2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
1 Sulemaani mutabani wa Dawudi ne yeeyongera okufuna amaanyi mu bufuzi bwe. Yakuwa Katonda we yali naye era yamufuula wa kitiibwa nnyo.+
2 Awo Sulemaani n’atumya Abayisirayiri bonna, abaali bakulira enkumi n’abakulira ebikumi n’abalamuzi n’abaami bonna ab’omu Isirayiri yonna, abakulu b’ennyumba za bakitaabwe. 3 Sulemaani n’ekibiina kyonna ne bagenda mu kifo ekigulumivu eky’e Gibiyoni,+ kubanga eyo we waali weema ey’okusisinkaniramu eya Katonda ow’amazima, Musa omuweereza wa Yakuwa gye yakolera mu ddungu. 4 Naye Essanduuko ya Katonda ow’amazima Dawudi yali agiggye e Kiriyasu-yalimu+ n’agireeta mu kifo kye yali agiteekeddeteekedde; yali agisimbidde weema mu Yerusaalemi.+ 5 Ate ekyoto eky’ekikomo+ Bezaleeri+ mutabani wa Wuli mutabani wa Kuli kye yakola kyali kiteekeddwa mu maaso ga weema ya Yakuwa entukuvu; era Sulemaani n’ekibiina baasabiranga mu maaso gaakyo.* 6 Awo Sulemaani n’aweerayo eyo ebiweebwayo mu maaso ga Yakuwa; yawaayo ebiweebwayo ebyokebwa 1,000 ku kyoto eky’ekikomo+ eky’oku weema ey’okusisinkaniramu.
7 Ekiro ekyo Katonda n’alabikira Sulemaani n’amugamba nti: “Saba ky’oyagala nkuwe.”+ 8 Sulemaani n’agamba Katonda nti: “Walaga kitange Dawudi+ okwagala okutajjulukuka kungi, era onfudde kabaka mu kifo kye.+ 9 Kaakano Ai Yakuwa Katonda, tuukiriza kye wasuubiza kitange Dawudi,+ kubanga onfudde kabaka w’abantu abangi ennyo ng’enfuufu y’ensi.+ 10 Nkusaba ompe amagezi n’okumanya+ nsobole okukulembera abantu bano;* kubanga ani ayinza okulamula eggwanga lyo lino eddene?”+
11 Awo Katonda n’agamba Sulemaani nti: “Olw’okuba kino omutima gwo kye gwagala, era tosabye bintu oba obugagga oba ekitiibwa oba okufa kw’abo abatakwagala oba obuwangaazi,* naye n’osaba amagezi n’okumanya osobole okulamula abantu bange be nkuwadde okufuga nga kabaka,+ 12 amagezi n’okumanya bijja kukuweebwa; era nja kukuwa n’ebintu n’obugagga n’ekitiibwa bakabaka abaakusookawo bye bataafuna era n’abo abalikuddirira bye batalifuna.”+
13 Awo Sulemaani n’ava e Gibiyoni mu kifo ekigulumivu,+ mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu, n’agenda e Yerusaalemi n’afuga Isirayiri. 14 Sulemaani ne yeekuŋŋaanyiza amagaali n’embalaasi;* yalina amagaali 1,400 n’embalaasi* 12,000,+ era yabiteeka mu bibuga omwaterekebwanga amagaali+ ne mu Yerusaalemi okumpi ne kabaka.+ 15 Ffeeza ne zzaabu kabaka bye yalina mu Yerusaalemi byali bingi nnyo ng’amayinja,+ n’embaawo z’entolokyo ze yalina zaali nnyingi nnyo ng’emiti gy’emisukamooli egiri mu Sefera.+ 16 Embalaasi za Sulemaani zaggibwanga Misiri,+ era abasuubuzi ba kabaka baagulanga magana.*+ 17 Eggaali limu baaligulanga e Misiri ebitundu bya ffeeza 600, ate embalaasi emu baagigulanga ebitundu bya ffeeza 150; oluvannyuma baabiguzanga bakabaka bonna ab’Abakiiti n’aba Busuuli.