2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri
7 Sulemaani olwali okumala okusaba,+ omuliro ne guva mu ggulu+ ne gwokya ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era ekitiibwa kya Yakuwa ne kijjula ennyumba.+ 2 Bakabona tebaasobola kuyingira mu nnyumba ya Yakuwa kubanga ekitiibwa kya Yakuwa kyali kijjudde ennyumba ya Yakuwa.+ 3 Abantu ba Isirayiri bonna bwe baalaba ng’omuliro gukka era nga n’ekitiibwa kya Yakuwa kiri ku nnyumba, ne bavunnama obwenyi bwabwe ne butuukira ddala wansi ku mayinja amaalirire, ne beebaza Yakuwa, “kubanga mulungi; okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”
4 Awo kabaka n’abantu bonna ne bawaayo ssaddaaka mu maaso ga Yakuwa.+ 5 Kabaka Sulemaani yawaayo ssaddaaka z’ente 22,000 n’endiga 120,000. Bw’atyo kabaka n’abantu bonna ne batongoza ennyumba ya Katonda ow’amazima.+ 6 Bakabona baali bayimiridde mu bifo byabwe bye baaweererezangamu, n’Abaleevi baali bayimiridde nga bakutte ebivuga eby’okutendereza Yakuwa.+ (Kabaka Dawudi yali yakola ebivuga ebyo bikozesebwenga okwebazanga Yakuwa—“kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe”—nga Dawudi atendereza Katonda ng’ali wamu nabo.*) Bakabona baali bafuuwa amakondeere+ mu ddoboozi erya waggulu nga bali mu maaso g’Abaleevi, ng’Abayisirayiri bonna bayimiridde.
7 Awo Sulemaani n’atukuza wakati w’oluggya olwali mu maaso g’ennyumba ya Yakuwa, kubanga awo we yalina okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa,+ n’amasavu ga ssaddaaka ez’emirembe, kubanga ekyoto eky’ekikomo+ Sulemaani kye yali akoze kyali tekigyaako biweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke+ n’amasavu.+ 8 Mu kiseera ekyo Sulemaani ne Isirayiri yonna baakwata embaga* okumala ennaku musanvu;+ ekibiina kyali kinene nnyo, era baali bava Lebo-kamasi* okutuukira ddala ku Kiwonvu* ky’e Misiri.+ 9 Baatongoza ekyoto okumala ennaku musanvu, era ne bakwata embaga okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omunaana* ne baba n’olukuŋŋaana olw’enjawulo.+ 10 Ku lunaku olw’abiri mu essatu olw’omwezi ogw’omusanvu, n’asiibula abantu ne baddayo mu maka gaabwe nga bajaganya+ era nga bawulira bulungi mu mitima olw’ebirungi Yakuwa bye yali akoledde Dawudi ne Sulemaani n’abantu be Isirayiri.+
11 Bw’atyo Sulemaani n’amaliriza ennyumba ya Yakuwa n’ennyumba ya* kabaka;+ era ebintu byonna ebyali mu mutima gwa Sulemaani bye yali ayagala okukola ku nnyumba ya Yakuwa ne ku nnyumba ye, yabikola bulungi.+ 12 Awo Yakuwa n’alabikira Sulemaani+ ekiro n’amugamba nti: “Mpulidde okusaba kwo, era ekifo kino nkyerondedde okuba ennyumba ey’okuweerangamu ssaddaaka.+ 13 Bwe nnaasibanga eggulu enkuba n’etatonnya oba bwe nnaalagiranga enzige okulya ebimera by’ensi oba bwe nnaasindikanga endwadde mu bantu bange, 14 abantu bange abayitibwa erinnya lyange+ ne beetoowaza+ ne basaba ne bannoonya era ne balekayo amakubo gaabwe amabi,+ nange nnaawuliranga nga nnyima mu ggulu ne mbasonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.+ 15 Amaaso gange ganaatunuuliranga n’amatu gange ganaawuliranga essaala ezinaasabibwanga mu kifo kino.+ 16 Kaakano nnonze ennyumba eno era ngitukuzza erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna,+ era amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga eyo bulijjo.+
17 “Naawe bw’onootambuliranga mu maaso gange nga Dawudi kitaawo bwe yakola, n’okola ebyo byonna bye nkulagidde era n’okwata ebiragiro byange n’amateeka gange,+ 18 awo nja kunyweza entebe y’obwakabaka bwo+ nga bwe nnalagaana ne Dawudi kitaawo+ nga ŋŋamba nti, ‘Tewaalemenga kubaawo musajja wa mu lunyiriri lwo afuga Isirayiri.’+ 19 Naye bwe mulikyuka ne muleka amateeka gange n’ebiragiro byange bye ntadde mu maaso gammwe, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubavunnamira,+ 20 ndibasimbula mu nsi yange gye mbawadde,+ era n’ennyumba eno gye ntukuzizza olw’erinnya lyange ndigyabulira ne ngifuula ekintu ekinyoomebwa* era ekisekererwa mu mawanga gonna.+ 21 Ate era ennyumba eno erifuuka ntuumu ya bifunfugu. Buli aligiyitako aligitunuulira n’awuniikirira+ n’agamba nti: ‘Lwaki Yakuwa yakola bw’ati ensi eno n’ennyumba eno?’+ 22 Balimuddamu nti: ‘Olw’okuba baava ku Yakuwa+ Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ya Misiri+ ne beefunira bakatonda abalala ne babavunnamira era ne babaweereza.+ Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yabaleetako emitawaana egyo gyonna.’”+