LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yeremiya 23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Abasumba abalungi n’ababi (1-4)

      • Emirembe mu bufuzi ‘bw’omusika omutuukirivu’ (5-8)

      • Bannabbi ab’obulimba basalirwa omusango (9-32)

      • “Omugugu” gwa Yakuwa (33-40)

Yeremiya 23:1

Marginal References

  • +Yer 10:21; 50:6; Ezk 34:2

Yeremiya 23:2

Marginal References

  • +Ezk 34:5

Yeremiya 23:3

Marginal References

  • +Is 11:11; 35:10; Yer 29:14; 31:8
  • +Yer 50:19; Ezk 34:14; Mi 2:12
  • +Ma 30:3, 5; Am 9:14; Zek 10:8

Yeremiya 23:4

Marginal References

  • +Yer 3:15; Yok 21:15; Bik 20:28

Yeremiya 23:5

Footnotes

  • *

    Obut., “mu nnaku ze.”

Marginal References

  • +Is 11:1; 53:2; Yer 33:15, 16; Zek 3:8; Mat 2:23
  • +Luk 1:32, 33
  • +Is 9:7; 11:3, 4; 32:1

Yeremiya 23:6

Marginal References

  • +Zek 10:6
  • +Ma 33:28; Yer 32:37; Zek 14:11
  • +Is 54:17

Yeremiya 23:7

Marginal References

  • +Yer 16:14, 15

Yeremiya 23:8

Marginal References

  • +Is 43:5; Ezk 34:13; Zef 3:20

Yeremiya 23:10

Marginal References

  • +Yer 3:8, 9; 5:7; 13:27; Ezk 22:11
  • +Is 24:4; Yow. 1:10
  • +Yer 12:4

Yeremiya 23:11

Footnotes

  • *

    Obut., “ensibuka.”

Marginal References

  • +Is 28:7; Yer 5:31; 6:13; Ezk 22:25; Zef 3:4
  • +2By 33:1, 5; 36:14; Yer 7:11; Ezk 8:10, 11; 23:39

Yeremiya 23:12

Marginal References

  • +Yer 13:16

Yeremiya 23:13

Marginal References

  • +Ezk 16:46

Yeremiya 23:14

Footnotes

  • *

    Oba, “bakyewaggula.”

Marginal References

  • +Yer 29:21, 23
  • +Yer 23:26
  • +Is 3:9
  • +Lub 18:20; Ma 32:32; Is 1:10; Yud 7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 3-4

Yeremiya 23:15

Marginal References

  • +Yer 8:14; 9:15

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 3-4

Yeremiya 23:16

Footnotes

  • *

    Obut., “Bagumya emikono gya.”

Marginal References

  • +Yer 27:9; 29:8
  • +Kuk 2:14
  • +Yer 14:14; Ezk 13:3; 22:28

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 3-4

Yeremiya 23:17

Marginal References

  • +Yer 4:10; 6:13, 14; 8:11; Ezk 13:10
  • +Mi 3:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 5

Yeremiya 23:19

Marginal References

  • +Yer 25:32; 30:23, 24

Yeremiya 23:21

Marginal References

  • +Yer 14:14; 27:15; 29:8, 9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 4

Yeremiya 23:22

Marginal References

  • +Yer 25:4, 5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 5

Yeremiya 23:24

Marginal References

  • +Lub 16:7, 13; Nge 15:3; Am 9:2; Beb 4:13
  • +Zb 139:7

Yeremiya 23:25

Marginal References

  • +Ma 18:20; Yer 27:9; 29:21, 23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 4

Yeremiya 23:26

Marginal References

  • +Yer 14:14

Yeremiya 23:27

Marginal References

  • +Bal 3:7; 2Sk 21:1, 3

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    6/2019, lup. 4

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 4

Yeremiya 23:29

Marginal References

  • +Yer 5:14
  • +Beb 4:12

Yeremiya 23:30

Marginal References

  • +Ma 18:20; Yer 14:15; Ezk 13:2, 3

Yeremiya 23:31

Marginal References

  • +Ezk 13:7

Yeremiya 23:32

Marginal References

  • +Zef 3:4
  • +Yer 7:8; Kuk 2:14

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 4

Yeremiya 23:33

Footnotes

  • *

    Oba, “Babasuubiza ebitaliiyo.”

Marginal References

  • +Yer 12:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 11

    11/1/1994, lup. 6

Yeremiya 23:34

Footnotes

  • *

    Oba, “Obubaka obuzito.” Ekigambo ky’Olwebbulaniya kirina amakulu ga mirundi ebiri: “obubaka obuzito okuva eri Katonda” oba “ekintu ekizitowa.”

Yeremiya 23:36

Footnotes

  • *

    Oba, “Buno bwe bubaka obuzito.”

  • *

    Oba, “obubaka obuzito.”

Yeremiya 23:38

Footnotes

  • *

    Oba, “bwe bubaka obuzito.”

  • *

    Oba, “Obubaka obuzito.”

  • *

    Oba, “bwe bubaka obuzito.”

Yeremiya 23:40

Marginal References

  • +Yer 24:9; 42:18; Kuk 5:20; Dan 9:16

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    11/1/1994, lup. 6-7

General

Yer. 23:1Yer 10:21; 50:6; Ezk 34:2
Yer. 23:2Ezk 34:5
Yer. 23:3Is 11:11; 35:10; Yer 29:14; 31:8
Yer. 23:3Yer 50:19; Ezk 34:14; Mi 2:12
Yer. 23:3Ma 30:3, 5; Am 9:14; Zek 10:8
Yer. 23:4Yer 3:15; Yok 21:15; Bik 20:28
Yer. 23:5Is 11:1; 53:2; Yer 33:15, 16; Zek 3:8; Mat 2:23
Yer. 23:5Luk 1:32, 33
Yer. 23:5Is 9:7; 11:3, 4; 32:1
Yer. 23:6Zek 10:6
Yer. 23:6Ma 33:28; Yer 32:37; Zek 14:11
Yer. 23:6Is 54:17
Yer. 23:7Yer 16:14, 15
Yer. 23:8Is 43:5; Ezk 34:13; Zef 3:20
Yer. 23:10Yer 3:8, 9; 5:7; 13:27; Ezk 22:11
Yer. 23:10Is 24:4; Yow. 1:10
Yer. 23:10Yer 12:4
Yer. 23:11Is 28:7; Yer 5:31; 6:13; Ezk 22:25; Zef 3:4
Yer. 23:112By 33:1, 5; 36:14; Yer 7:11; Ezk 8:10, 11; 23:39
Yer. 23:12Yer 13:16
Yer. 23:13Ezk 16:46
Yer. 23:14Yer 29:21, 23
Yer. 23:14Yer 23:26
Yer. 23:14Is 3:9
Yer. 23:14Lub 18:20; Ma 32:32; Is 1:10; Yud 7
Yer. 23:15Yer 8:14; 9:15
Yer. 23:16Yer 27:9; 29:8
Yer. 23:16Kuk 2:14
Yer. 23:16Yer 14:14; Ezk 13:3; 22:28
Yer. 23:17Yer 4:10; 6:13, 14; 8:11; Ezk 13:10
Yer. 23:17Mi 3:11
Yer. 23:19Yer 25:32; 30:23, 24
Yer. 23:21Yer 14:14; 27:15; 29:8, 9
Yer. 23:22Yer 25:4, 5
Yer. 23:24Lub 16:7, 13; Nge 15:3; Am 9:2; Beb 4:13
Yer. 23:24Zb 139:7
Yer. 23:25Ma 18:20; Yer 27:9; 29:21, 23
Yer. 23:26Yer 14:14
Yer. 23:27Bal 3:7; 2Sk 21:1, 3
Yer. 23:29Yer 5:14
Yer. 23:29Beb 4:12
Yer. 23:30Ma 18:20; Yer 14:15; Ezk 13:2, 3
Yer. 23:31Ezk 13:7
Yer. 23:32Zef 3:4
Yer. 23:32Yer 7:8; Kuk 2:14
Yer. 23:33Yer 12:7
Yer. 23:40Yer 24:9; 42:18; Kuk 5:20; Dan 9:16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Yeremiya 23:1-40

Yeremiya

23 “Zisanze abasumba abazikiriza era abasaasaanya endiga ez’omu ddundiro lyange!” Yakuwa bw’agamba.+

2 Kale bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’ayogera ku basumba abalunda abantu bange: “Musaasaanyizza endiga zange; mwazisaasaanya era temuzirabiridde.”+

“Kale ŋŋenda kubabonereza olw’ebikolwa byammwe ebibi,” Yakuwa bw’agamba.

3 “Nja kukuŋŋaanya endiga zange ezisigaddewo okuva mu nsi zonna gye nnazisaasaanyiza,+ era nja kuzikomyawo mu ddundiro lyazo,+ era zijja kuzaala, zaale.+ 4 Nja kuziteerawo abasumba abanaazirundanga obulungi.+ Zijja kuba tezikyeraliikirira era nga tezikyatya, era tewali n’emu ejja kubula,” Yakuwa bw’agamba.

5 “Laba! Ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “lwe ndissaawo omusika* omutuukirivu okuva mu lunyiriri lwa Dawudi.+ Kabaka alifuga+ era alyoleka amagezi era n’akola eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu mu nsi.+ 6 Mu nnaku ze Yuda erirokolebwa,+ era Isirayiri eriba mu mirembe.+ Lino lye linnya ly’aliyitibwa: Yakuwa Bwe Butuukirivu Bwaffe.”+

7 “Naye ekiseera kijja,” Yakuwa bw’agamba, “lwe bataligamba nti, ‘Nga Yakuwa bw’ali omulamu, eyaggya abantu ba Isirayiri mu nsi ya Misiri!’+ 8 wabula nti: ‘Nga Yakuwa bw’ali omulamu eyaggya bazzukulu b’ennyumba ya Isirayiri mu nsi ey’ebukiikakkono ne mu nsi zonna gye yali abasaasaanyirizza n’abazza,’ era balibeera mu nsi yaabwe.”+

9 Bannabbi mbagamba nti:

Omutima gwange munda mu nze gumenyese.

Amagumba gange gonna gakankana.

Nninga omuntu atamidde

Nninga omuntu anywedde n’agangayira,

Olwa Yakuwa n’olw’ebigambo bye ebitukuvu.

10 Kubanga ensi ejjudde abenzi;+

Ensi ekungubaga+ olw’okuba ekolimiddwa

Omuddo ogw’omu lukoola gukaze.+

Empisa zaabwe mbi, era bakozesa bubi obuyinza bwabwe.

11 “Bannabbi ne bakabona boonoonefu.*+

Ne mu nnyumba yange nsanzeemu ebintu ebibi bye bakola,”+ Yakuwa bw’agamba.

12 “Ekkubo lyabwe lijja kuba lya kaseerezi era nga likutte ekizikiza;+

Bajja kubasindika era bajja kugwa.

Kubanga nja kubatuusaako akabi

Mu mwaka gwe banaabonerezebwamu,” Yakuwa bw’agamba.

13 “Bannabbi b’omu Samaliya+ mbalabyemu ekintu ekibi ennyo.

Bye balagula babiragula ku lwa Bbaali,

Era bawabya abantu bange Isirayiri.

14 Ne bannabbi b’omu Yerusaalemi mbalabyemu ebintu ebibi ennyo.

Benzi+ era boogera eby’obulimba;+

Bawagira* abakozi b’ebibi,

Era tebalekaayo bibi bye bakola.

Gye ndi bonna balinga Sodomu,+

Era abantu baamu balinga Ggomola.”+

15 Kale bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’ayogera ku bannabbi:

“Ŋŋenda kubaliisa omususa

Era ŋŋenda kubawa amazzi ag’okunywa agalimu obutwa.+

Kubanga bannabbi b’omu Yerusaalemi be baviiriddeko obwewagguzi okubuna mu nsi yonna.”

16 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:

“Temuwuliriza bigambo bannabbi bye babagamba.+

Babalimba.*

Okwolesebwa kwe boogerako kuva mu mitima gyabwe,+

So si mu kamwa ka Yakuwa.+

17 Enfunda n’enfunda bagamba abo abatanzisaamu kitiibwa nti,

‘Yakuwa agambye nti: “Mujja kuba mu mirembe.”’+

Era abo bonna abagugubira ku ky’okugoberera emitima gyabwe emikakanyavu babagamba nti,

‘Tewali kabi kajja kubatuukako.’+

18 Kubanga ani eyali ayimiridde mu abo abali okumpi ne Yakuwa

Asobole okulaba n’okuwulira ekigambo kye?

Ani assizzaayo omwoyo eri ekigambo kye asobole okukiwulira?

19 Laba! Embuyaga ya Yakuwa ejja kujja n’obusungu bungi;

Okufaananako omuyaga ogw’amaanyi, ejja kukuntira ku mitwe gy’ababi.+

20 Obusungu bwa Yakuwa tebujja kukkakkana

Okutuusa lw’anaatuukiriza ebiruubirirwa by’omutima gwe.

Mu nnaku ez’enkomerero mulikitegeera bulungi.

21 Bannabbi saabatuma, naye baagenda.

Saayogera nabo, naye baalagula.+

22 Naye singa baali bayimiridde mu abo abali okumpi nange,

Bandireetedde abantu bange okuwulira ebigambo byange

Era bandibaleetedde okuleka ekkubo lyabwe ebbi n’ebikolwa byabwe ebibi.”+

23 “Ndi Katonda ali okumpi wokka,” Yakuwa bw’agamba, “so si Katonda ali n’ewala?”

24 “Waliwo omuntu yenna asobola okwekweka mu kifo ekyekusifu gye sisobola kumulabira?”+ Yakuwa bw’agamba.

“Eriyo ekintu kyonna mu ggulu ne ku nsi kye sisobola kulaba?”+ Yakuwa bw’agamba.

25 “Mpulidde bannabbi abalagula eby’obulimba mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nnaloose ekirooto! Nnaloose ekirooto!’+ 26 Okulagula eby’obulimba kulituusa wa okuba mu mitima gya bannabbi? Be bannabbi aboogera obulimba obuli mu mitima gyabwe.+ 27 Baagala okwerabiza abantu bange erinnya lyange olw’ebirooto bye babuuliragana, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Bbaali.+ 28 Nnabbi aloose ekirooto k’attottole by’aloose, naye oyo alina ekigambo kyange k’ayogere ekigambo kyange mu mazima.”

“Essubi n’emmere ey’empeke birina kye bifaanaganya?” Yakuwa bw’agamba.

29 “Ekigambo kyange tekiri ng’omuliro?”+ Yakuwa bw’agamba; “era tekiri ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?”+

30 “Ŋŋenda kubonereza bannabbi abanyoolanyoola ebigambo byange basobole okubuulira abantu bo bye baagala,”+ Yakuwa bw’agamba.

31 “Ŋŋenda kubonereza bannabbi,” Yakuwa bw’agamba, “abo aboogera ebigambo ebyabwe ku bwabwe nti, ‘Ayogedde!’”+

32 “Ŋŋenda kubonereza bannabbi aboogera ebirooto eby’obulimba,” Yakuwa bw’agamba, “ne bawabya abantu bange olw’obulimba bwabwe n’okwewaana kwabwe.”+

“Saabatuma era saabalagira. N’olwekyo tebalina kye bajja kugasa bantu bano,”+ Yakuwa bw’agamba.

33 “Ate era abantu bano oba nnabbi oba kabona bwe bakubuuza nti, ‘Omugugu* gwa Yakuwa kye ki?’ ojja kubaddamu nti, ‘“Mmwe mugugu! Era nja kubasuula eri,”+ Yakuwa bw’agamba.’ 34 Era bwe wabaawo nnabbi oba kabona oba omuntu agamba nti, ‘Guno gwe mugugu* gwa Yakuwa!’ Omuntu oyo n’ab’omu nnyumba ye nja kubabonereza. 35 Buli omu ku mmwe abuuza munne ne muganda we nti, ‘Yakuwa azzeemu ki? Era Yakuwa ayogedde ki?’ 36 Naye omugugu* gwa Yakuwa temuddamu kugwogerako, kubanga buli muntu ekigambo kye gwe mugugu,* era mukyusizza ebigambo bya Katonda omulamu, Yakuwa ow’eggye, Katonda waffe.

37 “Bw’oti bw’onoobuuza nnabbi, ‘Yakuwa akuzzeemu ki? Era Yakuwa ayogedde ki? 38 Era bwe muneeyongera okugamba nti, “Omugugu* gwa Yakuwa!” bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Olw’okuba mugamba nti, ‘Ekigambo kino gwe mugugu* gwa Yakuwa,’ ng’ate mmaze okubagamba nti, ‘Temwogera nti: “Omugugu* gwa Yakuwa!”’ 39 laba! Nja kubasitula mbakasuke okuva we ndi, mmwe n’ekibuga kye nnabawa ne bajjajjammwe. 40 Era nja kubaleetako obuswavu obutaliggwaawo n’okufeebezebwa okutaliggwaawo era okutalyerabirwa.”’”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share