LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • Olubereberye 20
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

Ebirimu

      • Saala anunulibwa okuva ewa Abimereki (1-18)

Olubereberye 20:1

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “Bwe yali omugwira.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 13:18
  • +Kbl 13:26
  • +Lub 25:17, 18
  • +Lub 10:19; 26:6

Olubereberye 20:2

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 12:11-13; 20:11, 12
  • +Lub 12:15

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2015, lup. 12

Olubereberye 20:3

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 12:17; Zb 105:14
  • +Ma 22:22

Olubereberye 20:4

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Kwe kugamba, yali tanneegatta naye.

  • *

    Oba, “ettuukirivu.”

Olubereberye 20:7

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Zb 105:14, 15
  • +Yob 42:8

Olubereberye 20:10

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 12:18, 19; 26:9, 10

Olubereberye 20:11

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 12:11, 12; 26:7

Olubereberye 20:12

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 11:29

Indekisi

  • Ekitabo Mw'Onoonyereza

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogwa Bonna),

    Na. 3 2017 lup. 12

Olubereberye 20:13

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 12:1
  • +Lub 12:13

Olubereberye 20:16

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 20:2, 12

Olubereberye 20:18

Obugambo Obuli Wansi

  • *

    Oba, “yali aggalidde ddala enda zonna ez’ab’ennyumba ya Abimereki.”

Ebiri mu Miwaatwa

  • +Lub 12:17

Ebirala

Lub. 20:1Lub 13:18
Lub. 20:1Kbl 13:26
Lub. 20:1Lub 25:17, 18
Lub. 20:1Lub 10:19; 26:6
Lub. 20:2Lub 12:11-13; 20:11, 12
Lub. 20:2Lub 12:15
Lub. 20:3Lub 12:17; Zb 105:14
Lub. 20:3Ma 22:22
Lub. 20:7Zb 105:14, 15
Lub. 20:7Yob 42:8
Lub. 20:10Lub 12:18, 19; 26:9, 10
Lub. 20:11Lub 12:11, 12; 26:7
Lub. 20:12Lub 11:29
Lub. 20:13Lub 12:1
Lub. 20:13Lub 12:13
Lub. 20:16Lub 20:2, 12
Lub. 20:18Lub 12:17
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Olubereberye 20:1-18

Olubereberye

20 Awo Ibulayimu n’ava eyo+ n’agenda mu kitundu ky’e Negebu n’atandika okubeera wakati wa Kadesi+ ne Ssuuli.+ Bwe yali abeera* e Gerali,+ 2 Ibulayimu era yaddamu n’ayogera ku Saala mukazi we nti: “Ono mwannyinaze.”+ Awo Abimereki kabaka wa Gerali n’atumya Saala n’amutwala.+ 3 Oluvannyuma Katonda n’ajjira Abimereki mu kirooto ekiro, n’amugamba nti: “Oli mufu olw’omukazi gw’otutte+ kubanga mufumbo era muka musajja.”+ 4 Kyokka Abimereki yali tannamusemberera.* Bw’atyo n’agamba nti: “Yakuwa, ddala onotta eggwanga eritaliiko musango?* 5 Ibulayimu teyaŋŋamba nti, ‘Ono mwannyinaze’? era n’omukazi naye teyagamba nti, ‘Oyo mwannyinaze’? Kino nnakikola mu mutima omwesimbu era n’engalo ezitaliiko musango.” 6 Awo Katonda ow’amazima n’amugamba mu kirooto nti: “Nange nkimanyi nti ekyo wakikola mu mutima mwesimbu, era nnakuziyiza oleme kwonoona mu maaso gange. Eyo ye nsonga lwaki saakuganya kumukwatako. 7 Kale zzaayo mukazi w’omusajja, kubanga omusajja oyo nnabbi+ era ajja kukwegayiririra+ osigale ng’oli mulamu. Naye bw’otoomuzzeeyo, kimanye nti ojja kufa ggwe, n’abantu bo bonna.”

8 Abimereki n’agolokoka ku makya ennyo n’ayita abaweereza be bonna n’ababuulira ebintu ebyo byonna, ne batya nnyo. 9 Abimereki n’ayita Ibulayimu n’amugamba nti: “Kiki kino ky’otukoze, era kibi ki kye nnakukola olyoke ondeeteko nze n’obwakabaka bwange ekibi ekinene bwe kityo? Ky’onkoze si kituufu.” 10 Abimereki n’ayongera n’agamba Ibulayimu nti: “Wagenderera ki okukola ekintu kino?”+ 11 Ibulayimu n’addamu nti: “Lwa kuba nnalowooza nti, ‘Mu kifo kino tebatya Katonda era bajja kunzita olwa mukazi wange.’+ 12 Ate era ono mwannyinaze ddala, mwana wa kitange naye nga si wa mmange; naye nnamuwasa.+ 13 Kale Katonda bwe yaŋŋamba nve mu nnyumba ya kitange+ ŋŋende nga mbundabunda, ne ŋŋamba Saala nti: ‘Bw’oti bw’oba ondaga okwagala okutajjulukuka: Mu buli kifo gye tunaalaganga onoogambanga nti: “Ono mwannyinaze.”’”+

14 Awo Abimereki n’atoola endiga, ente, n’abaweereza abakazi n’abasajja, n’abiwa Ibulayimu era n’amuddiza mukazi we Saala. 15 Era Abimereki n’agamba nti: “Ensi yange yiiyo, beera wonna w’oyagala.” 16 Ate era n’agamba Saala nti: “Laba mpadde mwannyoko+ ebitundu bya ffeeza 1,000. Ke kabonero eri bonna abali naawe n’eri buli muntu akalaga nti toliiko musango, era tolina kya kunenyezebwa.” 17 Ibulayimu ne yeegayirira Katonda ow’amazima, era Katonda n’awonya Abimereki ne mukazi we n’abazaana be, ne batandika okuzaala abaana. 18 Kubanga abakazi bonna ab’omu nnyumba ya Abimereki Yakuwa yali abafudde bagumba* olwa Saala muka Ibulayimu.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Vaamu
Yingira
  • Luganda
  • Weereza
  • By'Oyagala
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Privacy Policy
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Yingira
Weereza