Ekyabalamuzi
15 Bwe waayitawo ekiseera, mu nnaku z’okukungula eŋŋaano, Samusooni n’agenda okukyalira mukazi we ng’alina omwana gw’embuzi. N’agamba nti: “Njagala kugenda eri mukazi wange mu kisenge.”* Naye kitaawe w’omuwala teyamukkiriza kuyingirayo. 2 Kitaawe w’omuwala n’agamba nti: “Nnalowooza nti wamukyawa,+ kyennava mmuwa omu ku basajja abaali emperekeze zo.+ Muganda we omuto si mulungi okumusinga? Nkwegayiridde, oyo gw’oba otwala mu kifo ky’oli.” 3 Naye Samusooni n’abagamba nti: “Ku mulundi guno Abafirisuuti bwe nnaabakola akabi, tebannenya.”
4 Awo Samusooni n’agenda n’akwata ebibe 300 n’afuna n’emimuli; n’asiba ebibe bibiri bibiri emikira, n’ateeka omumuli gumu gumu ku buli mikira ebiri egisibiddwa. 5 N’akoleeza emimuli, n’agobera ebibe mu misiri gy’Abafirisuuti egy’emmere. Bw’atyo n’ayokya buli kintu, okuva ku binywa okutuuka ku mmere etennakungulwa ng’okwo kw’otadde n’ennimiro z’emizabbibu n’ez’emizeyituuni.
6 Abafirisuuti ne babuuza nti: “Ani yakoze kino?” Ne babaddamu nti: “Samusooni mukoddomi w’Omutimuna, kubanga Omutimuna yaddira muka Samusooni n’amuwa omu ku basajja abaali emperekeze ze.”+ Awo Abafirisuuti ne bagenda ne bookya omukazi oyo ne kitaawe.+ 7 Samusooni n’abagamba nti: “Bwe muba nga bwe mutyo bwe mukoze, sijja kuweera okutuusa nga mmaze okubeesasuza.”+ 8 N’abatta, omu ku omu; n’atta bangi nnyo nnyini, era oluvannyuma n’agenda n’abeera mu mpuku eri ku kagulungujjo akayitibwa Etamu.
9 Oluvannyuma Abafirisuuti ne bajja ne basiisira mu Yuda era ne batambulatambula mu Leki.+ 10 Abasajja ba Yuda ne bagamba nti: “Lwaki mutulumbye?” Ne babaddamu nti: “Tuzze kukwata* Samusooni, tumukole nga naye bwe yatukola.” 11 Abasajja ba Yuda 3,000 ne bagenda ku mpuku eyali ku kagulungujjo akayitibwa Etamu ne bagamba Samusooni nti: “Tomanyi nti Abafirisuuti be batufuga?+ Kiki kino ky’otukoze?” N’abaddamu nti: “Mbakoze nga nabo bwe bankola.” 12 Ne bamugamba nti: “Tuzze kukukwata* tukuweeyo mu mukono gw’Abafirisuuti.” Awo Samusooni n’abagamba nti: “Mundayirire nti temujja kunkolako kabi.” 13 Ne bamugamba nti: “Nedda, tugenda kukusiba busibi tukuweeyo gye bali, era tetujja kukutta.”
Bwe batyo ne bamusiba n’emiguwa ebiri emipya ne bamuggyayo ku kagulungujjo. 14 Bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne baleekaana olw’essanyu nga bamulabye. Awo omwoyo gwa Yakuwa ne gumuwa amaanyi,+ emiguwa egyamuliko ne giba ng’ewuzi za kitaani ezookeddwa omuliro, ne giva ku mikono gye ne gigwa.+ 15 Awo n’alaba oluba lw’endogoyi ensajja eyali yaakafa ebbanga si ddene, n’agolola omukono gwe n’alulonda n’alukozesa okutta abasajja 1,000.+ 16 Awo Samusooni n’agamba nti:
“Nkozesezza oluba lw’endogoyi ensajja okutta abalabe ne ntuuma emirambo gyabwe!
Nkozesezza oluba lw’endogoyi ensajja okutta abasajja 1,000.”+
17 Bwe yamala okwogera ebyo, amangu ago n’asuula oluba lw’endogoyi, ekifo ekyo n’akituuma Lamasu-leki.*+ 18 Awo ennyonta n’emuluma nnyo, n’akoowoola Yakuwa ng’agamba nti: “Ggwe otadde mu mukono gw’omuweereza wo obulokozi buno obw’amaanyi, ate kaakano nfe ennyonta era ngwe mu mikono gy’abatali bakomole?” 19 Katonda n’aggula ekinnya ekyali mu Leki, ne muvaamu amazzi.+ Bwe yanywa, n’addamu amaanyi n’atereera. Eyo ye nsonga lwaki ekifo ekyo yakituuma Eni-kakkole,* era kiri mu Leki n’okutuusa leero.
20 Yalamula Isirayiri okumala emyaka 20+ mu biseera by’Abafirisuuti.