1 Abassessalonika
1 Nze Pawulo, nga ndi wamu ne Siruvano,*+ ne Timoseewo,+ mpandiikira ekibiina ky’e Ssessalonika ekiri obumu ne Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo:
Ekisa eky’ensusso n’emirembe bibeere nammwe.
2 Bulijjo twebaza Katonda nga tuboogerako mmwenna mu kusaba kwaffe,+ 3 kubanga bulijjo tujjukira mu maaso ga Katonda era Kitaffe omulimu gwe mukola olw’okukkiriza kwammwe, n’okufuba kwammwe okukubirizibwa okwagala, n’obugumiikiriza bwe mulina olw’essuubi+ lye mutadde mu Mukama waffe Yesu Kristo. 4 Ab’oluganda abaagalibwa Katonda, tumanyi nti Katonda ye yabalonda, 5 kubanga amawulire amalungi ge tubuulira tegaalangirirwa gye muli mu bigambo bugambo, naye era gaalangirirwa n’amaanyi, n’omwoyo omutukuvu, era n’obukakafu obw’amaanyi, nga bwe mumanyi engeri gye tweyisaamu ku lwammwe. 6 Mwatukoppa+ era ne mukoppa ne Mukama waffe,+ okuva bwe mwakkiriza ekigambo mu kubonaabona okungi+ nga mulina essanyu ery’omwoyo omutukuvu, 7 ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Masedoniya ne mu Akaya.
8 Ekituufu kiri nti, ekigambo kya Yakuwa* kiwuliddwa okuva gye muli mu Masedoniya ne mu Akaya, era okukkiriza kwe mulina mu Katonda kubunye mu buli kifo,+ ne kiba nti tetwetaaga na kubaako kye twogera. 9 Kubanga bo bennyini boogera ku lwe twasooka okujja gye muli era n’engeri gye mwaleka ebifaananyi byammwe+ ne mudda eri Katonda, musobole okuweereza Katonda omulamu era ow’amazima, 10 n’okulindirira Omwana we okuva mu ggulu,+ gwe yazuukiza mu bafu, nga ye Yesu, atuwonya obusungu obugenda okujja.+