LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Eby’Abaleevi 1
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ekiweebwayo ekyokebwa (1-17)

Eby’Abaleevi 1:1

Marginal References

  • +Kuv 40:34

Eby’Abaleevi 1:2

Footnotes

  • *

    Obut., “n’abaana ba Isirayiri.”

Marginal References

  • +Lev 22:18-20

Eby’Abaleevi 1:3

Marginal References

  • +Ma 15:19, 21; Mal 1:14
  • +2Ko 9:7

Eby’Abaleevi 1:5

Marginal References

  • +Beb 10:11
  • +Beb 9:13, 14

Eby’Abaleevi 1:6

Marginal References

  • +Lev 7:8

Eby’Abaleevi 1:7

Marginal References

  • +Lev 6:12

Eby’Abaleevi 1:8

Footnotes

  • *

    Oba, “n’amasavu agali ku nsigo.”

Marginal References

  • +1Sk 18:23

Eby’Abaleevi 1:9

Footnotes

  • *

    Kino kitegeeza ekitundu ky’okugulu ekya wansi.

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Marginal References

  • +Lub 8:20, 21; Kbl 15:2, 3

Eby’Abaleevi 1:10

Marginal References

  • +Lub 4:4
  • +Lev 12:6; 22:18-20

Eby’Abaleevi 1:11

Marginal References

  • +Kuv 29:16-18; Lev 8:18-21; 9:12-14

Eby’Abaleevi 1:12

Footnotes

  • *

    Oba, “n’amasavu agali ku nsigo.”

Eby’Abaleevi 1:13

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

Eby’Abaleevi 1:14

Marginal References

  • +Lev 5:7; 12:8; Luk 2:24

Eby’Abaleevi 1:16

Footnotes

  • *

    Laba obugambo obuli wansi ku Kuv 27:3.

Marginal References

  • +Kuv 27:3; Lev 4:11, 12; 6:10

Eby’Abaleevi 1:17

Footnotes

  • *

    Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”

General

Leev. 1:1Kuv 40:34
Leev. 1:2Lev 22:18-20
Leev. 1:3Ma 15:19, 21; Mal 1:14
Leev. 1:32Ko 9:7
Leev. 1:5Beb 10:11
Leev. 1:5Beb 9:13, 14
Leev. 1:6Lev 7:8
Leev. 1:7Lev 6:12
Leev. 1:81Sk 18:23
Leev. 1:9Lub 8:20, 21; Kbl 15:2, 3
Leev. 1:10Lub 4:4
Leev. 1:10Lev 12:6; 22:18-20
Leev. 1:11Kuv 29:16-18; Lev 8:18-21; 9:12-14
Leev. 1:14Lev 5:7; 12:8; Luk 2:24
Leev. 1:16Kuv 27:3; Lev 4:11, 12; 6:10
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Eby’Abaleevi 1:1-17

Eby’Abaleevi

1 Awo Yakuwa n’ayita Musa n’ayogera naye ng’asinziira mu weema ey’okusisinkaniramu,+ n’amugamba nti: 2 “Yogera n’Abayisirayiri* obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’anaabanga ow’okuwaayo ekiweebwayo eri Yakuwa okuva mu bisolo eby’awaka, anaawangayo ekiweebwayo kye okuva mu nte oba mu ndiga n’embuzi.+

3 “‘Ekiweebwayo kye bwe kibanga ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente, anaawangayo ente ennume ennamu obulungi.+ Anaagiwangayo kyeyagalire+ mu maaso ga Yakuwa ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 4 Anaateekanga omukono gwe ku mutwe gw’ensolo ey’ekiweebwayo ekyokebwa, era enekkirizibwanga ku lulwe okusobola okutangirira ebibi bye.

5 “‘Ente ento ennume enettirwanga mu maaso ga Yakuwa, era batabani ba Alooni, bakabona,+ banaatwalanga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zonna ez’ekyoto+ ekiri ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu. 6 Ensolo ey’ekiweebwayo ekyokebwa eneebaagibwanga n’esalibwamu ebitundutundu.+ 7 Batabani ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omuliro ku kyoto+ ne baguteekako enku. 8 Batabani ba Alooni, bakabona, banaateekanga ebitundutundu by’ekiweebwayo+ awamu n’omutwe, n’amasavu* ku nku eziri ku muliro ku kyoto. 9 Ebyenda byayo n’amagulu gaayo* binaayozebwanga n’amazzi; era byonna kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.*+

10 “‘Ekiweebwayo ky’awaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kibanga kya ndiga ento ennume oba embuzi,+ anaawangayo ennume ennamu obulungi.+ 11 Enettirwanga ku luuyi lw’ekyoto olw’ebukiikakkono mu maaso ga Yakuwa, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto.+ 12 Kabona anaagisalangamu ebitundutundu n’abiteeka ku nku eziri ku muliro ku kyoto awamu n’omutwe gwayo n’amasavu gaayo.* 13 Ebyenda n’amagulu anaabyozanga n’amazzi, era byonna kabona anaabitwalanga n’abyokera ku kyoto. Ekyo kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.*

14 “‘Kyokka bw’anaabanga ow’okuwaayo ebinyonyi ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa, anaawangayo ejjiba oba enjiibwa ento.+ 15 Kabona anaakireetanga ku kyoto n’akiyuza obulago n’akyokera ku kyoto, naye omusaayi gwakyo gunaatonnyolokokeranga ku mabbali g’ekyoto. 16 Anaakimaanyangako ebyoya n’akiggyamu ekisakiro, n’abisuula ku mabbali g’ekyoto ku luuyi olw’ebuvanjuba awateekebwa evvu.*+ 17 Anaakwatanga ebiwaawaatiro byakyo n’akyabuluzaamu, naye takikutulangamu bitundu bibiri. Awo kabona anaakyokeranga ku nku eziri ku muliro ku kyoto. Ekyo kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, eky’evvumbe eddungi.*

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share