2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
4 Era yakola n’ekyoto eky’ekikomo;+ obuwanvu kyali kiweza emikono 20, obugazi emikono 20, n’obugulumivu emikono 10.
2 Era yakola ttanka*+ ey’ekikomo nga ya mikono 10 okuva ku mugo okutuuka ku mugo era nga nneetooloovu; obugulumivu yali emikono 5, era ng’okugipima yonna okugyetooloola kyetaagisa omuguwa gwa mikono 30.+ 3 Wansi waayo okugyetooloola yonna waaliyo obuntu obwalinga obutanga,+ nga buli kkumi kkumi buli mukono okwetooloola ttanka yonna. Obuntu obwo obwalinga obutanga bwali mu nnyiriri bbiri, era bwali bwaweesebwa kuli. 4 Ttanka yali etudde ku nte ennume 12;+ ente 3 zaali zitunudde bukiikakkono, 3 nga zitunudde bugwanjuba, 3 nga zitunudde bukiikaddyo, ne 3 nga zitunudde buvanjuba; ttanka yali ezituddeko, era obubina bwazo bwali butunudde munda. 5 Omubiri gwayo gwali gwenkana ekibatu obugazi;* omugo gwayo gwali ng’omugo gw’ekikopo, era gwalinga ekimuli ky’amalanga. Yali egendamu ebigera bya basi* 3,000.
6 Yakola n’ebbenseni kkumi, ettaano n’aziteeka ku mukono ogwa ddyo, ate ettaano n’aziteeka ku mukono ogwa kkono,+ nga za kwolezaamu. Baazoolezangamu ebintu ebyakozesebwanga mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa.+ Naye amazzi g’omu ttanka bakabona ge baakozesanga okunaaba.+
7 Era yakola n’ebikondo by’ettaala ebya zzaabu kkumi+ nga bwe byali biteekwa okukolebwa,+ n’abiteeka mu yeekaalu, ebitaano ku mukono ogwa ddyo, n’ebitaano ku mukono ogwa kkono.+
8 Ate era yakola n’emmeeza kkumi n’aziteeka mu yeekaalu, ettaano ku mukono ogwa ddyo, n’ettaano ku mukono ogwa kkono,+ era n’akola n’ebbakuli eza zzaabu 100.
9 Era yakola n’oluggya+ lwa bakabona+ n’oluggya olunene*+ n’enzigi z’oluggya, era enzigi z’empya zombi yazibikkako ekikomo. 10 Ttanka yagiteeka ku luuyi olwa ddyo, okwolekera ebukiikaddyo w’ebuvanjuba.+
11 Kiramu yakola n’ebiyoolerwamu evvu, ebitiiyo, n’ebbakuli.+
Bw’atyo Kiramu n’amaliriza omulimu gwonna ogw’ennyumba ya Katonda ow’amazima gwe yakolera Kabaka Sulemaani:+ 12 empagi ebbiri+ n’emitwe egyali ng’ebbakuli egyali waggulu ku zo, n’obutimba obubiri+ obwali obw’okubikka ku mitwe egyalinga ebbakuli egyali waggulu ku mpagi, 13 n’enkomamawanga 400+ ezaali ez’okuteeka ku butimba obubiri, nga buli katimba ka kubaako ennyiriri bbiri ez’enkomamawanga, nga bwali bwa kubikka ku mitwe ebiri egyali ng’ebbakuli egyali waggulu ku mpagi,+ 14 n’ebigaali ekkumi n’ebbenseni ekkumi ezaali ku bigaali;+ 15 ne ttanka n’ente 12 ezaali wansi waayo,+ 16 n’ebiyoolerwamu evvu n’ebitiiyo n’amakabi+ n’ebintu byabyo byonna Kiramu-abivu+ bye yakola mu kikomo ekizigule. Yabikolera Kabaka Sulemaani nga bya mu nnyumba ya Yakuwa. 17 Ebintu ebyo kabaka yabikolera mu ttaka ery’ebbumba, mu kitundu kya Yoludaani wakati wa Sukkosi+ ne Zereda. 18 Bw’atyo Sulemaani n’akola ebintu ebyo byonna mu bungi; obuzito bw’ekikomo ekyakozesebwa tebwamanyika.+
19 Sulemaani yakola ebintu byonna+ eby’ennyumba ya Katonda ow’amazima: ekyoto ekya zzaabu;+ emmeeza+ eyali ey’okuteekako emigaati egy’okulaga;+ 20 ebikondo by’ettaala n’ettaala zaakwo eza zzaabu omulongoofu,+ zaakirenga mu maaso g’Awasinga Obutukuvu* ng’etteeka bwe liri; 21 ebimuli, ettaala, ne magalo, ebya zzaabu, zzaabu alongooseddwa ennyo; 22 ebizikiza omuliro, ebbakuli, ebikopo, n’eby’okuteekamu amanda, nga bya zzaabu omulongoofu; n’emiryango gy’ennyumba, n’enzigi zaayo ez’omunda ez’Awasinga Obutukuvu+ n’ez’ennyumba ya yeekaalu, nga bya zzaabu.+