwa ne kabaka n’abantu,+ beeyongere okuba abantu ba Yakuwa, era n’akola n’endagaano endala wakati wa kabaka n’abantu.+ 18 Oluvannyuma, bannansi bonna baagenda awaali ennyumba* ya Bbaali ne bamenyaamenya ebyoto bye+ era ne basaanyizaawo ddala ebifaananyi bye,+ era ne Matani kabona wa Bbaali+ ne bamuttira mu maaso g’ebyoto.
Awo Kabona n’assaawo ab’okulabirira ennyumba ya Yakuwa.+ 19 Ate era yakuŋŋaanya abakulu abaakuliranga ebikumi,+ abakuumi abaayitibwanga Abakkali, abakuumi b’omu lubiri,+ ne bannansi bonna okuwerekera kabaka okuva mu nnyumba ya Yakuwa ne bagenda mu nnyumba* ya kabaka nga bayitira mu mulyango gw’abakuumi b’omu lubiri. Awo kabaka n’atuula ku ntebe ya bakabaka.+ 20 Bannansi bonna ne bajaganya, era ekibuga kyali kisirifu olw’okuba Asaliya yali attiddwa n’ekitala okumpi n’ennyumba ya kabaka.