Eby’Abaleevi
22 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Gamba Alooni ne batabani be nti basaanidde okwegendereza engeri gye bakwatamu* ebintu ebitukuvu Abayisirayiri bye batukuza ne bawaayo gye ndi,+ baleme okuvvoola erinnya lyange ettukuvu.+ Nze Yakuwa. 3 Bagambe nti, ‘Mu mirembe gyammwe gyonna, omuntu yenna ow’omu zzadde lyammwe atali mulongoofu, anaasembereranga ebintu ebitukuvu Abayisirayiri bye banaawangayo* eri Yakuwa, omuntu oyo anattibwanga.+ Nze Yakuwa. 4 Omuntu yenna ow’omu zzadde lya Alooni anaabanga n’ebigenge+ oba endwadde emuleetera okuvaamu amazzi mu bitundu bye eby’ekyama,+ talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa lw’anaabanga omulongoofu,+ k’abe oyo anaakwatanga ku muntu anaabanga afuuse atali mulongoofu olw’omuntu afudde,+ oba anaabanga avuddemu amazzi g’ekisajja,+ 5 oba anaabanga akutte ku kiramu ekibeera mu bibinja ekitali kirongoofu,+ oba anaabanga akutte ku muntu eyafuuka atali mulongoofu olw’ensonga yonna, era ayinza okumufuula atali mulongoofu.+ 6 Omuntu anaakwatanga ku ebyo byonna taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi era taalyenga ku bintu ebitukuvu, wabula anaanaabanga amazzi.+ 7 Anaabanga mulongoofu ng’enjuba emaze okugwa, era oluvannyuma anaalyanga ku bintu ebitukuvu, kubanga eyo ye mmere ye.+ 8 Era talyanga ensolo yonna esangiddwa ng’efudde oba ekintu kyonna ekitaaguddwataaguddwa ensolo ey’omu nsiko n’afuuka atali mulongoofu.+ Nze Yakuwa.
9 “‘Banaakwatanga ebiragiro byange, baleme okubaako ekibi ne bafa olw’obutatuukiriza ebyo bye mbalagira n’olw’okutyoboola ebintu ebitukuvu. Nze Yakuwa abatukuza.
10 “‘Omuntu atakkirizibwa* talyanga ku bintu ebitukuvu.+ Omugwira abeera ne kabona oba omukozi akolera empeera, talyanga ku kintu kyonna ekitukuvu. 11 Naye kabona bw’agulanga omuntu n’essente ze, omuntu oyo ayinza okubiryako. N’abaddu abaazaalibwa mu nnyumba ya kabona nabo bayinza okulyanga ku mmere ye.+ 12 Muwala wa kabona bw’afumbirwanga omuntu atali kabona, omuwala oyo talyanga ku bintu ebitukuvu ebiweereddwayo. 13 Naye muwala wa kabona bw’afuukanga nnamwandu oba bw’agattululwanga ne bba nga tazadde mwana, era n’akomawo n’abeera mu nnyumba ya kitaawe nga bwe kyali ng’akyali muto, anaalyanga ku mmere ya kitaawe;+ naye omuntu atakkirizibwa tagiryangako.
14 “‘Omuntu bw’anaalyanga ekintu ekitukuvu nga tagenderedde, anaakisasulanga n’agattako kimu kya kutaano eky’omuwendo gw’ekintu ekyo n’akiwa kabona.+ 15 N’olwekyo bakabona tebasaanidde kutyoboola bintu bitukuvu Abayisirayiri bye bawaayo eri Yakuwa,+ 16 ne baleetera Abayisirayiri okubonerezebwa olw’okwonoona nga balya ku bintu ebitukuvu bye baba bawaddeyo; kubanga nze Yakuwa abatukuza.’”
17 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 18 “Gamba Alooni ne batabani be n’Abayisirayiri bonna nti, ‘Omusajja Omuyisirayiri oba omugwira abeera mu Isirayiri, bw’anaaleetanga ekiweebwayo ekyokebwa+ eri Yakuwa okutuukiriza bye yeeyama oba okuwaayo ekiweebwayo ekya kyeyagalire,+ 19 anaaleetanga ente ennume ennamu obulungi,+ endiga ennume, oba embuzi ento ennume, okusobola okusiimibwa. 20 Temuwangayo kintu kyonna ekiriko obulemu,+ kubanga tekijja kubaleetera kusiimibwa.
21 “‘Omuntu bw’aleetanga ssaddaaka ey’emirembe+ eri Yakuwa okutuukiriza obweyamo oba ng’agiwaayo ng’ekiweebwayo ekya kyeyagalire, eneebanga ente oba embuzi oba endiga ennamu obulungi, okusobola okusiimibwa. Tesaanidde kubaako bulemu bwonna. 22 Eyo eyaziba amaaso oba eyamenyeka okugulu oba erina ekiwundu oba ensundo oba ebikakampa ku lususu oba olukuku, temugiwangayo eri Yakuwa, era temugiwangayo ku kyoto ng’ekiweebwayo eri Yakuwa. 23 Ente ennume oba endiga erina okugulu okumu nga kuwanvu oba nga kumpi ku gannaago, onoogiwangayo ng’ekiweebwayo ekya kyeyagalire, naye bw’onoogiwangayo okutuukiriza obweyamo teesiimibwenga. 24 Eyo erina enjagi eziriko ekikyamu oba ze baabetenta oba gye baalaawa, togiwangayo eri Yakuwa, era ensolo ng’ezo temuziwangayo mu nsi yammwe. 25 N’omugwira tawangayo nsolo yonna ku ezo ng’ekiweebwayo* eri Katonda wammwe, kubanga eriko ekikyamu n’akamogo era teesiimibwenga.’”
26 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 27 “Ente ennume oba endiga ento ennume oba embuzi bw’eneezaalibwanga, eneebeeranga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu,+ naye okuva ku lunaku olw’omunaana n’okweyongerayo enekkirizibwanga okuba ekiweebwayo, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro. 28 Temuttanga nte oba ndiga n’omwana gwayo ku lunaku lwe lumu.+
29 “Bwe munaawangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Yakuwa,+ munaagiwangayo musobole okusiimibwa. 30 Eneeriibwanga ku lunaku olwo lwennyini. Temugirekangawo okutuusa enkeera.+ Nze Yakuwa.
31 “Mukwatenga ebiragiro byange.+ Nze Yakuwa. 32 Temuvvoolanga linnya lyange ettukuvu,+ era nnina okutukuzibwa mu Bayisirayiri.+ Nze Yakuwa abatukuza,+ 33 eyabaggya mu nsi ya Misiri ndyoke nkyoleke nti ndi Katonda wammwe.+ Nze Yakuwa.”