LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Bassekabaka 25
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Nebukadduneeza azingiza Yerusaalemi (1-7)

      • Yerusaalemi ne yeekaalu bizikirizibwa; okuwaŋŋangusibwa okw’okubiri (8-21)

      • Gedaliya afuulibwa gavana (22-24)

      • Gedaliya atemulwa; abantu baddukira e Misiri (25, 26)

      • Yekoyakini ateebwa e Babulooni (27-30)

2 Bassekabaka 25:1

Marginal References

  • +Yer 27:8; 43:10; Dan 4:1
  • +2By 36:17; Yer 34:2; Ezk 24:1, 2
  • +Is 29:3; Yer 32:2, 28; 39:1; 52:4, 5; Ezk 4:1, 2; 21:21, 22

2 Bassekabaka 25:3

Marginal References

  • +Lev 26:26; Ma 28:53; Yer 37:21; 38:2; Kuk 4:4; Ezk 4:16; 5:10, 12
  • +Yer 52:6-11

2 Bassekabaka 25:4

Marginal References

  • +Yer 21:4; 39:2, 4-7; Ezk 33:21
  • +Ezk 12:12

2 Bassekabaka 25:6

Marginal References

  • +Yer 21:7

2 Bassekabaka 25:7

Marginal References

  • +Yer 32:4, 5; Ezk 12:12, 13; 17:16

2 Bassekabaka 25:8

Marginal References

  • +Yer 40:1
  • +Yer 52:12-14; Kuk 4:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    4/1/2007, lup. 11

2 Bassekabaka 25:9

Footnotes

  • *

    Oba, “olubiri lwa.”

Marginal References

  • +1Sk 9:8; Zb 74:3; 79:1; Is 64:11; Yer 7:14; Kuk 1:10; 2:7; Mi 3:12
  • +1Sk 7:1
  • +Yer 34:22
  • +2By 36:19

2 Bassekabaka 25:10

Marginal References

  • +Nek 1:3; Yer 39:8

2 Bassekabaka 25:11

Marginal References

  • +Yer 15:2; 39:9; 52:15, 30; Ezk 5:2

2 Bassekabaka 25:12

Marginal References

  • +Yer 39:10; 52:16

2 Bassekabaka 25:13

Footnotes

  • *

    Obut., “n’Ennyanja ey’ekikomo.”

Marginal References

  • +1Sk 7:15
  • +1Sk 7:27
  • +1Sk 7:23
  • +2Sk 20:17; Yer 52:17-20

2 Bassekabaka 25:14

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2019

2 Bassekabaka 25:15

Marginal References

  • +1Sk 7:48, 50
  • +2By 24:14; 36:18; Ezr 1:7, 10, 11; Dan 5:2

2 Bassekabaka 25:16

Marginal References

  • +1Sk 7:47

2 Bassekabaka 25:17

Footnotes

  • *

    Omukono gwali gwenkana sentimita 44.5 (inci 17.5). Laba Ebyong. B14.

Marginal References

  • +1Sk 7:15
  • +1Sk 7:16, 20; Yer 52:21-23

2 Bassekabaka 25:18

Marginal References

  • +Ezr 7:1
  • +Yer 21:1, 2; 29:25, 29
  • +Yer 52:24-27

2 Bassekabaka 25:20

Marginal References

  • +2Sk 25:8; Yer 39:9; 40:1
  • +Yer 39:5

2 Bassekabaka 25:21

Marginal References

  • +Kbl 34:2, 8; 1Sk 8:65
  • +Ma 28:36, 64; 2Sk 23:27; Yer 25:11

2 Bassekabaka 25:22

Marginal References

  • +Yer 39:13, 14
  • +Yer 26:24
  • +2Sk 22:8
  • +Yer 40:5, 6

2 Bassekabaka 25:23

Marginal References

  • +Yer 40:7-9

2 Bassekabaka 25:24

Marginal References

  • +Yer 27:12

2 Bassekabaka 25:25

Footnotes

  • *

    Obut., “ow’omu zzadde ly’obwakabaka.”

Marginal References

  • +Yer 40:15
  • +Yer 41:1, 2

2 Bassekabaka 25:26

Marginal References

  • +Yer 42:14; 43:4, 7
  • +Yer 41:17, 18

2 Bassekabaka 25:27

Footnotes

  • *

    Obut., “yayimusa omutwe gwa.”

Marginal References

  • +2Sk 24:8, 12; Yer 24:1; Mat 1:11
  • +Yer 52:31-34

General

2 Bassek. 25:1Yer 27:8; 43:10; Dan 4:1
2 Bassek. 25:12By 36:17; Yer 34:2; Ezk 24:1, 2
2 Bassek. 25:1Is 29:3; Yer 32:2, 28; 39:1; 52:4, 5; Ezk 4:1, 2; 21:21, 22
2 Bassek. 25:3Lev 26:26; Ma 28:53; Yer 37:21; 38:2; Kuk 4:4; Ezk 4:16; 5:10, 12
2 Bassek. 25:3Yer 52:6-11
2 Bassek. 25:4Yer 21:4; 39:2, 4-7; Ezk 33:21
2 Bassek. 25:4Ezk 12:12
2 Bassek. 25:6Yer 21:7
2 Bassek. 25:7Yer 32:4, 5; Ezk 12:12, 13; 17:16
2 Bassek. 25:8Yer 40:1
2 Bassek. 25:8Yer 52:12-14; Kuk 4:12
2 Bassek. 25:91Sk 9:8; Zb 74:3; 79:1; Is 64:11; Yer 7:14; Kuk 1:10; 2:7; Mi 3:12
2 Bassek. 25:91Sk 7:1
2 Bassek. 25:9Yer 34:22
2 Bassek. 25:92By 36:19
2 Bassek. 25:10Nek 1:3; Yer 39:8
2 Bassek. 25:11Yer 15:2; 39:9; 52:15, 30; Ezk 5:2
2 Bassek. 25:12Yer 39:10; 52:16
2 Bassek. 25:131Sk 7:15
2 Bassek. 25:131Sk 7:27
2 Bassek. 25:131Sk 7:23
2 Bassek. 25:132Sk 20:17; Yer 52:17-20
2 Bassek. 25:151Sk 7:48, 50
2 Bassek. 25:152By 24:14; 36:18; Ezr 1:7, 10, 11; Dan 5:2
2 Bassek. 25:161Sk 7:47
2 Bassek. 25:171Sk 7:15
2 Bassek. 25:171Sk 7:16, 20; Yer 52:21-23
2 Bassek. 25:18Ezr 7:1
2 Bassek. 25:18Yer 21:1, 2; 29:25, 29
2 Bassek. 25:18Yer 52:24-27
2 Bassek. 25:202Sk 25:8; Yer 39:9; 40:1
2 Bassek. 25:20Yer 39:5
2 Bassek. 25:21Kbl 34:2, 8; 1Sk 8:65
2 Bassek. 25:21Ma 28:36, 64; 2Sk 23:27; Yer 25:11
2 Bassek. 25:22Yer 39:13, 14
2 Bassek. 25:22Yer 26:24
2 Bassek. 25:222Sk 22:8
2 Bassek. 25:22Yer 40:5, 6
2 Bassek. 25:23Yer 40:7-9
2 Bassek. 25:24Yer 27:12
2 Bassek. 25:25Yer 40:15
2 Bassek. 25:25Yer 41:1, 2
2 Bassek. 25:26Yer 42:14; 43:4, 7
2 Bassek. 25:26Yer 41:17, 18
2 Bassek. 25:272Sk 24:8, 12; Yer 24:1; Mat 1:11
2 Bassek. 25:27Yer 52:31-34
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Bassekabaka 25:1-30

2 Bassekabaka

25 Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Zeddeekiya, mu mwezi ogw’ekkumi, ku lunaku olw’ekkumi, Kabaka Nebukadduneeza+ owa Babulooni yagenda n’eggye lye lyonna okulumba Yerusaalemi.+ Yasiisira okukirwanyisa era n’akizimbako ekigo,+ 2 era ekibuga kyazingizibwa okutuusa mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Kabaka Zeddeekiya. 3 Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogw’okuna, enjala yali ya maanyi nnyo+ mu kibuga, era abantu b’omu nsi eyo tebaalina mmere.+ 4 Bbugwe w’ekibuga yakubibwamu ekituli;+ Abakaludaaya bwe baali nga bazingizza ekibuga, abasirikale bonna baakiddukamu ekiro nga bayita mu mulyango ogwali wakati w’ebisenge ebibiri okumpi n’ennimiro ya kabaka; ate ye kabaka yayitira mu kkubo erigenda mu Alaba.+ 5 Naye eggye ly’Abakaludaaya lyawondera kabaka, ne limusanga mu ddungu lya Yeriko, era eggye lye lyonna ne limwabulira ne lisaasaana. 6 Awo ne bakwata kabaka+ ne bamutwala eri kabaka wa Babulooni e Libula, ne bamusalira omusango. 7 Batta batabani ba Zeddeekiya ng’alaba, Nebukadduneeza n’amuggyamu amaaso, n’amusiba empingu ez’ekikomo n’amutwala e Babulooni.+

8 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni, mu mwezi ogw’okutaano, ku lunaku olw’omusanvu, Nebuzaladaani+ omuweereza wa kabaka wa Babulooni eyali akulira abakuumi, yagenda e Yerusaalemi.+ 9 Yayokya ennyumba ya Yakuwa,+ ennyumba ya* kabaka,+ n’amayumba gonna ag’omu Yerusaalemi;+ yayokya n’amayumba ag’abantu bonna ab’ebitiibwa.+ 10 Eggye ly’Abakaludaaya lyonna eryali n’omukulu w’abakuumi lyamenya bbugwe wa Yerusaalemi.+ 11 Nebuzaladaani omukulu w’abakuumi yatwala abantu abaali basigadde mu kibuga mu buwaŋŋanguse, n’abo abaali bakyuse ne badda ku ludda lwa kabaka wa Babulooni, awamu n’abantu abalala bonna.+ 12 Naye yaleka abamu ku bantu abaali basingayo okuba abaavu mu nsi eyo okukolanga mu nnimiro z’emizabbibu n’okukolanga emirimu egy’obuwaze.+ 13 Abakaludaaya baamenyaamenya empagi ez’ekikomo+ ezaali mu nnyumba ya Yakuwa, n’ebigaali,+ ne ttanka ey’ekikomo*+ ebyali mu nnyumba ya Yakuwa, ekikomo ne bakitwala e Babulooni.+ 14 Ate era baatwala n’ebiyoolerwamu evvu, n’ebitiiyo, n’ebizikiza omuliro, n’ebikopo, n’ebintu ebirala byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu yeekaalu. 15 Omukulu w’abakuumi yatwala ebiyoolerwamu olunyata n’ebbakuli ebya zzaabu+ ne ffeeza.+ 16 Empagi ebbiri, ne ttanka, n’ebigaali Sulemaani bye yakolera ennyumba ya Yakuwa, ekikomo kyabyo kyali kingi nnyo nga tekiyinza na kupimibwa.+ 17 Empagi emu yali emikono* 18 obugulumivu,+ ng’eriko omutwe ogw’ekikomo, era omutwe gwali emikono esatu obugulumivu; omutwe gwali gwetooloddwa akatimba n’enkomamawanga, nga byonna bya kikomo.+ Empagi ey’okubiri n’akatimba kaayo nayo yali bw’etyo.

18 Ate era omukulu w’abakuumi yatwala Seraya+ eyali kabona omukulu, ne Zeffaniya+ kabona eyali amuddirira, n’abakuumi abasatu ab’oku mulyango.+ 19 Mu kibuga yaggyamu omukungu omu ow’omu lubiri eyali akulira abasirikale, banne ba kabaka ab’oku lusegere bataano abaasangibwa mu kibuga, omuwandiisi ow’omukulu w’eggye eyakunganga abantu, era n’abasajja 60 ku bantu aba bulijjo ab’omu nsi abaali bakyali mu kibuga. 20 Nebuzaladaani+ omukulu w’abakuumi yabatwala eri kabaka wa Babulooni e Libula.+ 21 Kabaka wa Babulooni yabattira e Libula mu kitundu ky’e Kamasi.+ Bwe batyo abantu b’omu Yuda ne baggibwa mu nsi yaabwe ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.+

22 Kabaka Nebukadduneeza owa Babulooni yalonda Gedaliya+ mutabani wa Akikamu,+ mutabani wa Safani,+ okufuga abantu be yali alese mu Yuda.+ 23 Abakulu b’eggye bonna n’abasajja baabwe bwe baawulira nti kabaka wa Babulooni alonze Gedaliya, amangu ago ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa. Abaagenda be bano: Isimayiri mutabani wa Nesaniya, Yokanani mutabani wa Kaleya, Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa, Yaazaniya mutabani wa Maakasi, awamu n’abasajja baabwe.+ 24 Gedaliya yabalayirira bo n’abasajja baabwe, era n’abagamba nti: “Temutya kubeera baweereza ba Bakaludaaya. Mubeere mu nsi eno muweereze kabaka wa Babulooni, mujja kuba bulungi.”+

25 Mu mwezi ogw’omusanvu, Isimayiri+ mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Erisaama, eyali ow’omu lulyo olulangira,* yagenda n’abasajja abalala kkumi ne batta Gedaliya awamu n’Abayudaaya era n’Abakaludaaya abaali naye e Mizupa.+ 26 Awo abantu bonna, abato n’abakulu, nga mw’otwalidde n’abakulu b’eggye, ne bagenda e Misiri,+ olw’okuba baali batya Abakaludaaya.+

27 Mu mwaka ogw’asatu mu omusanvu nga Yekoyakini+ kabaka wa Yuda ali mu buwaŋŋanguse, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, ku lunaku olw’abiri mu omusanvu, Kabaka Eviru-merodaaki owa Babulooni yasumulula* Kabaka Yekoyakini owa Yuda mu kkomera. Ogwo gwe gwali omwaka ogusooka ogw’obufuzi bwa Eviru-merodaaki.+ 28 Eviru-merodaaki yayogera ne Yekoyakini mu ngeri ey’ekisa, n’agulumiza entebe ye ey’obwakabaka okusinga entebe za bakabaka abalala abaali naye e Babulooni. 29 Yekoyakini yaggyamu ebyambalo bye eby’ekkomera n’aliiranga emmere mu maaso ga kabaka obulamu bwe bwonna. 30 Yaweebwanga omugabo gw’emmere okuva eri kabaka buli lunaku, obulamu bwe bwonna.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share