LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Ebyomumirembe Ekisooka 15
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:1

Marginal References

  • +2Sa 7:1, 2; 1By 16:1; Zb 132:1-5

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:2

Marginal References

  • +Kbl 4:15; Ma 10:8

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:3

Marginal References

  • +2Sa 6:12; 1By 13:5

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:4

Marginal References

  • +Kbl 3:2, 3
  • +1By 6:1

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:6

Marginal References

  • +1By 6:29, 30

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:7

Marginal References

  • +1By 23:6-8

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:8

Marginal References

  • +Kuv 6:18, 22

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:10

Marginal References

  • +Kuv 6:16, 18

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:11

Marginal References

  • +2Sa 8:17
  • +1Sa 22:20; 1Sk 2:27, 35

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:13

Marginal References

  • +2Sa 6:3
  • +2Sa 6:8
  • +Kbl 4:15; Ma 31:9

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:15

Marginal References

  • +Kuv 25:14; Kbl 4:6; 2By 5:9

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:16

Marginal References

  • +Zb 33:2
  • +1By 16:5; 2By 5:12, 13

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:17

Marginal References

  • +1By 6:31, 33; 25:5
  • +1By 6:31, 39; 25:1, 2; Zb 83:obugambo obuli waggulu
  • +1By 6:31, 44

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:18

Marginal References

  • +1By 25:9

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:19

Marginal References

  • +1By 6:31-33
  • +1By 25:1
  • +1By 13:8

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:20

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +Zb 46:obugambo obuli waggulu

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2012

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:21

Footnotes

  • *

    Laba Awanny.

Marginal References

  • +1By 16:4, 5
  • +Zb 6:obugambo obuli waggulu

Indexes

  • Research Guide

    Enkyusa ey’Ensi Empya, lup. 2033

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:22

Marginal References

  • +1By 15:27

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:24

Marginal References

  • +1By 16:4, 6

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:25

Marginal References

  • +1By 13:14
  • +2Sa 6:4, 5, 12

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:26

Marginal References

  • +2Sa 6:13

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:27

Marginal References

  • +2Sa 6:14, 15

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:28

Marginal References

  • +1By 13:8
  • +1By 16:4, 6
  • +2Sa 6:5

1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:29

Marginal References

  • +1By 17:1
  • +1Sa 18:27; 2Sa 3:13, 14
  • +2Sa 6:16

General

1 Byom. 15:12Sa 7:1, 2; 1By 16:1; Zb 132:1-5
1 Byom. 15:2Kbl 4:15; Ma 10:8
1 Byom. 15:32Sa 6:12; 1By 13:5
1 Byom. 15:4Kbl 3:2, 3
1 Byom. 15:41By 6:1
1 Byom. 15:61By 6:29, 30
1 Byom. 15:71By 23:6-8
1 Byom. 15:8Kuv 6:18, 22
1 Byom. 15:10Kuv 6:16, 18
1 Byom. 15:112Sa 8:17
1 Byom. 15:111Sa 22:20; 1Sk 2:27, 35
1 Byom. 15:132Sa 6:3
1 Byom. 15:132Sa 6:8
1 Byom. 15:13Kbl 4:15; Ma 31:9
1 Byom. 15:15Kuv 25:14; Kbl 4:6; 2By 5:9
1 Byom. 15:16Zb 33:2
1 Byom. 15:161By 16:5; 2By 5:12, 13
1 Byom. 15:171By 6:31, 33; 25:5
1 Byom. 15:171By 6:31, 39; 25:1, 2; Zb 83:obugambo obuli waggulu
1 Byom. 15:171By 6:31, 44
1 Byom. 15:181By 25:9
1 Byom. 15:191By 6:31-33
1 Byom. 15:191By 25:1
1 Byom. 15:191By 13:8
1 Byom. 15:20Zb 46:obugambo obuli waggulu
1 Byom. 15:211By 16:4, 5
1 Byom. 15:21Zb 6:obugambo obuli waggulu
1 Byom. 15:221By 15:27
1 Byom. 15:241By 16:4, 6
1 Byom. 15:251By 13:14
1 Byom. 15:252Sa 6:4, 5, 12
1 Byom. 15:262Sa 6:13
1 Byom. 15:272Sa 6:14, 15
1 Byom. 15:281By 13:8
1 Byom. 15:281By 16:4, 6
1 Byom. 15:282Sa 6:5
1 Byom. 15:291By 17:1
1 Byom. 15:291Sa 18:27; 2Sa 3:13, 14
1 Byom. 15:292Sa 6:16
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
1 Ebyomumirembe Ekisooka 15:1-29

1 Ebyomumirembe Ekisooka

15 Dawudi n’ayongera okwezimbira amayumba mu Kibuga kya Dawudi; n’ateekateeka ekifo eky’Essanduuko ya Katonda ow’amazima n’agisimbira weema.+ 2 Dawudi n’agamba nti: “Tewali alina kusitula Ssanduuko ya Katonda ow’amazima okuggyako Abaleevi, kubanga abo Yakuwa be yalonda okusitulanga Essanduuko ya Yakuwa n’okumuweerezanga bulijjo.”+ 3 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Isirayiri yonna e Yerusaalemi okuleeta Essanduuko ya Yakuwa mu kifo kyayo kye yali agitegekedde.+

4 Dawudi n’akuŋŋaanya bazzukulu ba Alooni+ n’Abaleevi:+ 5 ku Bakokasi, Uliyeri omukulu ne baganda be 120; 6 ku Bamerali, Asaya+ omukulu ne baganda be 220; 7 ku Bagerusomu, Yoweeri+ omukulu ne baganda be 130; 8 ku bazzukulu ba Erizafani,+ Semaaya omukulu ne baganda be 200; 9 ku bazzukulu ba Kebbulooni, Eryeri omukulu ne baganda be 80; 10 ku bazzukulu ba Wuziyeeri,+ Amminadaabu omukulu ne baganda be 112. 11 Ate era Dawudi yayita Zadooki+ ne Abiyasaali+ bakabona, n’Abaleevi bano: Uliyeri, Asaya, Yoweeri, Semaaya, Eryeri, ne Amminadaabu, 12 n’abagamba nti: “Mmwe bakulu b’ennyumba za bakitaabwe b’Abaleevi. Mwetukuze, mmwe ne baganda bammwe, muleete Essanduuko ya Yakuwa Katonda wa Isirayiri mu kifo kye ngitegekedde. 13 Ku mulundi ogwasooka si mmwe mwagisitula,+ obusungu bwa Yakuwa ne butubuubuukira+ olw’okuba tetwanoonyereza kumanya nkola ntuufu bw’eri.”+ 14 Awo bakabona n’Abaleevi ne beetukuza okuleeta Essanduuko ya Yakuwa Katonda wa Isirayiri.

15 Awo Abaleevi ne basitulira Essanduuko ya Katonda ow’amazima ku bibegaabega byabwe nga bagisitulira ku misituliro,+ nga Musa bwe yalagira okusinziira ku kigambo kya Yakuwa. 16 Dawudi n’agamba abakulu b’Abaleevi balonde baganda baabwe abayimbi bayimbire waggulu n’essanyu nga bakuba ebivuga bino: ebivuga eby’enkoba, entongooli,+ n’ebitaasa.+

17 Awo Abaleevi ne balonda Kemani+ mutabani wa Yoweeri, ate ku baganda be, Asafu+ mutabani wa Berekiya; ku baganda baabwe Abamerali, Esani+ mutabani wa Kusaya. 18 Baali wamu ne baganda baabwe bano ab’ekibinja eky’okubiri:+ Zekkaliya, Beni, Yaaziyeri, Semiramosi, Yekyeri, Unni, Eriyaabu, Benaya, Maaseya, Mattisiya, Erifereku, Mikuneya, ne Obedi-edomu ne Yeyeri, abakuumi b’oku miryango. 19 Abayimbi bano, Kemani,+ Asafu,+ ne Esani, baalina okukuba ebitaasa eby’ekikomo;+ 20 Zekkaliya ne Aziyeri ne Semiramosi ne Yekyeri ne Unni ne Eriyaabu ne Maaseya ne Benaya, baakuba ebivuga eby’enkoba ebyali bireegeddwa okuvugira mu ddoboozi lya Alamosi;*+ 21 Mattisiya+ ne Erifereku ne Mikuneya ne Obedi-edomu ne Yeyeri ne Azaziya, baakuba entongooli ezaali zireegeddwa okuvugira mu ddoboozi lya Seminisi,*+ okuwa abalala obulagirizi; 22 Kenaniya+ eyali akulira Abaleevi ye yalabirira eby’entambula; kubanga yali mukugu; 23 Berekiya ne Erukaana baali bakuumi ba Ssanduuko. 24 Bakabona bano: Sebaniya ne Yosafati ne Nesaneeri ne Amasayi ne Zekkaliya ne Benaya ne Eriyeza, baafuuwa amakondeere mu ddoboozi erya waggulu mu maaso g’Essanduuko ya Katonda ow’amazima;+ ate Obedi-edomu ne Yekiya nabo baali bakuumi ba Ssanduuko.

25 Dawudi n’abakadde ba Isirayiri n’abaali bakulira enkumi ne bagenda nabo okuggyayo essanduuko ey’endagaano ya Yakuwa mu nnyumba ya Obedi-edomu+ nga bajaganya.+ 26 Katonda ow’amazima bwe yayamba Abaleevi abaasitula essanduuko ey’endagaano ya Yakuwa, baassaddaaka ente ento ennume musanvu n’endiga ennume musanvu.+ 27 Dawudi yali ayambadde ekizibaawo ekitaliiko mikono ekyakolebwa mu lugoye olulungi, era n’Abaleevi bonna abaali basitudde Essanduuko n’abayimbi ne Kenaniya eyali akulira abayimbi abaasitulanga Essanduuko nabo baali bambadde bwe batyo. Dawudi era yali ayambadde ne efodi eya kitaani.+ 28 Abayisirayiri bonna ne batwala essanduuko y’endagaano ya Yakuwa nga bakuba emizira,+ nga bafuuwa eŋŋombe n’amakondeere,+ era nga bakuba ebitaasa, n’ebivuga eby’enkoba n’entongooli mu maloboozi aga waggulu.+

29 Naye essanduuko y’endagaano ya Yakuwa bwe yatuuka mu Kibuga kya Dawudi,+ Mikali+ muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa n’alaba Kabaka Dawudi ng’abuukabuuka era ng’ajaganya; n’amunyooma mu mutima gwe.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share