LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Nakkumu 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Katonda awoolera eggwanga ku balabe be (1-7)

        • Katonda ayagala abantu okumwemalirako (2)

        • Yakuwa amanyi abo abaddukira gy’ali (7)

      • Nineeve kijja kusaanyizibwawo ddala (8-14)

        • Ennaku tejja kujja mulundi gwa kubiri (9)

      • Amawulire amalungi galangirirwa eri Yuda (15)

Nakkumu 1:1

Footnotes

  • *

    Litegeeza, “Abudaabuda.”

Marginal References

  • +Is 10:12; Nak 3:7; Zef 2:13

Nakkumu 1:2

Marginal References

  • +Kuv 20:5
  • +Ma 32:35, 41; Is 59:18

Nakkumu 1:3

Marginal References

  • +Kbl 14:18
  • +Yob 9:4
  • +Kuv 34:6, 7
  • +Yob 38:1

Indexes

  • Research Guide

    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, lup. 45

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/2001, lup. 22

Nakkumu 1:4

Marginal References

  • +Yob 38:11; Zb 104:6, 7; 107:29
  • +Yos 3:16
  • +Is 33:9; Am 1:2

Nakkumu 1:5

Marginal References

  • +2Sa 22:8; Zb 68:7, 8
  • +Zb 97:4, 5; Is 24:1

Nakkumu 1:6

Marginal References

  • +Yer 10:10
  • +Ma 32:22

Nakkumu 1:7

Footnotes

  • *

    Oba, “Afaayo ku.”

Marginal References

  • +Zb 136:1; Mat 19:17
  • +Zb 46:1; 91:2; Nge 18:10; Is 25:4
  • +Zb 1:6

Nakkumu 1:8

Footnotes

  • *

    Kwe kugamba, Nineeve.

Nakkumu 1:9

Marginal References

  • +Is 10:24, 25

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    12/1/2007, lup. 9

Nakkumu 1:10

Footnotes

  • *

    Oba, “omwenge gwe bakola mu ŋŋaano.”

Nakkumu 1:12

Footnotes

  • *

    Era kiyinza okuvvuunulwa, “era abayitemu.”

  • *

    Wano boogera ku Yuda.

Nakkumu 1:13

Marginal References

  • +Is 14:25

Nakkumu 1:14

Footnotes

  • *

    Wano boogera ku Bwasuli.

  • *

    Oba, “ebisaanuuse.”

  • *

    Oba, “yeekaalu.”

Nakkumu 1:15

Marginal References

  • +Is 52:7; Bar 10:15
  • +Ma 16:16

General

Nak. 1:1Is 10:12; Nak 3:7; Zef 2:13
Nak. 1:2Kuv 20:5
Nak. 1:2Ma 32:35, 41; Is 59:18
Nak. 1:3Kbl 14:18
Nak. 1:3Yob 9:4
Nak. 1:3Kuv 34:6, 7
Nak. 1:3Yob 38:1
Nak. 1:4Yob 38:11; Zb 104:6, 7; 107:29
Nak. 1:4Yos 3:16
Nak. 1:4Is 33:9; Am 1:2
Nak. 1:52Sa 22:8; Zb 68:7, 8
Nak. 1:5Zb 97:4, 5; Is 24:1
Nak. 1:6Yer 10:10
Nak. 1:6Ma 32:22
Nak. 1:7Zb 136:1; Mat 19:17
Nak. 1:7Zb 46:1; 91:2; Nge 18:10; Is 25:4
Nak. 1:7Zb 1:6
Nak. 1:9Is 10:24, 25
Nak. 1:13Is 14:25
Nak. 1:15Is 52:7; Bar 10:15
Nak. 1:15Ma 16:16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Nakkumu 1:1-15

Nakkumu

1 Obubaka obukwata ku Nineeve:+ Ekitabo ky’okwolesebwa kwa Nakkumu* Omwerukoosi:

 2 Yakuwa ye Katonda ayagala abantu okumwemalirako+ era awoolera eggwanga,

Yakuwa awoolera eggwanga era asunguwadde.+

Yakuwa awoolera eggwanga ku balabe be,

Era aterekera abalabe be obusungu.

 3 Yakuwa alwawo okusunguwala+ era wa maanyi nnyo,+

Naye talema kuwa abo ababa bakoze ebibi ekibonerezo ekibagwanira.+

Ekkubo lye liri mu kikuŋŋunta ne mu mbuyaga,

Era ebire ye nfuufu eri wansi w’ebigere bye.+

 4 Anenya ennyanja+ n’agikaliza,

Era akaliza n’emigga gyonna.+

Basani ne Kalumeeri bikala,+

N’ebimuli bya Lebanooni bikala.

 5 Ensozi zikankana olw’okubeera ye,

N’obusozi busaanuuka.+

Ensi ejja kukankanira mu maaso ge,

Era n’ettaka awamu n’abo abalibeerako.+

 6 Ani ayinza okuyimirira mu maaso g’obusungu bwe?+

Ani ayinza okugumira obusungu bwe obubuubuuka?+

Obusungu bwe bulifukibwa ng’omuliro,

Era enjazi zirimenyekamenyeka olw’okubeera ye.

 7 Yakuwa mulungi,+ era kigo ku lunaku olw’okulabirako ennaku.+

Amanyi* abo abaddukira gy’ali.+

 8 Ajja kusaanyizaawo ddala ekibuga ekyo* ng’akozesa amataba ag’amaanyi,

Era ekizikiza kijja kuwondera abalabe be.

 9 Kiki kye munaateesa okukola Yakuwa?

Ajja kubazikiririza ddala.

Ennaku tejja kujja mulundi gwa kubiri.+

10 Balinga amaggwa agasibaganye,

Era balinga abo abatamidde omwenge;*

Naye bajja kwokebwa ng’ebisubi ebikalu.

11 Mu ggwe mujja kuvaamu ateesa okukola ebibi ku Yakuwa,

Awa abalala amagezi agataliimu nsa.

12 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:

“Wadde nga balina amaanyi mangi era nga bangi nnyo,

Bajja kutemebwa basuulibwe wansi era basaanewo.*

Nkulabizza ennaku,* naye siriddamu kukulabya nnaku nate.

13 Nja kumenya ekikoligo kye nkikuggyeko,+

Era n’ebikusibye nja kubikutulamu.

14 Kino Yakuwa ky’alagidde ku ggwe,*

‘Toliddamu kuba na zzadde liyitibwa linnya lyo.

Nja kusaanyaawo ebifaananyi ebyole n’ebifaananyi eby’ekyuma* ebiri mu nnyumba* ya bakatonda bo.

Nja kukusimira entaana kubanga tolina mugaso.’

15 “Laba! Ku nsozi, ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,

Oyo alangirira emirembe.+

Ggwe Yuda kwata embaga zo.+ Sasula obweyamo bwo,

Kubanga oyo atalina mugaso taliddamu kukuyitamu.

Ajja kuzikiririzibwa ddala.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share