LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 64
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Essaala ey’okwenenya yeeyongerayo (1-12)

        • Yakuwa ‘ye Mubumbi waffe’ (8)

Isaaya 64:3

Marginal References

  • +Kuv 34:10
  • +Kab 3:6

Isaaya 64:4

Footnotes

  • *

    Oba, “abamulindirira n’obugumiikiriza.”

Marginal References

  • +Zb 130:6-8; Is 25:9; Mi 7:7; 1Ko 2:9

Isaaya 64:5

Marginal References

  • +Zef 2:3; Bik 10:34, 35
  • +Is 1:21; 63:10

Isaaya 64:6

Marginal References

  • +Lev 12:2; 15:20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 7

Isaaya 64:7

Footnotes

  • *

    Obut., “okusaanuuka.”

  • *

    Obut., “olw’omukono gw’ensobi zaffe.”

Marginal References

  • +Ma 31:17; Is 57:17

Isaaya 64:8

Footnotes

  • *

    Oba, “Eyatukola.”

Marginal References

  • +Is 63:16
  • +Is 29:16; 45:9; Yer 18:6

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2016, lup. 6-10

    Omunaala gw’Omukuumi,

    9/15/2013, lup. 20-21

    6/15/2013, lup. 25

Isaaya 64:9

Marginal References

  • +Zb 74:1; 79:5

Isaaya 64:10

Marginal References

  • +Zb 79:1; Kuk 1:4; 5:18; Mi 3:12

Isaaya 64:11

Footnotes

  • *

    Oba, “Yeekaalu.”

  • *

    Oba, “erabika obulungi.”

Marginal References

  • +2By 36:17, 19; Yer 52:12, 13

Isaaya 64:12

Marginal References

  • +Zb 74:10, 11; Zek 1:12

General

Is. 64:3Kuv 34:10
Is. 64:3Kab 3:6
Is. 64:4Zb 130:6-8; Is 25:9; Mi 7:7; 1Ko 2:9
Is. 64:5Zef 2:3; Bik 10:34, 35
Is. 64:5Is 1:21; 63:10
Is. 64:6Lev 12:2; 15:20
Is. 64:7Ma 31:17; Is 57:17
Is. 64:8Is 63:16
Is. 64:8Is 29:16; 45:9; Yer 18:6
Is. 64:9Zb 74:1; 79:5
Is. 64:10Zb 79:1; Kuk 1:4; 5:18; Mi 3:12
Is. 64:112By 36:17, 19; Yer 52:12, 13
Is. 64:12Zb 74:10, 11; Zek 1:12
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 64:1-12

Isaaya

64 Singa wayuzaamu eggulu n’okka wansi,

Ensozi ne zikankanira mu maaso go,

 2 Ne kiba ng’omuliro bwe gukwata obuku ne bwaka,

Ne gweseza amazzi,

Abalabe bo banditegedde erinnya lyo,

Era amawanga gandikankanidde mu maaso go!

 3 Bwe wakola ebintu ebiwuniikiriza bye twali tutasuubira,+

Wakka wansi, ensozi ne zikankanira mu maaso go.+

 4 Okuva edda tewali yali awulidde oba eyali ategedde,

Oba eriiso eryali lirabye Katonda omulala okuggyako ggwe,

Ayamba abo abamulindirira.*+

 5 Ozze eri abo abasanyukira okukola ekituufu,+

Abo abakujjukira ne batambulira mu makubo go.

Laba! Wasunguwala bwe twali twonoona,+

Twayonoona okumala ekiseera kiwanvu.

Kati olwo tugwanidde okulokolebwa?

 6 Ffenna tufuuse ng’omuntu atali mulongoofu,

Era ebikolwa byaffe byonna eby’obutuukirivu biringa ekiwero omukazi ali mu nsonga ky’akozesezza.+

Ffenna tujja kuwotoka ng’ekikoola,

Era ensobi zaffe zijja kututwala ng’abatwalibwa embuyaga.

 7 Tewali n’omu akoowoola linnya lyo,

Tewali n’omu yeekubiriza kukwekwatako,

Kubanga otukwese obwenyi bwo,+

Era otuleetera okuggweerera* olw’ensobi zaffe.*

 8 Naye kaakano, Ai Yakuwa, ggwe Kitaffe.+

Ffe tuli bbumba, era ggwe Mubumbi waffe;*+

Ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.

 9 Ai Yakuwa, tosunguwala nnyo,+

Era tojjukira nsobi zaffe mirembe na mirembe.

Tukwegayiridde, tutunuulire, kubanga ffenna tuli bantu bo.

10 Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu.

Sayuuni kifuuse ddungu,

Yerusaalemi kifuuse matongo.+

11 Ennyumba* yaffe entukuvu era ey’ekitiibwa,*

Bajjajjaffe mwe baakutendererezanga,

Yayokebwa omuliro,+

Era n’ebintu byonna bye twali tutwala nga bya muwendo byayonoonebwa.

12 Ai Yakuwa, toobeeko ky’okolawo wadde ng’ebyo byonna byaliwo?

Onoosigala osirise busirisi n’otuleka okubonaabona ennyo bwe tuti?+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share