LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 9
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Dawudi alaga Mefibosesi okwagala okutajjulukuka (1-13)

2 Samwiri 9:1

Marginal References

  • +1Sa 18:1, 3; 20:15, 42

2 Samwiri 9:2

Marginal References

  • +2Sa 16:1; 19:17

2 Samwiri 9:3

Marginal References

  • +2Sa 4:4; 9:13; 19:26

2 Samwiri 9:4

Marginal References

  • +2Sa 17:27-29

2 Samwiri 9:7

Footnotes

  • *

    Obut., “ojja kulyanga omugaati.”

Marginal References

  • +Nge 11:17
  • +2Sa 19:28; Nge 11:25

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    6/1/2002, lup. 16

2 Samwiri 9:8

Marginal References

  • +1Sa 24:14

2 Samwiri 9:9

Marginal References

  • +2Sa 9:1; 16:4; 19:29

2 Samwiri 9:10

Marginal References

  • +2Sa 19:28
  • +2Sa 19:17

2 Samwiri 9:11

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “mmeeza yange.”

2 Samwiri 9:12

Marginal References

  • +1By 8:34; 9:40

2 Samwiri 9:13

Marginal References

  • +2Sa 9:7; 19:28
  • +2Sa 4:4

General

2 Sam. 9:11Sa 18:1, 3; 20:15, 42
2 Sam. 9:22Sa 16:1; 19:17
2 Sam. 9:32Sa 4:4; 9:13; 19:26
2 Sam. 9:42Sa 17:27-29
2 Sam. 9:7Nge 11:17
2 Sam. 9:72Sa 19:28; Nge 11:25
2 Sam. 9:81Sa 24:14
2 Sam. 9:92Sa 9:1; 16:4; 19:29
2 Sam. 9:102Sa 19:28
2 Sam. 9:102Sa 19:17
2 Sam. 9:121By 8:34; 9:40
2 Sam. 9:132Sa 9:7; 19:28
2 Sam. 9:132Sa 4:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Samwiri 9:1-13

2 Samwiri

9 Awo Dawudi n’agamba nti: “Waliwo omuntu yenna eyasigalawo ku b’omu nnyumba ya Sawulo, mmulage okwagala okutajjulukuka ku lwa Yonasaani?”+ 2 Waaliwo omuweereza w’ab’ennyumba ya Sawulo eyali ayitibwa Ziba.+ Awo ne bamuyita n’agenda eri Dawudi, Dawudi n’amubuuza nti: “Ggwe Ziba?” N’addamu nti: “Ye nze omuweereza wo.” 3 Kabaka era n’amubuuza nti: “Waliwo omuntu yenna eyasigalawo ku b’omu nnyumba ya Sawulo, mmulage okwagala kwa Katonda okutajjulukuka?” Ziba n’addamu kabaka nti: “Wakyaliwo mutabani wa Yonasaani eyalemala ebigere byombi.”+ 4 Kabaka n’amubuuza nti: “Ali ludda wa?” Ziba n’addamu Kabaka nti: “Ali Lo-debali mu nnyumba ya Makiri+ mutabani wa Ammiyeri.”

5 Amangu ago Kabaka Dawudi n’amutumya n’amuggya e Lo-debali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri. 6 Mefibosesi mutabani wa Yonasaani bwe yatuuka eri Dawudi, n’avunnama era ne yeeyala wansi. Dawudi n’amugamba nti: “Mefibosesi!” Mefibosesi n’addamu nti: “Nzuuno omuweereza wo.” 7 Dawudi n’amugamba nti: “Totya, kubanga nja kukulaga okwagala okutajjulukuka+ ku lwa Yonasaani kitaawo; nja kukuddiza ettaka lyonna erya jjajjaawo Sawulo, era ojja kuliiranga* ku mmeeza yange.”+

8 Awo Mefibosesi n’avunnama n’agamba nti: “Nze ani omuweereza wo? Nze ani gw’olowoozezzaako, nze alinga embwa enfu?”+ 9 Kabaka n’atumya Ziba, omuweereza wa Sawulo, n’amugamba nti: “Ebintu byonna ebyali ebya Sawulo n’ennyumba ye yonna mbiwadde muzzukulu wa mukama wo.+ 10 Ggwe n’abaana bo n’abaweereza bo mujja kumulimiranga, era emmere gye munaakungulanga mujja kugiwanga abantu ba muzzukulu wa mukama wo. Naye Mefibosesi, muzzukulu wa mukama wo, ajja kuliiranga ku mmeeza yange.”+

Ziba yalina abaana ab’obulenzi 15 n’abaweereza 20.+ 11 Ziba n’agamba kabaka nti: “Omuweereza wo ajja kukola byonna mukama wange kabaka by’amulagidde.” Bw’atyo Mefibosesi n’aliiranga ku mmeeza ya Dawudi* ng’omu ku baana ba kabaka. 12 Mefibosesi naye yalina mutabani we omuto eyali ayitibwa Mikka,+ era abo bonna abaali babeera mu nnyumba ya Ziba baali baweereza ba Mefibosesi. 13 Mefibosesi yabeeranga mu Yerusaalemi, kubanga yaliiranga ku mmeeza ya kabaka,+ era yali yalemala ebigere byombi.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share