2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
31 Ebyo bwe byaggwa, Abayisirayiri bonna abaaliwo ne bagenda mu bibuga bya Yuda ne bamenyaamenya empagi ezisinzibwa,+ ne batemaatema ebikondo ebisinzibwa,*+ era ne bamenyaamenya n’ebifo ebigulumivu+ n’ebyoto+ mu Yuda yonna ne mu Benyamini ne mu Efulayimu ne mu Manase+ okutuusa lwe baabisaanyizaawo ddala. Oluvannyuma Abayisirayiri bonna ne baddayo mu bibuga byabwe, buli muntu ku butaka bwe.
2 Awo Keezeekiya n’alonda bakabona n’Abaleevi okusinziira ku bibinja byabwe,+ buli kabona na buli Muleevi ng’obuweereza bwe bwe bwali,+ okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka ez’emirembe, okuweereza n’okwebaza n’okutendereza Katonda ku miryango gyonna egy’empya* za Yakuwa.+ 3 Ebimu ku bintu bya kabaka byaweebwayo okuba ebiweebwayo ebyokebwa,+ ebiweebwayo ebyokebwa eby’oku makya n’eby’akawungeezi,+ era n’ebiweebwayo ebyokebwa eby’oku Ssabbiiti,+ ne ku kuboneka kw’omwezi,+ ne ku mbaga,+ nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Yakuwa.
4 Ate era kabaka yagamba abantu b’omu Yerusaalemi bawenga bakabona n’Abaleevi omugabo gwabwe,+ basobole okukolera ddala* byonna amateeka ga Yakuwa bye galagira. 5 Ekiragiro ekyo olwali okuyisibwa, Abayisirayiri ne baleeta mu bungi ebibala ebibereberye eby’emmere ey’empeke, n’omwenge omusu, n’amafuta,+ n’omubisi, n’ebirala byonna bye baalimanga mu nnimiro zaabwe;+ baaleeta mu bungi ekitundu ekimu eky’ekkumi eky’ebintu byonna.+ 6 Abantu ba Isirayiri n’aba Yuda abaali babeera mu bibuga bya Yuda nabo baaleeta ekitundu ekimu eky’ekkumi eky’ente n’endiga n’ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebitukuvu+ ebyatukuzibwa okuba ebya Yakuwa Katonda waabwe. Baabireeta ne babituuma mu ntuumu nnyingi. 7 Mu mwezi ogw’okusatu+ mwe baatandikira okutuuma entuumu z’ebintu ebyaweebwayo, ne bamaliriza mu mwezi ogw’omusanvu.+ 8 Keezeekiya n’abaami bwe bajja ne balaba entuumu ezo, ne batendereza Yakuwa era ne bawa abantu be Isirayiri omukisa.
9 Awo Keezeekiya n’abuuza bakabona n’Abaleevi ebikwata ku ntuumu, 10 Azaliya kabona omukulu ow’ennyumba ya Zadooki n’amugamba nti: “Okuva lwe baatandika okuleeta mu nnyumba ya Yakuwa bye bawaayo,+ abantu balya ne bakkuta era ne wafikkawo bingi; kubanga Yakuwa awadde abantu be omukisa, era bino byonna bye bifisseewo.”+
11 Awo Keezeekiya n’alagira bategeke amaterekero g’ennyumba*+ ya Yakuwa; bwe batyo ne bagategeka. 12 Baaleetanga ebintu eby’okuwaayo, n’ekimu eky’ekkumi,+ n’ebintu ebitukuvu, era kino baakikolanga n’obwesigwa. Konaniya Omuleevi ye yali akulira ogw’okubirabirira, ate muganda we Simeeyi ye yali amuddirira. 13 Yekyeri ne Azaziya ne Nakasi ne Asakeri ne Yerimosi ne Yozabadi ne Eryeri ne Isumakiya ne Makasi ne Benaya be baali abalabirizi abaayambangako Konaniya ne Simeeyi muganda we nga Kabaka Keezeekiya bwe yalagira, era Azaliya ye yali akulira ennyumba ya Katonda ow’amazima. 14 Koole mutabani wa Imuna, Omuleevi omukuumi w’oku mulyango ogw’ebuvanjuba,+ ye yali avunaanyizibwa ku ebyo ebyaweebwangayo kyeyagalire+ eri Katonda ow’amazima, era yagabanyangamu ebintu bye baawanga Yakuwa+ n’ebintu ebitukuvu ennyo.+ 15 Era ye yali akulira Edeni ne Miniyamini ne Yesuwa ne Semaaya ne Amaliya ne Sekaniya, abaali mu bibuga bya bakabona,+ abaakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okuwanga baganda baabwe ab’omu bibinja omugabo gwabwe,+ abato n’abakulu kyenkanyi. 16 Ng’oggyeeko abo, abasajja n’abaana ab’obulenzi, okuva ku b’emyaka esatu n’okudda waggulu abaawandiikibwa mu nnyiriri z’obuzaale bwabwe, abajjanga buli lunaku okuweereza mu nnyumba ya Yakuwa n’okukola emirimu gy’omu bibinja byabwe, nabo baaweebwanga omugabo gwabwe.
17 Ennyiriri z’obuzaale bwa bakabona zaawandiikibwa okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe,+ era n’ez’Abaleevi okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu,+ okusinziira ku buvunaanyizibwa bw’ebibinja byabwe.+ 18 Mu nnyiriri z’obuzaale mwalimu abaana baabwe bonna, ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, awamu ne bawala baabwe, ekibiina kyabwe kyonna—kubanga beekuuma nga batukuvu okukola omulimu omutukuvu olw’obwesigwa bwabwe— 19 ne bazzukulu ba Alooni, bakabona abaali babeera mu malundiro agaali geetoolodde ebibuga byabwe.+ Mu bibuga byonna mwalimu abasajja abaalondebwa okugabiranga emmere abasajja n’abaana ab’obulenzi bonna ab’omu lulyo lwa bakabona na buli yenna eyali awandiikiddwa mu nnyiriri z’obuzaale ez’Abaleevi.
20 Keezeekiya yakola bw’atyo mu Yuda yonna, era yeeyongera okukola ebirungi era ebituufu mu maaso ga Yakuwa Katonda we era yali mwesigwa gy’ali. 21 Buli kye yatandika okukola okusobola okunoonya Katonda we, ka kibe nga kyali kikwata ku buweereza obw’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima+ oba ku Mateeka n’ebiragiro, yakikola n’omutima gwe gwonna, era yatuuka ku buwanguzi.