LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Yeremiya 5
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Abantu bagaana okukangavvulwa Yakuwa (1-13)

      • Kuzikirizibwa naye si kusaanirawo ddala (14-19)

      • Yakuwa avunaana abantu be (20-31)

Yeremiya 5:1

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 22:29; Mi 7:2

Yeremiya 5:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 48:1

Yeremiya 5:3

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “tebaanafuwa.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2By 16:9
  • +2By 28:20-22; Yer 2:30
  • +Zek 7:11
  • +Zb 50:17; Is 42:24, 25; Ezk 3:7; Zef 3:2

Yeremiya 5:5

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Mi 3:1

Yeremiya 5:6

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezr 9:6; Is 59:12; Ezk 23:19

Yeremiya 5:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yos 23:6, 7; Yer 2:11; 12:16; Zef 1:4, 5

Yeremiya 5:8

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ezk 22:11

Yeremiya 5:9

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 26:25; Yer 9:9; 44:22; Nak 1:2

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1988, lup. 18-19

Yeremiya 5:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 26:44; Yer 46:28

Yeremiya 5:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 48:8; Yer 3:20; Kos 5:7; 6:7

Yeremiya 5:12

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “Taliiyo.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +2By 36:15, 16; Is 28:15
  • +Yer 23:17

Yeremiya 5:14

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 1:9
  • +Yer 23:29

Yeremiya 5:15

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 1:15; 4:16; 25:9; Ezk 7:24; Kab 1:6
  • +Ma 28:49, 50

Yeremiya 5:17

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lev 26:16

Yeremiya 5:18

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 4:27

Yeremiya 5:19

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 4:27; 28:48; 29:24, 25; 2By 7:21, 22

Yeremiya 5:21

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Obut., “abantu abasirusiru abatalina mutima.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 4:22
  • +Is 59:10
  • +Is 6:9; Ezk 12:2; Mat 13:13

Yeremiya 5:22

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yob 38:8, 11; Zb 33:7; Nge 8:29

Yeremiya 5:23

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 95:10; Yer 11:8

Yeremiya 5:24

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 11:14

Yeremiya 5:25

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Ma 28:23, 24; Yer 3:3

Yeremiya 5:27

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Am 8:5; Mi 6:11, 12

Yeremiya 5:28

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Is 1:23
  • +Zb 82:2

Yeremiya 5:29

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1988, lup. 18-19

Yeremiya 5:31

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Yer 14:14; Kuk 2:14; Ezk 13:6
  • +Is 30:10; Yok 3:19

Ebirala

Yer. 5:1Ezk 22:29; Mi 7:2
Yer. 5:2Is 48:1
Yer. 5:32By 16:9
Yer. 5:32By 28:20-22; Yer 2:30
Yer. 5:3Zek 7:11
Yer. 5:3Zb 50:17; Is 42:24, 25; Ezk 3:7; Zef 3:2
Yer. 5:5Mi 3:1
Yer. 5:6Ezr 9:6; Is 59:12; Ezk 23:19
Yer. 5:7Yos 23:6, 7; Yer 2:11; 12:16; Zef 1:4, 5
Yer. 5:8Ezk 22:11
Yer. 5:9Lev 26:25; Yer 9:9; 44:22; Nak 1:2
Yer. 5:10Lev 26:44; Yer 46:28
Yer. 5:11Is 48:8; Yer 3:20; Kos 5:7; 6:7
Yer. 5:122By 36:15, 16; Is 28:15
Yer. 5:12Yer 23:17
Yer. 5:14Yer 1:9
Yer. 5:14Yer 23:29
Yer. 5:15Yer 1:15; 4:16; 25:9; Ezk 7:24; Kab 1:6
Yer. 5:15Ma 28:49, 50
Yer. 5:17Lev 26:16
Yer. 5:18Yer 4:27
Yer. 5:19Ma 4:27; 28:48; 29:24, 25; 2By 7:21, 22
Yer. 5:21Yer 4:22
Yer. 5:21Is 59:10
Yer. 5:21Is 6:9; Ezk 12:2; Mat 13:13
Yer. 5:22Yob 38:8, 11; Zb 33:7; Nge 8:29
Yer. 5:23Zb 95:10; Yer 11:8
Yer. 5:24Ma 11:14
Yer. 5:25Ma 28:23, 24; Yer 3:3
Yer. 5:27Am 8:5; Mi 6:11, 12
Yer. 5:28Is 1:23
Yer. 5:28Zb 82:2
Yer. 5:31Yer 14:14; Kuk 2:14; Ezk 13:6
Yer. 5:31Is 30:10; Yok 3:19
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 5:1-31

Yeremiya

5 Mutambuletambule mu nguudo za Yerusaalemi.

Mutunuletunule mwetegereze.

Munoonye mu bibangirizi byakyo ebya lukale mulabe

Obanga munaazuulamu omuntu akola eby’obwenkanya,+

Era afuba okuba omwesigwa,

Bw’anaabaamu, kale nnaakisonyiwa.

 2 Ne bwe bagamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu!”

Baba balayira bya bulimba.+

 3 Ai Yakuwa, amaaso go teganoonya bwesigwa?+

Wababonereza, naye tekirina kye kyabakolako.*

Wabulako katono okubazikiriza, naye tebalina kye baayiga.+

Baakakanyaza obwenyi bwabwe ne buba bugumu okusinga olwazi,+

Baagaana okukyuka.+

 4 Naye nnagamba nti: “Abantu bano bateekwa okuba nga bakopi.

Bakola eby’obusirusiru olw’okuba tebamanyi Yakuwa,

Tebamanyi mateeka ga Katonda waabwe.

 5 Nja kugenda eri abasajja ab’ebitiibwa njogere nabo,

Kubanga bateekwa okuba nga bamanyi ekkubo lya Yakuwa,

Bateekwa okuba nga bamanyi amateeka ga Katonda waabwe.+

Naye bonna baali bamenye ekikoligo

Era ne bakutula n’ebisiba.”

 6 Empologoma ey’omu kibira kyeva ebalumba,

Omusege ogw’omu ddungu kyeguva gubasaanyaawo,

N’engo kyeva eteegera okumpi n’ebibuga byabwe.

Buli abifuluma agajambulwa.

Kubanga okwonoona kwabwe kungi nnyo;

Ebikolwa byabwe eby’obutali bwesigwa biyitiridde obungi.+

 7 Nnyinza ntya okukusonyiwa ebintu bino?

Abaana bo banvuddeko,

Balayira eri oyo atali Katonda.+

Nnabawa byonna bye beetaaga,

Naye beeyongera bweyongezi okwenda,

Era beekuluumululiranga mu nnyumba ya malaaya.

 8 Balinga embalaasi ennume ezirulunkanira okulinnyira enkazi,

Buli omu abebera muka munne.+

 9 “Sisaanidde kubabonereza olw’ebintu ebyo?” Yakuwa bw’agamba.

“Sisaanidde kuwoolera ggwanga ku ggwanga ng’eryo?”+

10 “Mwolekere ennimiro zaakyo ez’emizabbibu muzoonoone,

Naye temuzisaanyizaawo ddala.+

Muteme amatabi gaakyo,

Kubanga si ga Yakuwa.

11 Ab’ennyumba ya Isirayiri n’ab’ennyumba ya Yuda

Tebabadde beesigwa n’akamu gye ndi,” Yakuwa bw’agamba.+

12 “Beegaanyi Yakuwa, era bagamba nti,

‘Talina ky’ajja kukola.*+

Tewali kabi kanaatutuukako;

Tetujja kulaba kitala wadde enjala.’+

13 Bannabbi bye boogera tebiriimu nsa,

Ekigambo kya Katonda tekiri mu bo.

Ka bafuuke ekitaliimu nsa ng’ebigambo byabwe bwe biri!”

14 Kale bw’ati Yakuwa Katonda w’eggye bw’agamba:

“Olw’okuba abantu bano boogedde bwe batyo,

Nzuuno nfuula ekigambo kyange omuliro mu kamwa ko,+

Abantu bano ze nku,

Era gujja kubookya.”+

15 “Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, ŋŋenda kubaleetera eggwanga ery’ewala,”+ Yakuwa bw’agamba.

“Eggwanga eryateekebwawo edda ennyo.

Eggwanga ery’edda ennyo,

Eggwanga eryogera olulimi lwe mutamanyi,

Era eryogera bye mutasobola kutegeera.+

16 Bonna basajja balwanyi;

Ensawo yaabwe ey’obusaale eringa entaana eyasaamiridde.

17 Bajja kulya by’okungudde n’emmere yo.+

Bajja kutta batabani bo ne bawala bo.

Bajja kulya ebisibo byo n’amagana go.

Bajja kusaanyaawo emizabbibu gyo n’emitiini gyo.

Bajja kuzikiriza n’ekitala ebibuga byo ebiriko bbugwe bye weesiga.”

18 “Naye ne mu nnaku ezo,” Yakuwa bw’agamba, “siribazikiririza ddala.+ 19 Era bwe balibuuza nti, ‘Lwaki Yakuwa Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ obaddangamu nti, ‘Nga bwe mwandeka ne muweereza katonda omulala mu nsi yammwe, nammwe muliweereza abagwira mu nsi etali yammwe.’”+

20 Mulangirire kino mu nnyumba ya Yakobo,

Era mukirangirire mu nnyumba ya Yuda nga mugamba nti:

21 “Muwulire kino mmwe abantu abasirusiru abatalina magezi:*+

Balina amaaso naye tebalaba;+

Balina amatu naye tebawulira.+

22 ‘Temuntya?’ bw’ayogera Yakuwa,

‘Temusaanidde kukankana mu maaso gange?

Nze nnateekawo omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,

Olw’ekiragiro eky’olubeerera, ennyanja teyinza kusukka nsalo eyo.

Wadde amayengo gaayo geesuukunda, tegasobola kuwaguza;

Wadde nga gayira, tegasobola kugisukka.+

23 Naye abantu bano balina omutima omukakanyavu era omujeemu;

Balese ekkubo lyange ne bakwata eryabwe.+

24 Era tebagamba mu mutima gwabwe nti:

“Kaakano ka tutye Yakuwa Katonda waffe,

Atuwa enkuba mu kiseera ekituufu,

Enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo,

Oyo akakasa nti wabaawo wiiki ez’amakungula ezaagerekebwa.”+

25 Ensobi zammwe ze ziremesa ebintu bino okujja;

Ebibi byammwe bye bibalemesa okufuna ebirungi.+

26 Kubanga mu bantu bange mulimu abantu ababi.

Beetegereza ng’omutezi w’ebinyonyi bw’akola ng’abwamye.

Batega omutego ogw’akabi.

Bakwasa bantu.

27 Ennyumba zaabwe zijjudde obulimba,+

Ng’omuyonjo ogujjudde ebinyonyi.

Kyebava bafuuse ab’amaanyi era ne bagaggawala.

28 Bagezze era banyirira;

Bakola ebibi bingi nnyo.

Ensonga z’abo abatalina bakitaabwe tebazikolako mu bwenkanya,+

Bo basobole okuba obulungi;

N’ensonga z’abaavu tebazikolako mu bwenkanya.’”+

29 “Sisaanidde kubabonereza olw’ebintu ebyo?” Yakuwa bw’agamba.

“Sisaanidde kuwoolera ggwanga ku ggwanga ng’eryo?

30 Ekintu ekibi ennyo era ekyesisiwaza kibaddewo mu nsi:

31 Bannabbi boogera bya bulimba,+

Bakabona bakozesa obuyinza bwabwe okunyigiriza abalala

Naye abantu bange baagala kibe bwe kityo.+

Kale munaakola mutya ng’enkomerero etuuse?”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza