Zekkaliya
1 Mu mwezi ogw’omunaana mu mwaka ogw’okubiri ogwa Daliyo,+ Yakuwa yayogera ne nnabbi Zekkaliya*+ mutabani wa Berekiya mutabani wa Iddo, n’amugamba nti: 2 “Yakuwa yasunguwalira nnyo bakitammwe.+
3 “Bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “‘Mudde gye ndi,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘nange nja kudda gye muli,’+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.”’
4 “‘Temuba nga bakitammwe bannabbi ab’edda be baagambanga nti: “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba nti, ‘Muleke amakubo gammwe amabi n’ebikolwa byammwe ebibi.’”’+
“‘Naye ne batawuliriza era ne batassaayo mwoyo gye ndi,’+ Yakuwa bw’agamba.
5 “‘Kaakano bakitammwe bali ludda wa? Ate bo bannabbi baabeerawo mirembe gyonna? 6 Bakitammwe tebaalaba kutuukirizibwa kwa bigambo byange n’ebiragiro byange bye nnalagira abaweereza bange bannabbi?’+ Baakomawo gye ndi ne bagamba nti: ‘Yakuwa ow’eggye akoledde ddala nga bwe yagamba okutukola, ng’amakubo gaffe n’ebikolwa byaffe bwe biri.’”+
7 Ku lunaku olw’abiri mu ennya mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu, omwezi gwa Sebati,* mu mwaka ogw’okubiri ogwa Daliyo,+ ekigambo kya Yakuwa kyajjira nnabbi Zekkaliya mutabani wa Berekiya mutabani wa Iddo nga kigamba nti: 8 “Nnafuna okwolesebwa ekiro. Waaliwo omusajja eyali yeebagadde embalaasi emmyufu ng’ayimiridde mu miti gy’emikadasi egyali mu kiwonvu; emabega we waaliyo embalaasi emmyufu, eya kitaka, n’enjeru.”
9 Awo ne ŋŋamba nti: “Bano be baani mukama wange?”
Malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti: “Nja kubakubuulira.”
10 Omusajja eyali ayimiridde mu miti gy’emikadasi n’aŋŋamba nti: “Beebo Yakuwa b’asindise okuyitaayita mu nsi.” 11 Awo ne bagamba malayika wa Yakuwa eyali ayimiridde mu miti gy’emikadasi nti: “Tuyiseeyise mu nsi, era laba! ensi yonna etebenkedde era terina kigitawaanya.”+
12 Malayika wa Yakuwa n’agamba nti: “Ai Yakuwa ow’eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda+ by’osunguwalidde emyaka gino 70?”+
13 Awo Yakuwa n’addamu malayika eyali ayogera nange ng’akozesa ebigambo ebirungi era ebibudaabuda. 14 Awo malayika eyali ayogera nange n’aŋŋamba nti: “Yogerera waggulu ogambe nti: ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Njagala nnyo Yerusaalemi ne Sayuuni era mbirumirirwa nnyo.+ 15 Nsunguwalidde nnyo amawanga agali mu mirembe,+ kubanga nze abantu bange nnabasunguwalira katono,+ naye go ne gababonyaabonya ekisusse.”’+
16 “Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘“Nja kudda mu Yerusaalemi n’okusaasira.+ Ennyumba yange ejja kuzimbibwa mu kyo,+ era omuguwa ogupima gujja kuleegebwa ku Yerusaalemi,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.’
17 “Era yogerera waggulu ogambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Ebibuga byange bijja kuddamu okujjula ebirungi; Yakuwa ajja kuddamu okubudaabuda Sayuuni,+ era ajja kuddamu okulonda Yerusaalemi.”’”+
18 Awo ne ntunula waggulu, era laba! waaliwo amayembe ana.+ 19 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti: “Amayembe ago gakiikirira ki?” N’anziramu nti: “Gakiikirira obufuzi obwasaasaanya Yuda+ ne Isirayiri+ ne Yerusaalemi.”+
20 Ate era Yakuwa n’andaga abakozi bana. 21 Awo ne mbuuza nti: “Bano bazze kukola ki?”
N’anziramu nti: “Ago ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne wataba n’omu ayimusa mutwe gwe; era abakozi abo bajja kugaleetera entiisa basuule wansi amayembe g’amawanga agaayimusa amayembe gaago ku nsi ya Yuda okusaasaanya abantu baayo.”