LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Nekkemiya 4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Omulimu gugenda mu maaso wadde nga waliwo okuziyizibwa (1-14)

      • Abakozi bazimba bakutte eby’okulwanyisa (15-23)

Nekkemiya 4:1

Marginal References

  • +Nek 2:10; 6:1, 2; 13:28

Nekkemiya 4:2

Marginal References

  • +Nek 4:10

Nekkemiya 4:3

Marginal References

  • +Nek 2:19
  • +Nek 13:1, 2

Nekkemiya 4:4

Marginal References

  • +Zb 123:3
  • +Zb 79:12

Nekkemiya 4:5

Marginal References

  • +Yer 18:23

Nekkemiya 4:7

Marginal References

  • +Nek 4:3
  • +Nek 2:19
  • +Yos 13:2, 3; Nek 13:23

Nekkemiya 4:10

Footnotes

  • *

    Oba, “Abasituzi b’ebintu ebizito.”

Nekkemiya 4:12

Footnotes

  • *

    Obut., “emirundi kkumi.”

Nekkemiya 4:14

Marginal References

  • +Nek 13:17
  • +Kbl 14:9; Ma 20:3; Yos 1:9
  • +Ma 7:21; 10:17

Nekkemiya 4:16

Marginal References

  • +Nek 5:16
  • +Nek 11:1

Nekkemiya 4:17

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2006, lup. 29

Nekkemiya 4:18

Marginal References

  • +Kbl 10:9; 2By 13:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    2/1/2006, lup. 29

Nekkemiya 4:20

Marginal References

  • +Ma 1:30; Yos 23:10

Nekkemiya 4:23

Marginal References

  • +Nek 13:19

General

Nek. 4:1Nek 2:10; 6:1, 2; 13:28
Nek. 4:2Nek 4:10
Nek. 4:3Nek 2:19
Nek. 4:3Nek 13:1, 2
Nek. 4:4Zb 123:3
Nek. 4:4Zb 79:12
Nek. 4:5Yer 18:23
Nek. 4:7Nek 4:3
Nek. 4:7Nek 2:19
Nek. 4:7Yos 13:2, 3; Nek 13:23
Nek. 4:14Nek 13:17
Nek. 4:14Kbl 14:9; Ma 20:3; Yos 1:9
Nek. 4:14Ma 7:21; 10:17
Nek. 4:16Nek 5:16
Nek. 4:16Nek 11:1
Nek. 4:18Kbl 10:9; 2By 13:12
Nek. 4:20Ma 1:30; Yos 23:10
Nek. 4:23Nek 13:19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Nekkemiya 4:1-23

Nekkemiya

4 Awo Sanubalaati+ olwali okuwulira nti tuzzeemu okuzimba bbugwe, n’anyiiga era n’asunguwala nnyo, n’ajerega Abayudaaya. 2 N’ayogera mu maaso ga baganda be ne mu maaso g’eggye ly’e Samaliya nti: “Abayudaaya abanafu bakola ki? Banaasobola okwemalirira? Banaawaayo ssaddaaka? Omulimu banaagumala mu lunaku lumu? Amayinja agaayokebwa agali mu ntuumu z’ebisasiro banaasobola okugazza obuggya?”+

3 Tobiya+ Omwamoni+ eyali naye, n’agamba nti: “Bbugwe ow’amayinja gwe bazimba n’ekibe kisobola okumusuula.”

4 Wulira Ai Katonda waffe bwe tunyoomebwa,+ era ebivumo byabwe bizze ku mitwe gyabwe.+ Baleetere okubeera ng’omunyago era bafuuke bawambe mu nsi endala. 5 Omusango gwe balina togubuusa maaso era n’ekibi kyabwe tokisangula,+ kubanga bavumye abazimbi.

6 Tweyongera okuzimba bbugwe okwetooloola ekibuga, ne tuziba amabanga gonna agaamulimu, ne tumutuusa wakati mu bugulumivu, era abantu beeyongera okukola n’omutima gwabwe gwonna.

7 Awo Sanubalaati ne Tobiya,+ n’Abawalabu,+ n’Abaamoni, n’Abasudodi+ olwali okuwulira nti omulimu gw’okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gwali gugenda mu maaso, era nti amabanga gaali gazibibwa, ne basunguwala nnyo. 8 Bonna ne beekobaana okujja okulwanyisa Yerusaalemi n’okukikyankalanya. 9 Naye twasaba Katonda waffe era ne tussaawo abakuumi emisana n’ekiro okubeerinda.

10 Kyokka abantu b’omu Yuda baali bagamba nti: “Abakozi* tebakyalina maanyi, ate ng’ebifunfugu bingi nnyo; tetugenda kusobola kuzimba bbugwe.”

11 Era abalabe baffe baagambanga nti: “Tujja kubatuukako nga tebamanyi era nga tebatulaba, tubatte, omulimu tuguyimirize.”

12 Abayudaaya abaali babeera okumpi nabo buli lwe bajjanga, nga batugamba enfunda n’enfunda* nti: “Bajja kujja batulumbe nga bava mu njuyi zonna.”

13 Awo ne nteeka abantu emabega wa bbugwe mu bitundu ebisingayo okuba wansi, mu bifo ebyeyerudde; nnabassaawo okusinziira ku mpya zaabwe nga balina ebitala, amafumu, n’emitego gy’obusaale. 14 Bwe nnalaba nga batidde, amangu ago ne nsituka ne ŋŋamba abakungu,+ n’abaami, n’abantu abalala nti: “Temubatya.+ Mujjukire Yakuwa omukulu era ow’entiisa;+ mulwanirire baganda bammwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe ne bakazi bammwe n’ennyumba zammwe.”

15 Abalabe baffe bwe baawulira nti twali tutegedde kye baali baagala okukola, era nti Katonda ow’amazima yali alemesezza enteekateeka zaabwe, ffenna ne tuddayo ku mulimu gw’okuzimba bbugwe. 16 Okuva ku lunaku olwo kimu kya kubiri eky’abasajja bange bwe baabanga bakola,+ ekimu eky’okubiri ekirala baabanga bakutte amafumu, engabo, n’emitego gy’obusaale, era nga balina n’ebyambalo by’olutalo; ate bo abaami+ baabanga bayimiridde emabega w’ab’ennyumba ya Yuda yonna 17 abaali bazimba bbugwe. Abo abaali basitula ebintu ebizito baakozesanga mukono gumu, ng’omulala gukutte kya kulwanyisa. 18 Buli muzimbi yazimbanga asibye ekitala mu kiwato, era n’oyo eyali ow’okufuuwa eŋŋombe+ yambeeranga ku lusegere.

19 Awo ne ŋŋamba abakungu n’abaami n’abantu abalala nti: “Omulimu munene nnyo ku bbugwe, era buli omu yeesudde munne ebbanga ddene. 20 Bwe munaawulira eŋŋombe ng’evuga, nga mujja we tuli. Katonda waffe ajja kutulwanirira.”+

21 Bwe twabanga tukola, nga kimu kya kubiri eky’abasajja bakutte amafumu, okuva ku makya ng’emmambya esala okutuuka akawungeezi ng’emmunyeenye zitandise okulabika. 22 Ate era mu kiseera ekyo nnagamba abantu nti: “Abasajja basulenga mu Yerusaalemi nga buli omu ali n’omuweereza we, ekiro batukuumenga ate emisana bakolenga emirimu.” 23 Era nze ne baganda bange n’abaweereza bange+ n’abakuumi abangobereranga, tetwayambulangamu byambalo byaffe, era buli omu yabanga n’eky’okulwanyisa kye mu mukono gwe ogwa ddyo.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share