Okuva
27 “Ojja kukola ekyoto mu mbaawo z’omuti gwa sita;+ obuwanvu kijja kuba emikono* etaano, n’obugazi emikono etaano. Kijja kuba n’enjuyi nnya ezenkanankana, era obugulumivu kijja kuba emikono esatu.+ 2 Ojja kukola amayembe+ ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gajja kuba wamu n’ekyoto, era ojja kukibikkako ekikomo.+ 3 Ojja kukola obulobo obw’okuyooleramu evvu lyakyo,* n’ebitiiyo, n’ebbakuli, n’amakabi, n’eby’okuyooleramu olunyata; ebintu byakyo byonna ojja kubikola mu kikomo.+ 4 Ekyoto ojja kukikolera ekitindiro eky’ekikomo; era ojja kukola empeta nnya ez’ekikomo, emu ku buli nsonda ennya. 5 Ekitindiro ojja kukiteeka munda, mu makkati g’ekyoto, wansi w’omugo gwakyo. 6 Ekyoto ojja kukikolera emisituliro mu muti gwa sita ogibikkeko ekikomo. 7 Emisituliro gijja kuyingizibwa mu mpeta era gijja kubeeranga ku njuyi zaakyo ebbiri nga kisitulibwa.+ 8 Ekyoto ojja kukikola mu mbaawo nga kiringa essanduuko etalina ntobo na kisaanikira. Kijja kukolebwa nga bwe yakulaga ku lusozi.+
9 “Ojja kukola oluggya+ lwa weema entukuvu. Ku luuyi olw’ebukiikaddyo, oluggya lujja kubaako entimbe eza wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, era oluuyi olwo lujja kuba emikono 100 obuwanvu.+ 10 Lujja kubaako empagi 20 n’obutoffaali 20 obw’ekikomo obulimu ebituli. Amalobo g’empagi n’ebiyunga* byazo bijja kuba bya ffeeza. 11 Entimbe ez’oku luuyi olw’ebukiikakkono nazo zijja kuba emikono 100 obuwanvu; empagi zaalwo zijja kuba 20, obutoffaali bwazo obw’ekikomo obulimu ebituli bujja kuba 20, ate amalobo n’ebiyunga* by’empagi bijja kuba bya ffeeza. 12 Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya, wajja kubaayo entimbe za mikono 50, nga zenkana obugazi bw’oluggya; empagi zijja kuba kkumi, n’obutoffaali obulimu ebituli bujja kuba kkumi. 13 Obugazi bw’oluggya ku luuyi olw’ebuvanjuba bujja kuba emikono 50. 14 Entimbe ku luuyi olwa ddyo olw’omulyango zijja kuba emikono 15; empagi zijja kuba ssatu n’obutoffaali obulimu ebituli+ bujja kuba busatu. 15 N’entimbe ez’oku luuyi olwa kkono olw’omulyango zijja kuba emikono 15; empagi zijja kuba ssatu n’obutoffaali obulimu ebituli bujja kuba busatu.
16 “Omulyango gw’oluggya gujja kuba n’olutimbe lwa mikono 20 obuwanvu nga lukoleddwa mu wuzi eza bbulu, wuzi eza kakobe, wuzi emmyufu, ne wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, nga zonna zirukiddwa wamu;+ empagi zijja kuba nnya, n’obutoffaali bwazo obulimu ebituli+ bujja kuba buna. 17 Empagi zonna okwetooloola oluggya zijja kuba n’ebiyunga ebya ffeeza, n’amalobo aga ffeeza, naye obutoffaali bwazo obulimu ebituli bujja kuba bwa kikomo.+ 18 Obuwanvu bw’oluggya bujja kuba emikono 100,+ obugazi emikono 50, n’obugulumivu emikono 5; entimbe zaalwo zijja kukolebwa mu wuzi ennungi eza kitaani ezirangiddwa, ate obutoffaali bwalwo obulimu ebituli bujja kuba bwa kikomo. 19 Ebintu byonna eby’okukozesa mu buweereza obw’oku weema entukuvu, n’enninga zaayo era n’enninga z’oluggya zonna, bijja kuba bya kikomo.+
20 “Ojja kulagira Abayisirayiri bakuleetere amafuta g’ezzeyituuni amalongoofu ag’okuteeka mu kikondo ky’ettaala, kisobozese ettaala okwakanga bulijjo.+ 21 Buli kawungeezi, Alooni anaakoleezanga ettaala era n’akakasa nti zisigala zaakira mu maaso ga Yakuwa+ okutuusa ku makya, mu weema ey’okusisinkaniramu, ebweru w’olutimbe oluli okumpi n’Obujulirwa.+ Eryo tteeka lya lubeerera Abayisirayiri+ lye banaakwatanga mu mirembe gyabwe gyonna.