Isaaya
51 “Mumpulirize mmwe abagoberera obutuukirivu,
Mmwe abanoonya Yakuwa.
Mulowooze ku lwazi kwe mwatemebwa
Ne ku kirombe mwe mwasimibwa.
2 Mulowooze ku Ibulayimu kitammwe
Ne ku Saala+ eyabazaala.
3 Yakuwa alibudaabuda Sayuuni.+
Alizzaawo* ebyakyo byonna ebyayonoonebwa,+
Era eddungu lyakyo alirifuula nga Edeni+
N’ensenyi zaakyo alizifuula ng’olusuku lwa Yakuwa.+
Okujaganya n’okusanyuka biribeera mu kyo,
N’okwebaza n’ennyimba ennungi.+
4 Mumpulirize, mmwe abantu bange,
Ntegera okutu, ggwe eggwanga lyange.+
5 Obutuukirivu bwange busembera.+
6 Muyimuse amaaso gammwe mutunuulire eggulu,
Era mutunuulire ensi.
Kubanga eggulu liriggwaawo ng’omukka;
Ensi erikaddiwa ng’olugoye,
Era abagibeeramu balifa ng’obutugu.
Temutya kujeregebwa bantu,
Era temutekemuka olw’ebivumo byabwe.
8 Kubanga ekiwuka kiribalya nga bwe kirya ekyambalo;
Ekiwuka ekirya engoye kiribalya nga bwe kirya ebyoya by’endiga.+
Naye obutuukirivu bwange bwa mirembe na mirembe,
N’obulokozi bwange bwa mirembe gyonna.”+
9 Zuukuka! Zuukuka! Yambala amaanyi,
Ggwe omukono gwa Yakuwa!+
Zuukuka nga bwe wakola mu nnaku ez’edda, nga bwe wakola mu mirembe egyayita.
10 Si ggwe eyakaliza ennyanja, amazzi amangi ag’omu buziba?+
Eyafuula entobo y’ennyanja oluguudo, abo abaanunulibwa basobole okusomoka?+
11 Abo Yakuwa b’alinunula balikomawo.+
Baligenda mu Sayuuni nga boogerera waggulu n’essanyu,+
Era essanyu eritaggwaawo liribeera ng’engule ku mitwe gyabwe.*+
Balijaguza era ne basanyuka;
Ennaku n’okusinda biriggweerawo ddala.+
12 “Nze kennyini nze mbabudaabuda.+
Lwaki mutya omuntu obuntu alifa,+
Omwana w’omuntu aliwotoka ng’omuddo?
Okuzibya obudde wabeeranga mu kutya olw’obusungu bw’oyo eyali akubonyaabonya,
Nga gy’obeera nti yali asobola okukuzikiriza.
Kaakano obusungu bw’oyo eyali akubonyaabonya buli wa?
14 Oyo akutaamiridde ng’ali mu njegere anaatera okuteebwa;+
Talifa n’akka mu kinnya.
Era talibulwa mmere.
15 Naye nze Yakuwa Katonda wo,
Asiikuula ennyanja n’aleetera amayengo gaayo okuwuluguma+
—Yakuwa ow’eggye lye linnya lyange.+
16 Nditeeka ebigambo byange mu kamwa ko,
Era ndikubikka ekisiikirize ky’omukono gwange,+
Nsobole okusimba eggulu n’okussaawo omusingi gw’ensi+
N’okugamba Sayuuni nti, ‘Muli bantu bange.’+
17 Zuukuka! Zuukuka! Yimuka, ggwe Yerusaalemi,+
Ggwe anywedde ekikopo kya Yakuwa eky’obusungu okuva mu mukono gwe.
Onywedde ekibya;
Okalizza ekikopo ekitagaza.+
18 Tewali n’omu ku baana bonna be yazaala amuwa bulagirizi,
Era tewali n’omu ku baana bonna be yakuza amukutte ku mukono.
19 Ebintu bino ebibiri bikutuuseeko.
Ani alikukwatirwa ekisa?
Okuzikiriza n’okwonoonebwa, enjala n’ekitala!+
Ani alikubudaabuda?+
20 Abaana bo bazirise.+
Bagalamira mu buli masaŋŋanzira
Nga balinga endiga ey’omu nsiko eri mu kitimba.
Bajjudde obusungu bwa Yakuwa, ekibonerezo Katonda wo ky’abawadde.”
21 Kale wuliriza kino,
Ggwe omukazi abonaabona era atamidde, naye nga totamidde mwenge.
22 Mukama wo Yakuwa, Katonda wo alwanirira abantu be, bw’ati bw’agamba:
“Laba! Nja kuggya mu mukono gwo ekikopo ekitagaza:+
Ekibya, ekikopo kyange eky’obusungu;
Toliddamu kukinywa.+
23 Nja kukiteeka mu mukono gw’abo abakubonyaabonya,+
Abo abaakugamba nti, ‘Weeyale wansi tukutambulireko!’
Naawe n’ofuula omugongo gwo ng’ettaka,
N’ogufuula ng’oluguudo batambulireko.”